Lukka
14 Lumu Yesu bwe yali agenze mu nnyumba y’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo ku Ssabbiiti okulya, abaali mu nnyumba ne bamwekaliriza. 2 Era laba! mu maaso ge waaliwo omusajja eyalina obulwadde nga bwamuzimbya emikono n’amagulu. 3 Awo Yesu n’abuuza abo abaali abakenkufu mu Mateeka n’Abafalisaayo nti: “Kikkirizibwa okuwonya omuntu ku Ssabbiiti oba tekikkirizibwa?”+ 4 Naye ne basirika. Awo n’akwata ku musajja, n’amuwonya, n’amugamba agende. 5 N’abagamba nti: “Ani ku mmwe, ente ye oba mutabani we bw’agwa mu luzzi+ ku Ssabbiiti, atamuggyaamu mangu ago?”+ 6 Ekyo tebaasobola kukiddamu.
7 Bwe yalaba abo abaali bayitiddwa ku kijjulo nga beeroboza ebifo eby’oku mwanjo,+ n’abagamba* nti: 8 “Omuntu bw’akuyitanga ku mbaga, totuulanga mu kifo eky’oku mwanjo.+ Oboolyawo wayinza okubaawo omuntu akusinga ekitiibwa gwe yayise. 9 Oyo eyabayise mmwembi ajja kujja akugambe nti, ‘Leka ono atuule wano.’ Awo ojja kugenda otuule mu kifo ekisembayo ng’oswadde. 10 Naye bw’oyitibwanga, otuulanga mu kifo ekisembayo, oyo aba akuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu eno awasooka.’ Awo ojja kuba n’ekitiibwa mu maaso g’abagenyi abalala.+ 11 Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”+
12 Awo ate n’agamba n’oyo eyali amuyise nti: “Bw’ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, oba baganda bo, oba ab’eŋŋanda zo, oba baliraanwa bo abagagga. Kubanga bw’obayita, nabo bayinza okukuyita n’oba ng’osasulwa. 13 Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, abalema, n’abazibe b’amaaso;+ 14 era oliba musanyufu, kubanga tewali kye balikusasula. Olisasulwa mu kuzuukira+ kw’abatuukirivu.”
15 Omu ku bagenyi bwe yawulira bino n’amugamba nti: “Alina essanyu oyo alirya ekijjulo* mu Bwakabaka bwa Katonda.”
16 Yesu n’amugamba nti: “Waliwo omuntu eyafumba ekijjulo ekinene+ n’ayita abantu bangi. 17 Ekiseera eky’okulya ekijjulo bwe kyatuuka n’atuma omuddu we okugamba abo abaali bayitiddwa nti: ‘Mujje, kubanga ebintu biwedde okutegekebwa.’ 18 Naye bonna ne babaako kye beekwasa.+ Eyasooka n’amugamba nti: ‘Nnaguze ekibanja, nnina okugenda okukiraba. Nsonyiwa sijja kusobola.’ 19 Omulala n’agamba nti, ‘Nnaguze emigogo gy’ente etaano, ŋŋenda kuzeekenneenya; nsonyiwa sijja kusobola.’+ 20 Ate omulala n’agamba nti, ‘Nnaakawasa, n’olw’ensonga eyo sisobola kujja.’ 21 Omuddu n’ajja n’abuulira mukama we ebintu ebyo. Awo nnyinimu n’asunguwala, n’agamba omuddu nti, ‘Genda mangu mu nguudo ennene ne mu bukubo obutono obw’ekibuga, oleete abaavu, n’abalema, n’abazibe b’amaaso.’ 22 Nga wayiseewo ekiseera omuddu yagamba nti, ‘Mukama wange, kye walagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebifo.’ 23 Mukama we n’amugamba nti, ‘Genda mu nguudo ne mu bukubo obutono obawalirize okujja, ennyumba yange ejjule.+ 24 Mbagamba nti tewali n’omu ku bantu abo abaayitibwa ajja okulya ku kijjulo kyange.’”+
25 Awo abantu bangi baali batambula naye, era n’akyuka n’abagamba nti: 26 “Omuntu bw’ajja gye ndi n’atakyawa taata we, maama we, mukazi we, abaana be, baganda be, bannyina awamu n’obulamu bwe,+ tayinza kubeera muyigirizwa wange.+ 27 Buli ateetikka muti gwe ogw’okubonaabona* n’angoberera, tayinza kubeera muyigirizwa wange.+ 28 Ng’ekyokulabirako, ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza? 29 Bw’atakikola, ayinza okuzimba omusingi naye n’alemererwa okumaliriza okuzimba omunaala, bonna abamulaba ne bamusekerera 30 nga bagamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye teyasobola kumaliriza.’ 31 Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka alina abasirikale 20,000 atasooka kutuula wansi ne yeebuuza ku banne obanga anaasobola okumulwanyisa ng’alina abasirikale 10,000? 32 Bw’aba nga ddala taasobole kumulwanyisa, atuma ababaka ng’oli akyali wala n’asaba batabagane. 33 Bwe kityo nno, mukimanye nti buli omu ku mmwe bw’ateefiiriza* bintu bye tayinza kuba muyigirizwa wange.+
34 “Gwo omunnyo mulungi, naye singa omunnyo guggwaamu obuka bwagwo, kiki ekiyinza okuzzaamu obuka bwagwo?+ 35 Guba tegukyasaana kuteekebwa mu ttaka oba mu bigimusa, era abantu bagusuula ebweru. Oyo alina amatu ag’okuwulira, awulire.”+