Olubereberye
29 Ebyo bwe byaggwa, Yakobo ne yeeyongera okutambula n’atuuka mu nsi y’abantu ab’Ebuvanjuba. 2 Awo n’alaba oluzzi ku ttale n’ebisibo by’endiga bisatu nga zigalamidde okumpi nalwo, kubanga ku luzzi olwo kwe baaweeranga ebisibo amazzi; era ku mumwa gw’oluzzi kwaliko ejjinja eddene. 3 Ebisibo byonna bwe byamalanga okukuŋŋaanyizibwa, ng’abasumba bayiringisa ejjinja okuliggya ku mumwa gw’oluzzi nga bawa endiga amazzi ate oluvannyuma nga balizzaawo mu kifo kyalyo.
4 Awo Yakobo n’ababuuza nti: “Baganda bange muli ba wa?” Ne bamuddamu nti: “Tuli b’e Kalani.”+ 5 N’ababuuza nti: “Mumanyi Labbaani+ muzzukulu wa Nakoli?”+ Ne bamuddamu nti: “Tumumanyi.” 6 N’ababuuza nti: “Gyali mulungi?” Ne bamuddamu nti: “Gyali mulungi. Era ne Laakeeri+ muwala we wuuyo ajja n’endiga!” 7 N’abagamba nti: “Obudde bukyali misana era ekiseera eky’okukuŋŋaanya ebisibo tekinnatuuka. Muwe endiga amazzi oluvannyuma mugende muziriise.” 8 Ne bamugamba nti: “Tetukkirizibwa. Ebisibo byonna bimala kukuŋŋaanyizibwa ne balyoka bayiringisa ejjinja okuliggya ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tuwa endiga amazzi.”
9 Yali akyayogera nabo, Laakeeri n’ajja n’endiga za kitaawe, kubanga ye yazirundanga. 10 Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani kojja we, n’endiga za Labbaani, amangu ago n’asembera n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi, n’awa endiga za Labbaani kojja we amazzi. 11 Yakobo n’anywegera Laakeeri n’atulika n’akaaba. 12 Yakobo n’abuulira Laakeeri nti alina oluganda ku* Labbaani kitaawe era nti mutabani wa Lebbeeka. Awo Laakeeri n’adduka n’abuulira kitaawe.
13 Labbaani+ olwawulira ebikwata ku Yakobo omwana wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana. N’amugwa mu kifuba n’amunywegera era n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’abuulira Labbaani byonna ebyamutuukako. 14 Labbaani n’amugamba nti: “Mazima ddala oli ggumba lyange era oli mubiri gwange.”* Bw’atyo n’abeera naye omwezi mulamba.
15 Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti: “Onompeerereza bwereere olw’okuba onninako oluganda?*+ Mbuulira, oyagala mpeera ki?”+ 16 Labbaani yalina abawala babiri. Omukulu yali ayitibwa Leeya ate omuto ng’ayitibwa Laakeeri.+ 17 Amaaso ga Leeya gaali tegasikiriza, naye ye Laakeeri yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi. 18 Yakobo yali ayagala Laakeeri, kyeyava agamba nti: “Ndi mwetegefu okukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Laakeeri muwala wo omuto.”+ 19 Awo Labbaani n’amuddamu nti: “Okumuwa ggwe kisinga okumuwa omusajja omulala. Weeyongere okubeera nange.” 20 Yakobo n’aweereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri,+ naye mu maaso ge gyali ng’ennaku entono kubanga yali amwagala nnyo.
21 Oluvannyuma Yakobo n’agamba Labbaani nti: “Mpa mukazi wange nneebake naye kubanga ennaku zange ziweddeyo.” 22 Awo Labbaani n’akuŋŋaanya abantu bonna ab’omu kitundu n’afumba ekijjulo. 23 Naye bwe bwawungeera n’addira muwala we Leeya n’amutwala eri Yakobo yeebake naye. 24 Ate era Labbaani n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Leeya muwala we okuba omuweereza we.+ 25 Bwe bwakya ku makya, Yakobo n’akiraba nti yali ne Leeya! N’agamba Labbaani nti: “Kiki kino ky’onkoze? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onnimbye?”+ 26 Labbaani n’addamu nti: “Si mpisa yaffe wano okuwaayo omuwala omuto n’asooka omukulu okufumbirwa. 27 Sooka omale ennaku musanvu n’omukazi ono, oluvannyuma n’omulala ajja kukuweebwa, singa onompeereza okumala emyaka emirala musanvu.”+ 28 Yakobo n’akola bw’atyo, n’amala ennaku musanvu n’omukazi oyo, oluvannyuma Labbaani n’amuwa muwala we Laakeeri okuba mukazi we. 29 Ate era Labbaani n’addira omuweereza we Biruka+ n’amuwa Laakeeri okuba omuweereza we.+
30 Yakobo ne yeegatta ne Laakeeri, n’amwagala okusinga Leeya. N’aweereza Labbaani okumala emyaka emirala musanvu.+ 31 Yakuwa bwe yalaba nga Leeya tayagalibwa,* n’amusobozesa okufuna olubuto,*+ naye Laakeeri ye n’aba mugumba.+ 32 Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Lewubeeni,*+ kubanga yagamba nti: “Yakuwa alabye ennaku yange,+ kaakano baze ajja kutandika okunjagala.” 33 N’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Yakuwa awulirizza, olw’okuba saagalibwa kyavudde ampa n’ono.” Bw’atyo n’amutuuma Simiyoni.*+ 34 Era n’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Ku mulundi guno baze ajja kunjagala okusingawo, kubanga mmuzaalidde abaana ab’obulenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumibwa Leevi.*+ 35 Era n’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Ku mulundi guno nja kutendereza Yakuwa.” Kyeyava amutuuma Yuda.*+ Awo n’alekera awo okuzaala.