2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
2 Awo Sulemaani n’alagira bazimbe ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa+ era bazimbe n’olubiri lwe.+ 2 Sulemaani n’alonda abakozi 70,000 okukola emirimu egy’enjawulo,* n’abasajja 80,000 okutema amayinja mu nsozi,+ n’abasajja 3,600 okubakulira.+ 3 Ate era Sulemaani yaweereza obubaka eri Kiramu+ kabaka wa Ttuulo obugamba nti: “Nkolera nga bwe wakolera kitange Dawudi, bwe wamuweereza embaawo z’entolokyo yeezimbire ennyumba* ey’okubeeramu.+ 4 Kaakano nzimba ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wange ngimutukulize, njoterezenga obubaani obw’akaloosa+ mu maaso ge, nzisengawo emigaati egipangibwa,*+ era mpengayo ebiweebwayo ebyokebwa ku makya n’akawungeezi,+ ku ssabbiiti,+ ku kuboneka kw’omwezi,+ ne ku mbaga+ za Yakuwa Katonda waffe. Kino Isirayiri eteekeddwa okukikola olubeerera. 5 Ennyumba gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba makula, kubanga Katonda waffe y’asinga bakatonda abalala bonna. 6 Ani asobola okumuzimbira ennyumba? Kubanga eggulu n’eggulu erisingayo okuba waggulu taligyaamu.+ Kale nze ani okumuzimbira ennyumba? Kye nnyinza okukola kyokka kwe kuzimba ennyumba omw’okwokyera ssaddaaka mu maaso ge. 7 Kaakano mpeereza omusajja omukugu mu kukola ebintu mu zzaabu ne mu ffeeza ne mu kikomo+ ne mu kyuma ne mu wuzi eza kakobe n’eza kasaayi n’eza bbulu, era ng’amanyi n’okwola. Ajja kukolera mu Yuda ne mu Yerusaalemi ng’ali wamu n’abasajja bange abakugu, Dawudi kitange be yalonda.+ 8 Era mpeereza embaawo z’entolokyo n’ez’emiberosi+ n’ez’omugavu+ okuva mu Lebanooni, kubanga nkimanyi bulungi nti abaweereza bo balina obumanyirivu mu kutema emiti gy’e Lebanooni.+ Abaweereza bange bajja kukolera wamu n’abaweereza bo+ 9 okuntegekera embaawo mu bungi, kubanga ennyumba gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba makula. 10 Abaweereza bo+ abatemi b’emiti nja kubawa emmere: koro* z’eŋŋaano 20,000, koro za ssayiri 20,000, ne basi* z’omwenge 20,000, n’ez’amafuta 20,000.”
11 Awo Kiramu kabaka wa Ttuulo n’awandiikira Sulemaani ebbaluwa ng’egamba nti: “Olw’okuba Yakuwa ayagala abantu be yakulonda okuba kabaka waabwe.” 12 Era Kiramu n’agamba nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi atenderezebwe, kubanga yawa Kabaka Dawudi omwana ow’amagezi,+ omutegeevu, era alina okumanya,+ ajja okuzimbira Yakuwa ennyumba era naye yeezimbire olubiri. 13 Kaakano nkuweereza Kiramu-abi+ omusajja omukugu era eyaweebwa okutegeera, 14 omwana w’omukazi ow’omu kika kya Ddaani naye nga kitaawe yali w’e Ttuulo. Omusajja oyo alina obumanyirivu mu kukola ebintu mu zzaabu ne mu ffeeza ne mu kikomo ne mu kyuma ne mu mayinja ne mu mbaawo ne mu wuzi eza kakobe n’eza bbulu ne mu ngoye ennungi ne mu wuzi eza kasaayi.+ Asobola okwola ebintu ebya buli kika era n’okuwunda ekintu kyonna ekiba kimuweereddwa okukola.+ Ajja kukolera wamu n’abasajja bo abakugu era n’aba mukama wange Dawudi kitaawo. 15 Kale kaakano mukama wange aweereze eŋŋaano ne ssayiri n’amafuta n’omwenge by’asuubizza abaweereza be.+ 16 Tujja kutema mu Lebanooni+ emiti gyonna gye weetaaga era tujja kugisiba wamu gibe ng’ebitindiro tugiteeke ku nnyanja tugikuweereze e Yopa,+ ggwe ogitwale e Yerusaalemi.”+
17 Awo Sulemaani n’abala abasajja bonna abagwira abaali mu nsi ya Isirayiri+ nga kitaawe Dawudi+ bwe yali akoze, era bonna awamu baali 153,600. 18 Abasajja 70,000 ku bo yabawa emirimu egitali gimu,* 80,000 n’abawa ogw’okutema amayinja+ mu nsozi, ate 3,600 n’abawa obuvunaanyizibwa obw’okukozesa abantu emirimu.+