Yeremiya
48 Eri Mowaabu,+ bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri bw’agamba:
“Zisanze Nebo,+ kubanga kizikiriziddwa!
Kiriyasayimu+ kiswaziddwa era kiwambiddwa.
Ekiddukiro kiswaziddwa era kimenyeddwa.+
2 Tebakyatendereza Mowaabu.
Mu Kesuboni+ bateesezza okumuzikiriza nga bagamba nti:
‘Mujje tusaanyeewo eggwanga lya Mowaabu liggwerewo ddala.’
Naawe Madumeni, sirika,
Kubanga ekitala kikugoberera.
3 Okukaaba kuwulirwa mu Kolonayimu,+
Okuzikirizibwa n’okugwa okw’amaanyi.
4 Mowaabu azikiriziddwa.
Abaana be bakaaba.
5 Bwe baba bambuka e Lukisi bagenda bakaaba.
Ate bwe baba bakkirira nga bava e Kolonayimu bawulira abakaaba olw’akabi akaguddewo.+
6 Mudduke muwonye obulamu bwammwe!
Mujja kuba ng’omuti oguli gwokka mu ddungu.
7 Olw’okuba weesiga by’okola n’eby’obugagga byo,
Naawe ojja kuwambibwa.
Ne Kemosi+ ajja kugenda mu buwaŋŋanguse,
Awamu ne bakabona be n’abaami be.
8 Omuzikiriza ajja kutuuka ku buli kibuga,
Era tewali kibuga kijja kulusimattuka.+
Ekiwonvu kijja kusaanawo,
Ensi ey’omuseetwe ejja kusaanyizibwawo, nga Yakuwa bw’agambye.
9 Mowaabu mumuteerewo akapande akamulaga ekkubo,
Kubanga ebibuga bye bwe binaafuuka amatongo abantu be bajja kubiddukamu,
Ebibuga bye bijja kufuuka ekintu eky’entiisa,
Nga tewali abibeeramu.+
10 Akolimiddwa oyo atakola mulimu gwa Yakuwa na mutima gwe gwonna!
Akolimiddwa oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi!
11 Abamowaabu babadde tebalina kibatawaanya okuva mu buvubuka bwabwe,
Balinga omwenge oguteese.
Tebattuluddwa kuva mu kita ekimu okudda mu kirala,
Tebagendangako mu buwaŋŋanguse.
Eyo ye nsonga lwaki empooma yaabwe tekyuse,
N’eddekende lyabwe terikyuse.
12 “‘Kale laba! ennaku zijja’ Yakuwa bw’agamba, ‘lwe ndituma abantu ne babawunzika. Balibawunzika ne bakaliza ebita byabwe, era balimenyaamenya amatogero gaabwe. 13 Abamowaabu balikwatibwa ensonyi olwa Kemosi, ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yakwatibwa ensonyi olwa Beseri, gye baali beesiga.+
14 Muyinza mutya okugamba nti: “Tuli balwanyi bazira, abeetegefu okulwana olutalo”?’+
15 ‘Mowaabu azikiriziddwa,
Ebibuga bye birumbiddwa,+
N’abasirikale baabwe abasingayo obulungi battiddwa,’+
Bw’ayogera Kabaka ayitibwa Yakuwa ow’eggye.+
16 Akabi kanaatera okujjira Abamowaabu,
Era okugwa kwabwe kujja mangu.+
17 Abo bonna ababeetoolodde bajja kubalumirirwa,
Abo bonna abamanyi erinnya lyabwe.
Mubagambe nti: ‘Omuggo ogw’amaanyi gumenyeddwa, omuggo omulungi!’
18 Va mu kifo kyo eky’ekitiibwa,
Otuule mu nnyonta,* ggwe omuwala abeera mu Diboni,+
Olw’okuba azikiriza Mowaabu akujjiridde,
Era ajja kuzikiriza ebigo byo.+
19 Yimirira ku luguudo otunule, ggwe abeera mu Aloweri.+
Buuza omusajja n’omukazi abadduseeyo nti, ‘Kiki ekibaddewo?’
20 Mowaabu aswaziddwa era agwiriddwa entiisa.
Mukube ebiwoobe era mukaabe.
Mulangirire mu Alunoni+ nti Mowaabu azikiriziddwa.
21 “Omusango gusaliddwa eri ensi ey’omuseetwe;+ eri Koloni, Yakazi,+ ne Mefaasi;+ 22 eri Diboni,+ Nebo,+ ne Besu-dibulasayimu; 23 eri Kiriyasayimu,+ Besu-gamuli, ne Besu-myoni;+ 24 eri Keriyoosi+ ne Bozula; n’eri ebibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu eby’okumpi n’ewala.
25 ‘Ejjembe* lya Mowaabu litemeddwa;
Omukono gwe gumenyeddwa,’ Yakuwa bw’agamba.
