1 Samwiri
18 Dawudi olwamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani+ ne Dawudi ne bafuuka ba mukwano nnyo, Yonasaani n’atandika okumwagala nga bwe yali yeeyagala.+ 2 Okuva ku lunaku olwo, Sawulo yasigaza Dawudi era teyamukkiriza kuddayo wa kitaawe.+ 3 Yonasaani ne Dawudi baakola endagaano okuba ab’omukwano,+ olw’okuba yali amwagala nga bwe yali yeeyagala.+ 4 Yonasaani yeeyambulamu ekizibaawo kye ekitaliiko mikono n’akiwa Dawudi, era n’amuwa n’ebyambalo bye, n’ekitala kye, n’omutego gwe, n’omusipi gwe. 5 Dawudi yatandika okugenda okutabaala era yatuukanga ku buwanguzi*+ yonna Sawulo gye yamutumanga. N’olwekyo Sawulo yamufuula omukulu w’abasajja abalwanyi,+ era ekyo kyasanyusa nnyo abantu bonna n’abaweereza ba Sawulo.
6 Dawudi n’abalala bwe baakomangawo nga bava okutta Abafirisuuti, abakazi baavanga mu bibuga byonna ebya Isirayiri okusisinkana Kabaka Sawulo nga bayimba,+ nga bazina, nga bakuba obugoma obutono+ n’ebivuga eby’enkoba essatu, era nga bajaganya. 7 Abakazi abaabanga bajaganya baayimbanga nti:
“Sawulo asse enkumi,
Ne Dawudi asse emitwalo.”+
8 Sawulo yasunguwala nnyo,+ era ebigambo ebyo tebyamusanyusa, kubanga yagamba nti: “Dawudi bamuwadde mitwalo, nze ne bampa nkumi, kati basigalidde kumuwa bwakabaka!”+ 9 Okuva ku lunaku olwo Sawulo yatandika okwekengera Dawudi.
10 Ku lunaku olwaddirira, omwoyo omubi okuva eri Katonda gwajja ku Sawulo,+ n’atandika okweyisa mu ngeri eteri ya bulijjo* mu nnyumba nga Dawudi akuba entongooli+ nga bwe yakolanga. Sawulo yali akutte effumu mu mukono gwe,+ 11 era yalikasuka+ ng’agamba nti: ‘Nja kufumita Dawudi effumu limuyitemu likwate ekisenge!’ Yakasukira Dawudi effumu emirundi ebiri, naye nga Dawudi alyewoma. 12 Sawulo yali atya Dawudi olw’okuba Yakuwa yali naye,+ kyokka ng’avudde ku Sawulo.+ 13 Sawulo kyeyava aggya Dawudi ku gw’okuweereza mu maaso ge, n’amulonda okuba omukulu w’olukumi, Dawudi n’akulemberanga eggye mu ntalo.*+ 14 Dawudi yeeyongera okutuuka ku buwanguzi*+ mu byonna bye yakolanga, era Yakuwa yali naye.+ 15 Sawulo bwe yalaba nga buli kintu Dawudi ky’akola kimugendera bulungi, n’atandika okumutya. 16 Naye abantu bonna mu Isirayiri ne mu Yuda baayagalanga nnyo Dawudi, olw’okuba yabakulemberanga mu ntalo.
17 Oluvannyuma Sawulo yagamba Dawudi nti: “Muwala wange omukulu Merabu+ wuuno. Ŋŋenda kumukuwa abeere mukazi wo.+ Kyokka, njagala weeyongere okwoleka obuzira olwane entalo za Yakuwa.”+ Sawulo yagamba mu mutima gwe nti: ‘Omukono gwange ka guleme kumukolako kabi konna, omukono gw’Abafirisuuti gwe guba gumutta.’+ 18 Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti: “Nze ani, era ab’ennyumba ya kitange be baani mu Isirayiri, nze okuwasa muwala wa kabaka?”+ 19 Naye ekiseera bwe kyatuuka Dawudi aweebwe Merabu, muwala wa Sawulo, Merabu yali amaze okuweebwa Aduliyeri+ Omumekolasi abe mukazi we.
20 Mikali+ muwala wa Sawulo yali ayagala Dawudi, era ekyo baakibuulira Sawulo, ne kimusanyusa. 21 Sawulo n’agamba nti: “Nja kumumuwa abeere ekyambika gy’ali, Abafirisuuti bamutte.”+ Awo Sawulo n’agamba Dawudi omulundi ogw’okubiri nti: “Wasa muwala wa Kabaka.” 22 Ate era Sawulo yalagira abaweereza be nti: “Mwogere ne Dawudi mu kyama, mumugambe nti, ‘Kabaka akwagala, era n’abaweereza be bonna bakwagala nnyo. Wasa muwala wa Kabaka.’” 23 Abaweereza ba Sawulo bwe baagamba Dawudi ebintu ebyo, Dawudi n’abagamba nti: “Mulowooza kintu kitono okuwasa muwala wa kabaka, ng’ate ndi musajja mwavu era wa wansi?”+ 24 Abaweereza ba Sawulo ne bamubuulira ebyo Dawudi bye yali ayogedde.
25 Awo Sawulo n’agamba nti: “Mugambe Dawudi nti, ‘Kabaka tayagala bintu bya buko,+ naye ayagala ebikuta+ 100 ebikomoleddwa ku Bafirisuuti, awoolere eggwanga ku balabe ba kabaka.’” Kyokka Sawulo yali akola lukwe Dawudi attibwe Abafirisuuti. 26 Abaweereza ba Sawulo ne bagamba Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi ne kimusanyusa okuwasa muwala wa kabaka.+ Ekiseera ekyamuweebwa okusasula kabaka bwe kyali tekinnaggwaako, 27 Dawudi yagenda n’abasajja be ne batta Abafirisuuti 200, Dawudi n’atwalira kabaka ebikuta byonna bye yabakomolako, asobole okuwasa muwala wa kabaka. Awo Sawulo n’awa Dawudi Mikali muwala we abe mukazi we.+ 28 Sawulo n’ategeera nti Yakuwa yali ne Dawudi,+ era nti ne Mikali muwala we ayagala nnyo Dawudi.+ 29 Ekyo kyaleetera Sawulo okweyongera okutya Dawudi, era Sawulo n’afuuka mulabe wa Dawudi obulamu bwe bwonna.+
30 Abaami b’Abafirisuuti baatabaalanga, naye buli lwe baatabaalanga, Dawudi yatuukanga ku buwanguzi* okusinga abaweereza ba Sawulo bonna,+ era erinnya lye lyatenderezebwanga nnyo.+