Matayo
15 Awo Abafalisaayo n’abawandiisi+ ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu, ne bamugamba nti: 2 “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe? Ng’ekyokulabirako, tebanaaba mu ngalo* nga bagenda okulya emmere.”+
3 N’abaddamu nti: “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda olw’obulombolombo bwammwe?+ 4 Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’+ era nti ‘Oyo avuma kitaawe oba nnyina attibwenga.’+ 5 Naye mmwe mugamba nti, ‘Oyo agamba kitaawe oba nnyina nti: “Kyonna kye nnandikuwadde okukuyamba nnakiwaayo ng’ekirabo eri Katonda,”+ 6 aba talina kuyamba kitaawe.’ Mudibizza ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwammwe.+ 7 Mmwe bannanfuusi, Isaaya bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti:+ 8 ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. 9 Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.’”+ 10 Awo n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti: “Muwulire era mutegeere amakulu g’ebigambo bino:+ 11 Ekyo ekiyingira mu kamwa k’omuntu si kye kimwonoona, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke.”+
12 Awo abayigirizwa ne bajja ne bamugamba nti: “Okimanyi nti Abafalisaayo banyiize bwe bawulidde by’oyogedde?”+ 13 N’abaddamu nti: “Buli kimera Kitange ow’omu ggulu ky’ataasimba, kijja kusimbulwa. 14 Abo mubaleke. Be bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.”+ 15 Peetero n’amugamba nti: “Tunnyonnyole amakulu g’ekyokulabirako ekyo.” 16 N’abagamba nti: “Nammwe temunnaba kutegeera?+ 17 Temumanyi nti buli ekiyingira mu kamwa kiyita mu lubuto ne kifuluma? 18 Naye, ebyo ebifuluma mu kamwa biva mu mutima era bye byonoona omuntu.+ 19 Ng’ekyokulabirako, mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi:+ obutemu, obwenzi, ebikolwa eby’obugwenyufu,* obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola. 20 Ebyo bye byonoona omuntu, naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo* tekimwonoona.”
21 Yesu n’avaayo, n’agenda mu bitundu by’e Ttuulo ne Sidoni.+ 22 Laba! omukazi Omufoyiniikiya ow’omu bitundu ebyo n’ajja, n’ayogerera waggulu nti: “Nsaasira Mukama wange, Omwana wa Dawudi. Muwala wange atawaanyizibwa dayimooni.”+ 23 Naye n’atamuddamu kigambo kyonna. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti: “Mugambe agende kubanga atuleekaanira.” 24 N’addamu nti: “Saatumibwa walala wonna wabula eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.”+ 25 Naye omukazi n’asembera, n’amuvunnamira, n’amugamba nti: “Mukama wange, nnyamba!” 26 N’amuddamu nti: “Tekiba kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.” 27 Omukazi n’amuddamu nti: “Yee ssebo, naye obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”+ 28 Yesu n’amugamba nti: “Mukazi ggwe, okukkiriza kwo kwa maanyi nnyo; ka kibeere nga bw’oyagala.” Muwala we n’awona mu kiseera ekyo.
29 Yesu bwe yava eyo, n’agenda okumpi n’Ennyanja ey’e Ggaliraaya,+ n’ayambuka ku lusozi n’atuula eyo. 30 Ekibiina ky’abantu ne kijja gy’ali nga baleese abalema, abaliko obulemu, abazibe b’amaaso, abatayogera, n’abalwadde abalala bangi, ne babateeka kumpi n’ebigere bye, n’abawonya.+ 31 Abantu ne beewuunya nnyo bwe baalaba abaali batayogera nga boogera, abalema nga batambula, abaliko obulemu nga bawonye, n’abazibe b’amaaso nga balaba, era ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.+
32 Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti: “Abantu bano mbasaasira,+ kubanga kati ziweze ennaku ssatu nga bali nange, naye nga tebalina kya kulya; era saagala kubasiibula nga tebalina kye balidde. Bayinza okugwa ku kkubo.”+ 33 Naye abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mu kifo kino ekyesudde, tunaggya wa emigaati egimala okukkusa abantu bano bonna?”+ 34 Yesu n’abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamugamba nti: “Musanvu, era n’obwennyanja butono.” 35 Awo oluvannyuma lw’okugamba abantu okutuula wansi, 36 Yesu yakwata emigaati omusanvu n’obwennyanja, ne yeebaza, n’abimenyamu, n’abiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne babigabira abantu.+ 37 Bonna ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwafikkawo ne bajjuza ebisero ebinene musanvu.+ 38 Abo abaalya baali abasajja 4,000 nga tobaliddeeko bakazi na baana. 39 Bwe yamala okusiibula abantu, n’alinnya eryato n’agenda mu bitundu by’e Magadani.+