Eby’Abaleevi
23 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Embaga za Yakuwa+ ze munaalangiriranga+ zinaabanga nkuŋŋaana ntukuvu. Zino ze mbaga zange:
3 “‘Munaakolanga emirimu okumala ennaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga ssabbiiti ey’okuwummulira ddala;+ lukuŋŋaana lutukuvu. Temukolanga mulimu gwonna. Eneebeeranga ssabbiiti ya Yakuwa yonna gye munaabeeranga.+
4 “‘Zino ze mbaga za Yakuwa, enkuŋŋaana entukuvu, ze munaalangiriranga mu kiseera kyazo ekigereke: 5 Mu mwezi ogw’olubereberye, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya+ akawungeezi,* eneebanga mbaga ya Yakuwa ey’Okuyitako.+
6 “‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo eneebanga mbaga ya Yakuwa ey’emigaati egitali mizimbulukuse.+ Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.+ 7 Ku lunaku olusooka munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu.+ Temukolanga mulimu gwonna ogw’amaanyi. 8 Naye munaawangayo eri Yakuwa ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwonna ogw’amaanyi.’”
9 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 10 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ne mukungula emmere ey’empeke, muleetanga ekinywa ky’ebibala ebibereberye+ eky’ebyo bye mukungudde ne mukiwa kabona.+ 11 Anaakiwuubirawuubiranga mu maaso ga Yakuwa musobole okusiimibwa. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti. 12 Ku lunaku ekinywa lwe kinaawuubibwawuubibwanga, munaawangayo endiga ento ennume ennamu obulungi etasussa mwaka gumu, okuba ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa. 13 Ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke kinaabanga kya bitundu bibiri bya kkumi ebya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, ng’ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.* Ekiweebwayo ekigenderako eky’eby’okunywa kinaabanga kimu kya kuna ekya yini* y’envinnyo. 14 Okutuusiza ddala ku lunaku luno, temulyanga mugaati gwonna oba emmere ey’empeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa lwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Lino tteeka lya lubeerera eri mmwe ne bazzukulu bammwe, yonna gye munaabeeranga.
15 “‘Munaabalanga ssabbiiti musanvu okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, lwe munaaleeterangako ekinywa eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa.+ Zinaabanga wiiki nzijuvu. 16 Munaabalanga ennaku 50+ okutuusa ku lunaku oluddirira Ssabbiiti ey’omusanvu, ne muwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eyaakakungulwa.+ 17 Munaaleetanga okuva gye mubeera emigaati ebiri egy’ekiweebwayo ekiwuubibwa egikoleddwa mu bitundu bibiri bya kkumi ebya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse. Gifumbibwanga nga girimu ekizimbulukusa,+ okuba ebibala ebibereberye eri Yakuwa.+ 18 Awamu n’emigaati egyo, munaaleetanga endiga ento ennume musanvu ennamu obulungi, nga buli emu ya mwaka gumu, n’ente ento ennume emu n’endiga ennume bbiri.+ Binaaweebwangayo eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekyokebwa awamu n’ebiweebwayo ebigenderako, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, okuba ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro eky’evvumbe eddungi.* 19 Era munaawangayo omwana gw’embuzi gumu ng’ekiweebwayo olw’ekibi,+ n’endiga ennume bbiri, nga buli emu ya mwaka gumu, nga ssaddaaka ey’emirembe.+ 20 Kabona anaawuubawuubanga endiga ezo ebbiri awamu n’emigaati egy’ebibala ebibereberye, ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa. Binaabanga bitukuvu eri Yakuwa era binaabanga bya kabona.+ 21 Ku lunaku luno munaalangiriranga+ nti waliwo olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwonna ogw’amaanyi. Lino tteeka lya lubeerera eri mmwe ne bazzukulu bammwe, yonna gye munaabeeranga.
22 “‘Bwe mukungulanga ebirime by’omu nsi yammwe, temukungulanga byonna ebiri ku nsalosalo z’ennimiro zammwe, era temulondereranga ebinaabanga bisigalidde nga mumaze okukungula.+ Mubirekeranga abaavu*+ n’abagwira.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.’”
23 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 24 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Olunaku olusooka mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummulira ddala, lunaabanga lunaku lwa kujjukirwa olunaalangirirwanga nga bafuuwa amakondeere,+ era lunaabanga lukuŋŋaana lutukuvu. 25 Temukolanga mulimu gwonna ogw’amaanyi, era muwangayo eri Yakuwa ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro.’”
26 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 27 “Naye olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lunaabanga Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi.+ Munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu, era ku lunaku olwo muneebonyaabonyanga*+ era ne muwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro. 28 Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo, kubanga lunaku lwa kutangirirako ebibi byammwe+ mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe. 29 Omuntu yenna ateebonyeebonyenga* ku lunaku olwo anattibwanga.+ 30 Era nja kuzikiriza omuntu yenna anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo. 31 Temukolanga mulimu gwonna. Lino tteeka lya lubeerera eri mmwe ne bazzukulu bammwe yonna gye munaabeeranga. 32 Eneebanga ssabbiiti ey’okuwummuliranga ddala gye muli, era muneebonyaabonyanga+ akawungeezi ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwo. Munaakwatanga ssabbiiti yammwe okuva akawungeezi ak’olunaku olwo okutuusa akawungeezi ak’olunaku oluddirira.”
33 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 34 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu, wanaabangawo Embaga ya Yakuwa ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu.+ 35 Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temukolanga mulimu gwonna ogw’amaanyi. 36 Okumala ennaku musanvu munaawangayo eri Yakuwa ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro. Ku lunaku olw’omunaana munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu,+ era munaawangayo eri Yakuwa ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro. Olwo lukuŋŋaana lwa njawulo. Temukolanga mulimu gwonna ogw’amaanyi.
37 “‘Zino ze mbaga za Yakuwa+ ze munaalangiriranga okuba enkuŋŋaana entukuvu,+ okuweerangako eri Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro: ekiweebwayo ekyokebwa,+ ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke+ awamu ne ssaddaaka, n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa,+ okusinziira ku nteekateeka eya buli lunaku. 38 Ebyo binaawebwangayo okugatta ku ebyo ebiweebwayo ku ssabbiiti za Yakuwa,+ ku birabo byammwe,+ ku biweebwayo byammwe eby’obweyamo,+ ne ku biweebwayo byammwe ebya kyeyagalire,+ bye munaawangayo eri Yakuwa. 39 Naye ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu, nga mumaze okukungula ebirime by’omu nsi yammwe, munaakwatanga embaga ya Yakuwa okumala ennaku musanvu.+ Olunaku olusooka n’olunaku olw’omunaana zinaabanga za kuwummulira ddala.+ 40 Ku lunaku olusooka muneetwaliranga ebibala eby’emiti egisingayo obulungi, amatabi g’enkindu,+ amatabi g’emiti egy’ebikoola ebingi, n’emiti emyalava egy’omu biwonvu,* era munaajagulizanga+ mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe okumala ennaku musanvu.+ 41 Munaakwatanga embaga ya Yakuwa okumala ennaku musanvu buli mwaka.+ Munaagikwatanga mu mwezi ogw’omusanvu, era eryo tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna. 42 Munaabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu.+ Abayisirayiri bonna banaabeeranga mu nsiisira, 43 ab’emirembe gyammwe gyonna eginaddirira balyoke bamanye+ nti nnabeeza Abayisirayiri mu nsiisira bwe nnali mbaggya mu nsi ya Misiri.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.’”
44 Awo Musa n’ategeeza Abayisirayiri embaga za Yakuwa.