Isaaya
52 Zuukuka! Zuukuka! Yambala amaanyi,+ ggwe Sayuuni!+
Yambala ebyambalo byo ebirungi ennyo,+ ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu!
Kubanga oyo atali mukomole n’oyo atali mulongoofu tebaliddamu kukuyingiramu.+
2 Weekunkumuleko enfuufu, yimuka otuule, ggwe Yerusaalemi.
Weesumulule enjegere ezikuli mu bulago ggwe muwala wa Sayuuni eyawambibwa.+
3 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba:
4 Kubanga bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Mu kusooka abantu bange baagenda e Misiri okubeera eyo ng’abagwira;+
Oluvannyuma Bwasuli yabanyigiriza awatali nsonga.”
5 “Kati olwo nkolewo ki?” Yakuwa bw’agamba.
“Kubanga abantu bange baatwalibwa ku bwereere.
6 Olw’ensonga eyo abantu bange balimanya erinnya lyange;+
Olw’ensonga eyo ku lunaku olwo balimanya nti nze njogera.
Laba, nze nzuuyo!”
7 Ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi nga birabika bulungi ku nsozi,+
Oyo alangirira emirembe,+
Oyo aleeta amawulire amalungi ag’ekintu ekisingako obulungi,
Oyo alangirira obulokozi,
Oyo agamba Sayuuni nti: “Katonda wo afuuse Kabaka!”+
8 Wulira! Abakuumi bo bayimusizza amaloboozi gaabwe.
Baleekaanira wamu olw’essanyu,
Kubanga Yakuwa bw’aliddamu okukuŋŋaanya ab’omu Sayuuni, balikiraba bulungi.*
9 Mujaganye, muleekaanire wamu olw’essanyu, mmwe amatongo ga Yerusaalemi,+
10 Yakuwa ayolesezza omukono gwe omutukuvu mu maaso g’amawanga gonna;+
Ensi yonna eriraba ebikolwa bya Katonda waffe eby’obulokozi.*+
11 Muveeyo, muveeyo, mufulume,+ temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu!+
12 Temulivaayo nga mupapa,
Era temuliddukayo buddusi,
Kubanga Yakuwa alibakulemberamu,+
Era Katonda wa Isirayiri alibavaako ennyuma ng’abakuuma.+
13 Laba! Omuweereza wange+ by’alikola alibikozesa magezi.
Aliyimusibwa waggulu,
Alissibwa waggulu era aligulumizibwa nnyo.+
14 Nga bwe waaliwo bangi abaamutunuulira ne beewuunya
—Kubanga endabika ye yayonoonebwa okusinga ey’omuntu omulala yenna,
Endabika ye ey’ekitiibwa yayonoonebwa okusinga ey’abantu—
15 Bw’atyo bw’alyewuunyisa amawanga mangi.+