1 Abakkolinso
14 Mufubenga okulagaŋŋana okwagala, era munyiikire okufuna* ebirabo eby’omwoyo naddala ekirabo eky’okwogera obunnabbi.+ 2 Kubanga oyo ayogera mu nnimi tayogera eri abantu wabula eri Katonda, era ayogera ebyama ebitukuvu+ olw’omwoyo naye tewali abitegeera.+ 3 Kyokka ebigambo by’oyo ayogera obunnabbi bizimba, bizzaamu amaanyi, era bibudaabuda abantu. 4 Oyo ayogera mu nnimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera obunnabbi azimba ekibiina. 5 Nnandyagadde mmwenna mwogere mu nnimi,+ naye okusingira ddala nnandyagadde mwogere obunnabbi.+ Mazima ddala oyo ayogera obunnabbi asinga oyo ayogera mu nnimi, okuggyako ng’azivvuunudde ekibiina kisobole okuzimbibwa. 6 Ab’oluganda, singa kaakano nzija gye muli ne njogera mu nnimi, nnaabagasa ntya okuggyako nga njogedde gye muli nga nkozesa ekirabo eky’okubikkulirwa,+ oba eky’okumanya+ oba eky’okwogera obunnabbi oba eky’okuyigiriza?
7 N’ebintu ebitalina bulamu bivaamu eddoboozi, k’ebe ndere, oba ntongooli; naye ekifuuyibwa ku ndere oba ekikubibwa ku ntongooli kinaategeerwa kitya bwe watabaawo njawulo mu ddoboozi ly’ekivuga? 8 Mazima ddala, singa ekkondeere livuga mu ngeri etategeerekeka bulungi, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? 9 Mu ngeri y’emu, okuggyako ng’olulimi lwammwe lwogedde mu ngeri etegeerekeka obulungi, ani ayinza okutegeera ebyogerwa? Mujja kuba mwogera ebigambo ebitalina makulu. 10 Waliwo ennimi nnyingi mu nsi, naye tewali na lumu lutalina makulu. 11 Singa sitegeera makulu g’ebyo ebyogerwa, nja kuba mugwira eri oyo ayogera, n’oyo ayogera ajja kuba mugwira gye ndi. 12 Kale nammwe okuva bwe mwegomba ennyo okuba n’ebirabo eby’omwoyo, mufube okuba nabyo mu bungi musobole okuzimba ekibiina.+
13 N’olwekyo, oyo ayogera mu nnimi asabe Katonda asobole okuzivvuunula.+ 14 Kubanga bwe nsaba mu nnimi, ekirabo kyange eky’omwoyo kye kiba kisaba, naye nze mba sirina kye ntegeera. 15 Kati olwo kiki ekirina okukolebwa? Nja kusaba nga nkozesa ekirabo eky’omwoyo, naye era nja kusaba nga nkozesa amagezi gange. Nja kuyimba ennyimba ezitendereza nga nkozesa ekirabo eky’omwoyo, naye era nja kuyimba ennyimba ezitendereza nga nkozesa amagezi gange. 16 Naye, bw’otendereza ng’okozesa ekirabo eky’omwoyo, omuntu owa bulijjo anaagamba atya nti “Amiina” ng’omalirizza okwebaza, nga tategedde by’oyogera? 17 Kyo kituufu nti oba weebazizza bulungi, naye omuntu omulala aba tazimbiddwa. 18 Nneebaza Katonda kubanga njogera mu nnimi nnyingi okubasinga mmwenna. 19 Kyokka, nnandyagadde waakiri njogere ebigambo bitaano mu kibiina nga bitegeerekeka, nsobole n’okuyigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo gumu mu nnimi.+
20 Ab’oluganda, temuba baana bato mu kutegeera,+ wabula mube baana bato eri ebikolwa ebibi;+ naye mubeere bakulu mu kutegeera.+ 21 Mu Mateeka kyawandiikibwa nti: “‘Ndyogera n’abantu bano nga nkozesa ennimi z’abagwira n’emimwa gy’abantu abatamanyiddwa, naye era tebalimpuliriza,’ bw’ayogera Yakuwa.”*+ 22 N’olwekyo, ennimi kabonero eri abatali bakkiriza so si eri abakkiriza,+ so ng’ate okwogera obunnabbi kwa bakkiriza so si abatali bakkiriza. 23 Singa ekibiina kyonna kikuŋŋaana wamu era bonna ne boogera mu nnimi, abantu aba bulijjo oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebaagambe nti mugudde eddalu? 24 Naye singa mmwenna muba mwogera obunnabbi era atali mukkiriza oba omuntu owa bulijjo n’ayingira, bye mwogera bijja kumunenya era bimuleetere okwekebera. 25 Ebyama by’omutima gwe bijja kweyoleka, era avunname asinze Katonda ng’agamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.”+
26 Kale ab’oluganda, kiki ekirina okukolebwa? Bwe mukuŋŋaana awamu, omu aba ne zabbuli, omulala aba n’eky’okuyigiriza, omulala aba n’okubikkulirwa, omulala ayogera mu nnimi, omulala avvuunula.+ Ebintu byonna bikolebwenga olw’okuzimbagana. 27 Era bwe wabaawo aboogera mu nnimi, babe babiri oba bwe basingawo tebasukka basatu, ate boogere mu mpalo era wabeewo avvuunula.+ 28 Singa tewabaawo avvuunula, basirike mu kibiina era boogere mu mitima gyabwe eri Katonda. 29 Ate era, bannabbi+ babiri oba basatu be baba boogera, abalala bafube okufuna amakulu. 30 Singa omu ku abo abatudde afuna okubikkulirwa, abadde ayogera asirike. 31 Kubanga mmwenna musobola okwogera obunnabbi nga mukikola mu mpalo, bonna basobole okuyiga n’okuzzibwamu amaanyi.+ 32 Era ebirabo bya bannabbi eby’omwoyo bya kufugibwa bannabbi. 33 Kubanga Katonda si wa kavuyo, wabula wa mirembe.+
Nga bwe kiri mu bibiina byonna eby’abatukuvu, 34 abakazi basirikenga mu kibiina kubanga tebakkirizibwa kwogera,+ naye babe bawulize+ ng’Amateeka bwe gagamba. 35 Bwe baba baagala okubaako kye bayiga, babuuze babbaabwe awaka, kubanga kiswaza omukazi okwogera mu kibiina.
36 Ekigambo kya Katonda kyava mu mmwe oba kyakoma ku mmwe mmwekka?
37 Singa omuntu yenna alowooza nti nnabbi oba nti alina ekirabo eky’omwoyo, akkirize ebintu bye mbawandiikira, kubanga biragiro bya Mukama waffe. 38 Naye omuntu yenna bw’atafaayo ku kino, naye tajja kufiibwako.* 39 N’olwekyo ab’oluganda, mweyongere okunyiikirira okwogera obunnabbi+ naye temuwera kwogera mu nnimi.+ 40 Naye ebintu byonna bikolebwe mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.+