3 Yokaana
1 Nze omusajja omukadde mpandiikira Gayo omwagalwa, gwe njagalira ennyo.
2 Omwagalwa, nkusabira obeere bulungi mu bintu byonna era obeere mulamu bulungi, era nga kaakano bw’oli obulungi. 3 Nnasanyuka nnyo ab’oluganda bwe bajja ne bawa obujulirwa nti onyweredde mu mazima, era ndi musanyufu nti otambulira mu mazima.+ 4 Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.+
5 Omwagalwa, oyoleka obwesigwa bwo mu ebyo by’okolera ab’oluganda wadde nga tobamanyi.+ 6 Bawadde obujulirwa eri ekibiina ku kwagala kw’olina. Nkusaba obasiibule mu ngeri esiimibwa Katonda.+ 7 Kubanga baagenda okubuulira ku lw’erinnya lye, era tebaatwala kintu kyonna+ okuva eri ab’amawanga. 8 N’olwekyo, tuvunaanyizibwa okusembeza abantu ng’abo+ tulyoke tukolere wamu nabo mu mazima.+
9 Waliwo kye nnawandiikira ekibiina, naye Diyotuleefe ayagala okuba mu kifo ekisooka mu bo+ anyooma buli kintu ekiva gye tuli.+ 10 Eno ye nsonga lwaki bwe ndijja, ndimanyisa ebyo by’agenda akola, ng’agenda atwogerako ebigambo ebibi.+ Ng’ekyo tekimumalira, tayaniriza ba luganda+ era tabawa kitiibwa, era abo abaagala okubaaniriza agezaako okubaziyiza n’okubagoba mu kibiina.
11 Omwagalwa, tokoppanga bibi wabula koppanga ebirungi.+ Oyo akola ebirungi ava eri Katonda.+ Oyo akola ebibi aba talabanga Katonda.+ 12 Bonna bawadde obujulirwa ku Demeteriyo era n’amazima gamuwaddeko obujulirwa. Mu butuufu naffe tumuwaako obujulirwa, era okimanyi nti obujulirwa bwe tuwa bwa mazima.
13 Mbadde na bingi eby’okukuwandiikira, naye saagala kubikuwandiikira na kkalaamu na bwino. 14 Kyokka nsuubira okukulaba amangu, era nja kwogera naawe maaso ku maaso.
Emirembe gibe naawe.
Ab’emikwano bakulamusizza. Nnamusiza buli omu ku mikwano gyaffe.