1 Samwiri
5 Abafirisuuti bwe baawamba Essanduuko+ ya Katonda ow’amazima, baagiggya mu Ebenezeri ne bagitwala e Asudodi. 2 Abafirisuuti baatwala Essanduuko ya Katonda ow’amazima mu nnyumba* ya Dagoni era ne bagiteeka okumpi ne Dagoni.+ 3 Abasudodi bwe baagolokoka enkeera ku makya, ne basanga nga Dagoni agudde nga yeevuunise ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Yakuwa.+ Awo ne baddira Dagoni ne bamuzza mu kifo kye.+ 4 Bwe baagolokoka ku makya ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde nga yeevuunise ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Yakuwa, ng’omutwe gwe n’ebibatu by’emikono gye gyombi bitemeddwako, nga biri wansi mu mulyango. Ekitundu ekyali kifaanana ekyennyanja* kye kyokka ekyali kitamenyese. 5 Eyo ye nsonga lwaki n’okutuusa leero bakabona ba Dagoni n’abo bonna abayingira mu nnyumba ya Dagoni tebalinnya mu mulyango gw’ennyumba ya Dagoni mu Asudodi.
6 Omukono gwa Yakuwa gwali muzito nnyo ku Basudodi, era abantu b’omu Asudodi n’ebitundu ebikyetoolodde yabalwaza ebizimba.*+ 7 Abantu b’omu Asudodi bwe baalaba ebyali bibaddewo, ne bagamba nti: “Temuleka Ssanduuko ya Katonda wa Isirayiri kusigala naffe, kubanga atubonerezza nnyo ffe ne katonda waffe Dagoni.” 8 Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abafuzi bonna ab’Abafirisuuti ne bababuuza nti: “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri tugikolere ki?” Ne baddamu nti: “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.”+ Awo ne batwala eyo Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri.
9 Bwe baagitwala eyo, Yakuwa n’abonereza abantu b’omu kibuga ekyo ne bafuna entiisa ey’amaanyi. Yalwaza abantu b’omu kibuga, abato n’abakulu, ebizimba.+ 10 Awo ne baweereza Essanduuko ya Katonda ow’amazima e Ekulooni,+ naye Essanduuko ya Katonda ow’amazima olwatuuka e Ekulooni, abantu b’omu Ekulooni ne baleekaana nti: “Baleese Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri gye tuli okututta ffe n’abantu baffe!”+ 11 Awo ne batumya ne bakuŋŋaanya abafuzi b’Abafirisuuti bonna, ne bagamba nti: “Muweereze Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri eddeyo mu kifo kyayo ffe n’abantu baffe tuleme okuttibwa.” Kubanga abantu b’omu kibuga kyonna baali batidde nti bayinza okufa; omukono gwa Katonda ow’amazima gwali muzito nnyo eyo,+ 12 era abantu abataafa, baalwala ebizimba. Okukaaba kw’abantu ab’omu kibuga kwayambuka mu ggulu.