1 Abassessalonika
2 Ab’oluganda, mmwe mmwennyini mukimanyi nti okukyala kwaffe gye muli tekwafa busa.+ 2 Wadde nga twasooka kubonaabona n’okuyisibwa obubi ennyo mu Firipi,+ nga bwe mumanyi, Katonda waffe yatusobozesa okuba abavumu ne tubabuulira amawulire ga Katonda amalungi+ mu kuziyizibwa okw’amaanyi ennyo. 3 Kubanga okubuulirira kwaffe tekusibuka mu ndowooza nkyamu, oba mu butali bulongoofu, oba mu bulimba. 4 Naye nga Katonda bw’atukebedde n’alaba nti tusaanira okukwasibwa amawulire amalungi, naffe bwe tutyo bwe twogera, nga tetugenderera kusanyusa bantu, wabula Katonda akebera emitima gyaffe.+
5 Mu butuufu, tetukozesangako bigambo biwaanawaana oba okukweka kye tuli nga tulina bye tweyagaliza;+ Katonda ye mujulirwa waffe! 6 Era tubadde tetunoonya kitiibwa kuva eri bantu, kwe kugamba, okuva gye muli oba okuva eri abalala, wadde nga ffe ng’abatume ba Kristo twandibadde tubatikka omugugu ogw’okutulabirira.+ 7 Okwawukana ku ekyo, bwe twali mu mmwe twabakwata n’obwegendereza nga maama ayonsa bw’alabirira abaana be.* 8 N’olwekyo, olw’okuba twali tubaagala nnyo,+ twali bamalirivu* okubabuulira amawulire amalungi aga Katonda n’okuwaayo obulamu bwaffe+ okusobola okubayamba.
9 Ab’oluganda, awatali kubuusabuusa mujjukira okufuba n’okutegana kwaffe. Twakolanga emisana n’ekiro tuleme kubaako n’omu ku mmwe gwe tutikka mugugu gwa kutulabirira,+ bwe twali tubabuulira amawulire amalungi aga Katonda. 10 Mmwe awamu ne Katonda mutujulira nga bwe twali abeesigwa, abatuukirivu, era abataliiko kya kunenyezebwa, eri mmwe abakkiriza. 11 Ate era, mumanyi bulungi nti buli omu ku mmwe twamubuuliriranga, twamubudaabudanga, era twamuwanga obujulirwa,+ nga taata bw’akola+ eri abaana be, 12 musobole okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Katonda+ abayita mu Bwakabaka bwe+ ne mu kitiibwa kye.+
13 Mazima ddala, eyo ye nsonga lwaki naffe twebaza Katonda obutayosa,+ kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda kye mwawulira okuva gye tuli, temwakikkiriza ng’ekigambo ky’abantu, naye mwakikkiriza ng’ekigambo kya Katonda, nga bwe kiri ddala, era kikolera mu mmwe abakkiriza. 14 Ab’oluganda, mwakoppa ab’omu bibiina bya Katonda eby’omu Buyudaaya ebigoberera Kristo Yesu, kubanga mwabonyaabonyezebwa abantu b’eggwanga lyammwe+ nga nabo bwe babonyaabonyezebwa Abayudaaya, 15 abatta ne Mukama waffe Yesu+ ne bannabbi era abaatuyigganya.+ Ate era tebasanyusa Katonda naye baziyiza ebintu ebiganyula abantu bonna, 16 nga bagezaako okutulemesa okwogera eri abantu ab’amawanga, ate nga kino kyandiyambye ab’amawanga okulokolebwa.+ Mu kukola ekyo beeyongera bweyongezi kwonoona. Naye ku nkomerero obusungu bwe bubajjidde.+
17 Ab’oluganda, bwe twawalirizibwa okwawukana nammwe, okumala akaseera katono (ku maaso so si mu mutima), twafuba nnyo okulaba nti tubalaba kubanga ekyo twali tukyagala nnyo. 18 Eyo ye nsonga lwaki twayagala okujja gye muli, era nze Pawulo ne ngezaako omulundi ogusooka n’ogw’okubiri, naye Sitaani ne yeekiika mu kkubo lyaffe. 19 Kubanga essuubi lyaffe n’essanyu lyaffe n’engule ey’okusanyuka mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kubeerawo kwe, bye biruwa? Si ye mmwe?+ 20 Mazima ddala mmwe kitiibwa kyaffe n’essanyu lyaffe.