Yeremiya
7 Awo Yakuwa n’ayogera ne Yeremiya n’amugamba nti: 2 “Yimirira mu mulyango gw’ennyumba ya Yakuwa olangirire obubaka buno, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe mmwenna abantu b’omu Yuda abayingira mu miryango gino okuvunnamira Yakuwa. 3 Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Mutereeze amakubo gammwe era mukyuse ebikolwa byammwe, nange nnaabaleka ne musigala mu kifo kino.+ 4 Temussa bwesige mu bigambo bya bulimba nga mugamba nti, ‘Eno* ye yeekaalu ya Yakuwa, yeekaalu ya Yakuwa, yeekaalu ya Yakuwa!’+ 5 Bwe munaatereeza amakubo gammwe era ne mukyusa ebikolwa byammwe; bwe munaakola ku nsonga z’omuntu ne munne mu bwenkanya;+ 6 bwe mutaanyigirize bagwira, abaana enfuuzi,* ne bannamwandu;+ bwe mutaayiwe musaayi gw’abantu abatalina musango mu kifo kino; era bwe mutaagoberere bakatonda balala ne mwereetera obuzibu;+ 7 olwo nja kubaleka mweyongere okubeera mu kifo kino, mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba eyaabwe emirembe n’emirembe.”’”
8 “Mussa obwesige mu bigambo eby’obulimba,+ naye tebijja kubagasa n’akamu. 9 Musobola okubba,+ okutemula, okwenda, okulayira eby’obulimba,+ okuwaayo ssaddaaka* eri Bbaali,+ era n’okugoberera bakatonda be mwali mutamanyi, 10 ate ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno eyitibwa erinnya lyange ne mugamba nti, ‘Tujja kulokolebwa,’ wadde nga mukola ebintu bino byonna eby’omuzizo? 11 Ennyumba eno eyitibwa erinnya lyange efuuse mpuku y’abanyazi mu maaso gammwe?+ Laba! nkyerabiddeko nze kennyini,” Yakuwa bw’agamba.
12 “‘Kale, mugende kati mu kifo kyange mu Siiro,+ kye nnasooka okulonda kibeeremu erinnya lyange,+ mulabe kye nnakikola olw’ebikolwa ebibi eby’abantu bange Abayisirayiri.+ 13 Naye mweyongera okukola ebintu ebyo byonna,’ Yakuwa bw’agamba, ‘era wadde nnayogera nammwe enfunda n’enfunda,* temwawuliriza.+ Nnabakoowoolanga naye temwayanukula.+ 14 Kale ennyumba eno eyitibwa erinnya+ lyange gye mwesiga,+ n’ekifo kino kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe, nja kubikola kye nnakola Siiro.+ 15 Nja kubagoba mu maaso gange, nga bwe nnagoba baganda bammwe bonna, bazzukulu ba Efulayimu bonna.’+
16 “Kale tosabira bantu bano. Tonkoowoola wadde okunsaba wadde okunneegayirira ku lwabwe,+ kubanga sijja kukuwuliriza.+ 17 Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi? 18 Abaana batyaba enku, bataata bakuma omuliro, abakyala bakanda eŋŋaano ey’okukola emigaati egy’okuwaayo eri Nnaabakyala w’Eggulu,*+ era bawaayo ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri bakatonda abalala okunnyiiza.+ 19 ‘Naye nze gwe balumya?’* Yakuwa bw’agamba. ‘Bo bennyini si be beerumya, ne baswala?’+ 20 N’olwekyo, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ‘Laba! Obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kuyiibwa ku kifo kino,+ ku bantu n’ensolo, ku miti egy’oku ttale ne ku bibala by’ettaka; obusungu bwange bujja kubuubuuka, era tebujja kuzikizibwa.’+
21 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa mubigatte ku ssaddaaka zammwe endala, era mmwe mmwennyini ennyama mugirye.+ 22 Kubanga ku lunaku lwe nnaggya bajjajjammwe mu nsi ya Misiri, saayogera nabo era saabawa kiragiro kikwata ku biweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.+ 23 Naye nnabawa ekiragiro kino: “Mugondere eddoboozi lyange, nange nja kubeera Katonda wammwe, nammwe mubeere bantu bange.+ Mutambulirenga mu makubo gonna ge mbalagira, ebintu bibagendere bulungi.”’+ 24 Kyokka tebaawuliriza wadde okuntegera amatu,+ wabula baatambulira mu kuteesa kwabwe* bo, ne bagugubira ku ebyo emitima gyabwe emibi bye gyagala,+ era badda emabega, so si mu maaso, 25 okuva ku lunaku bajjajjammwe lwe baava mu nsi ya Misiri okutuusa kati.+ Nnabatumiranga abaweereza bange bonna bannabbi, nga mbatuma buli lunaku, enfunda n’enfunda.*+ 26 Naye tebampuliriza, era tebantegera kutu.+ Baali bakakanyavu,* era baakola ebibi okusinga ne bajjajjaabwe!
27 “Ojja kubagamba ebigambo bino byonna,+ naye tebajja kukuwuliriza; ojja kubakoowoola naye tebajja kukwanukula. 28 Ate era ojja kubagamba nti, ‘Lino lye ggwanga eritaagondera ddoboozi lya Yakuwa Katonda waalyo era eryagaana okuwabulwa. Obwesigwa buweddewo era tebukyayogerwako.’*+
29 “Salako enviiri zo empanvu ozisuule, era oyimbe oluyimba olw’okukungubaga ku busozi obutaliiko bimera, kubanga Yakuwa yeesambye omulembe guno ogumunyiizizza era ajja kugwabulira. 30 ‘Kubanga abantu b’omu Yuda bakoze ebintu ebibi mu maaso gange,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Batadde ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugifuula etali nnongoofu.+ 31 Bazimbye ebifo ebigulumivu eby’e Tofesi, ekiri mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,*+ okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro,+ ekintu kye siragirangako era ekitayingirangako mu mutima gwange.’*+
32 “‘Kale laba! ennaku zijja,’ Yakuwa bw’agamba, ‘lwe kiriba nga tekikyayitibwa Tofesi oba Ekiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,* wabula Ekiwonvu eky’Okuttiramu. Bajja kuziika emirambo mu Tofesi okutuusa nga tekikyalimu kifo kya kuziikamu.+ 33 Emirambo gy’abantu bano gijja kuba mmere ya binyonyi ebibuuka mu bbanga n’ebisolo eby’oku nsi, era tewaliba abigoba.+ 34 Nja kukomya eddoboozi ly’okujaguza n’ery’okusanyuka, eddoboozi ly’omugole omusajja era n’ery’omugole omukazi+ mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, kubanga ensi ejja kufuuka matongo.’”+