26 ‘Mumutamiize+ kubanga yeegulumirizza ku Yakuwa.+
Mowaabu yeevulunga mu bisesemye bye,
Era asekererwa.
27 Tewasekerera Isirayiri?+
Yasangibwa mu babbi,
Olyoke omunyeenyeze omutwe era omwogereko obubi?
28 Mmwe ababeera mu Mowaabu, muve mu bibuga mugende mubeere ku lwazi,
Mubeere ng’ejjiba erizimba ekisu kyalyo mu mabbali g’olukonko.’”
29 “Tuwulidde ku malala ga Mowaabu—yeekulumbaza nnyo—
Tuwulidde ku ngeri gye yeekuzaamu, ku malala ge, ku ngeri gye yeepankamu, ne ku kwegulumiza kw’omutima gwe.”+
30 “‘Mmanyi obusungu bwe,’ Yakuwa bw’agamba,
‘By’ayogera ebitaliimu nsa bijja kugwa butaka.
Tewali kye bajja kukola.
31 Eyo ye nsonga lwaki nja kukubira Mowaabu ebiwoobe,
Mowaabu nja kumukaabira
Era nja kukungubagira abantu ab’omu Kiru-keresi.+
Amatabi go aganyirira gasomose ennyanja.
Gatuuse ku nnyanja, era n’e Yazeri.
Omuzikiriza atuuse
Ku bibala byo eby’omu biseera eby’omusana era ne ku zzabbibu ly’okungudde.+
33 Okusanyuka n’okujaganya biggiddwa mu nnimiro ey’emiti egy’ebibala
Ne mu nsi ya Mowaabu.+
Nkomezza omwenge okukulukuta nga guva mu ssogolero.
Tewali n’omu ajja kusogola mwenge ng’aleekaana n’essanyu.
Wajja kubaawo okuleekaana naye nga si kwa ssanyu.’”+
Okukaaba mu Zowaali kuwuliddwa okutuuka mu Kolonayimu+ n’okutuuka mu Egulasu-serisiya.
N’amazzi g’omu Nimulimu gajja kulekebwa awo.+
35 Nja kukomya mu Mowaabu,’ Yakuwa bw’agamba,
‘Oyo atwala ekiweebwayo ku kifo ekigulumivu
N’oyo awaayo ssaddaaka eri katonda we.
36 Eyo ye nsonga lwaki omutima gwange gujja kukungubagira* Mowaabu ng’omulere,*+
Era omutima gwange gujja kukungubagira* abantu b’omu Kiru-keresi ng’omulere.*
Kubanga by’afunye bijja kusaanawo.
37 Buli mutwe gumwereddwako enviiri,+
Na buli kirevu kimwereddwa.
38 “‘Ku busolya bwonna obw’ennyumba za Mowaabu
Ne mu bibangirizi bye byonna ebya lukale,
Mulimu kukuba biwoobe kwokka.
Kubanga mmenye Mowaabu
Ng’ensumbi gye baasuula,’ Yakuwa bw’agamba.
39 ‘Ng’atidde nnyo! Mukube ebiwoobe!
Mowaabu akyuse n’addayo ng’aswadde!
Mowaabu afuuse ekisekererwa,
Ekintu eky’entiisa eri abo bonna abamwetoolodde.’”
40 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
41 Ebibuga bijja kuwambibwa,
N’ebigo bijja kuwambibwa.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi b’omu Mowaabu
Gijja kuba ng’omutima gw’omukazi azaala.’”
42 “‘Eggwanga lya Mowaabu lijja kusaanyizibwawo liggwerewo ddala,+
Kubanga lyeguluumirizza ku Yakuwa.+
43 Entiisa n’ekinnya n’omutego biri mu maaso go,
Ggwe abeera mu Mowaabu,’ Yakuwa bw’agamba.
44 ‘Oyo yenna alidduka entiisa aligwa mu kinnya,
N’oyo aliva mu kinnya aligwa mu mutego.’
‘Kubanga Mowaabu nja kumuleetako omwaka ogw’ekibonerezo kyabwe,’ Yakuwa bw’agamba.
45 ‘Abo abaddukayo bayimirira mu kisiikirize kya Kesuboni nga tebalina kye basobola kukola.
Kubanga omuliro gujja kuva mu Kesuboni
N’ennimi z’omuliro zijja kuva mu Sikoni.+
Bijja kwokya ekyenyi kya Mowaabu
N’akawanga k’abaana b’oluyoogaano.’+
46 ‘Zikusanze, ggwe Mowaabu!
Abantu ba Kemosi+ bazikiridde.
Kubanga abaana bo ab’obulenzi bawambiddwa,
N’abaana bo ab’obuwala bagenze mu buwaŋŋanguse.+
47 Naye mu nnaku ez’enkomerero, nja kukuŋŋaanya ab’omu Mowaabu abaawambibwa’ Yakuwa bw’agamba.
‘Omusango ogusaliddwa Mowaabu gukomye wano.’”+