Abafiripi
2 Kale bwe wabaawo okuzzibwamu amaanyi kwonna mu Kristo, okubudaabudibwa mu kwagala, okufaayo ku balala,* okwagala, n’obusaasizi, 2 essanyu lyange mulifuule lijjuvu nga mubeera n’endowooza emu, okwagala kumu, nga muli bumu, era nga mulowooza bumu.+ 3 Temukola kintu kyonna mu kuyomba,+ oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo,+ wabula mu bwetoowaze mukitwale+ nti abalala babasinga, 4 era nga temufaayo ku byammwe byokka+ naye nga mufaayo ne ku by’abalala.+
5 Mubeerenga n’endowooza eno Kristo Yesu gye yalina,+ 6 wadde yali mu kifaananyi kya Katonda,+ teyagezaako na kulowooza ku kya kwenkanankana ne Katonda.+ 7 Wabula yeggyako buli kye yalina n’aba ng’omuddu,+ era n’afuuka omuntu.*+ 8 N’ekisinga ku ekyo, bwe yajja ng’omuntu,* yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa,+ yee, okufiira ku muti ogw’okubonaabona.*+ 9 Olw’ensonga eyo, Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo,+ era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna,+ 10 buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka lifukamire olw’erinnya lya Yesu,+ 11 era buli lulimi lwatule mu lujjudde nti Yesu Kristo ye Mukama waffe,+ Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.
12 N’olwekyo abaagalwa, nga bulijjo bwe mubadde abawulize, si olwo lwokka nga ndi nammwe, naye kaakano n’okusingawo nga siri nammwe, mweyongere okukolerera obulokozi bwammwe nga mutya era nga mukankana. 13 Kubanga Katonda y’abawa amaanyi okukola ebimusanyusa, abaagazise okukola era mukole. 14 Mukolenga ebintu byonna awatali kwemulugunya+ wadde okuyomba,+ 15 mulyoke mube nga temuliiko kya kunenyezebwa oba omusango, nga muli baana ba Katonda+ abataliiko kamogo mu mulembe guno ogwakyama,+ gwe mwakiramu ng’ettaala mu nsi,+ 16 nga munywerera ku kigambo eky’obulamu,+ nsobole okuba ne kye nneenyumiririzaamu mu lunaku lwa Kristo, nti saddukira bwereere era saafubira bwereere. 17 Wadde nga nfukibwa ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa+ ekifukibwa ku ssaddaaka+ ne ku buweereza obutukuvu* okukkiriza kwammwe bye kubakubirizza okukola, ndi musanyufu era njaganyiza wamu nammwe. 18 Kale nammwe musanyuke era mujaganyize wamu nange.
19 Nsuubira mu Mukama waffe Yesu okubatumira amangu Timoseewo,+ ndyoke nziremu amaanyi olw’okumanya ebibafaako. 20 Kubanga sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu. 21 Abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe so si bya Yesu Kristo. 22 Naye mumanyi engeri gye yalagamu nti agwanidde; okufaananako omwana+ ne kitaawe, yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi. 23 N’olwekyo, oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga mmaze okumanya bwe nnaabeera. 24 Ndi mukakafu mu Mukama waffe nti nange nja kujja mangu ddala.+
25 Kyokka, nkiraba nga kyetaagisa okubatumira Epafulodito muganda wange, mukozi munnange, era mulwanyi munnange, ate nga mutume wammwe era omuweereza wange mu bye nneetaaga.+ 26 Ayagala nnyo okubalaba mmwenna era mwennyamivu olw’okuba mwawulira nti yalwala. 27 Mazima ddala yalwala n’abulako katono okufa; naye Katonda yamusaasira, mu butuufu, teyasaasira ye yekka naye era nange, ku nnaku gye nnina nneme kwongerako ndala. 28 N’olwekyo, mmutuma mu bwangu gye muli, mulyoke musanyuke nate nga mumulabye era nneme kweraliikirira nnyo. 29 Kale mumwanirize n’essanyu nga bwe mwaniriza bulijjo abagoberezi ba Mukama waffe, era abantu abalinga abo mubatwale nga ba muwendo nnyo,+ 30 kubanga ku lw’omulimu gwa Kristo,* yabulako katono okufa ng’ateeka obulamu bwe mu kabi, asobole okubakiikirira ng’ampeereza.+