Okubikkulirwa
16 Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga liva mu kifo ekitukuvu+ nga ligamba bamalayika omusanvu nti: “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda.”+
2 Eyasooka n’agenda, n’ayiwa ekibya kye ku nsi.+ Amabwa agaluma ennyo era amabi ennyo+ ne gakwata abantu abaalina akabonero k’ensolo+ era abaali basinza ekifaananyi kyayo.+
3 Ow’okubiri n’ayiwa ekibya kye mu nnyanja.+ N’efuuka ng’omusaayi+ gw’omuntu afudde era buli ekirina obulamu ne kifa, kwe kugamba, ebintu ebiri mu nnyanja.+
4 Ow’okusatu n’ayiwa ekibya kye mu migga ne mu nsulo z’amazzi,+ ne bifuuka musaayi.+ 5 Ne mpulira malayika alina obuyinza ku mazzi ng’agamba nti: “Ggwe aliwo era eyaliwo,+ Omwesigwa,+ oli mutuukirivu kubanga osaze emisango gino.+ 6 Olw’okuba baayiwa omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi,+ naawe obawadde omusaayi bagunywe.+ Kibagwanira.”+ 7 Ne mpulira ekyoto nga kigamba nti: “Weewaawo, Yakuwa* Katonda, Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ emisango gy’osala gya mazima era gya butuukirivu.”+
8 Ow’okuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba;+ enjuba n’ekkirizibwa okwokya abantu omuliro. 9 Abantu ne bookebwa ebbugumu eringi, naye ne bavvoola erinnya lya Katonda eyalina obuyinza ku bibonyoobonyo ebyo, era tebeenenya basobole okumuwa ekitiibwa.
10 Ow’okutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe y’ensolo ey’obwakabaka. Obwakabaka bwayo ne bukwata ekizikiza,+ abantu ne batandika okuluma ennimi zaabwe olw’obulumi, 11 naye ne bavvoola Katonda w’eggulu olw’obulumi bwabwe n’olw’amabwa gaabwe era tebeenenya bikolwa byabwe.
12 Ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati,+ era amazzi gaagwo ne gakalira,+ bakabaka abava ebuvanjuba basobole okuteekerwateekerwa ekkubo.+
13 Ne ndaba ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebitali birongoofu* bisatu ebifaanana ng’ebikere nga biva mu kamwa k’ogusota+ ne mu kamwa k’ensolo ne mu kamwa ka nnabbi ow’obulimba. 14 Mu butuufu, ebyo bigambo ebyaluŋŋamizibwa badayimooni, ebikola obubonero+ era ebigenda eri bakabaka b’ensi yonna, okubakuŋŋaanya awamu balwane olutalo+ olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.+
15 “Laba! Nzija ng’omubbi.+ Alina essanyu oyo asigala ng’atunula+ n’ataggibwako byambalo bye eby’okungulu, kubanga singa babimuggyako, asigala ali bwereere abantu ne balaba ensonyi ze.”+
16 Ne bibakuŋŋaanya wamu mu kifo ekiyitibwa Amagedoni* mu Lwebbulaniya.+
17 Ow’omusanvu n’ayiwa ekibya kye mu mpewo. Awo eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu kifo ekitukuvu+ ku ntebe y’obwakabaka nga ligamba nti: “Kiwedde!” 18 Ne wabaawo okumyansa, amaloboozi, okubwatuka kw’eggulu, ne musisi ow’amaanyi atabangawo kasookedde abantu babeera ku nsi;+ musisi oyo yali wa maanyi nnyo. 19 Ekibuga ekinene+ ne kyeyasaamu ebitundu bisatu, era ebibuga by’amawanga ne bizikirira; Katonda n’ajjukira Babulooni Ekinene,+ okukiwa ekikopo eky’omwenge ogw’obusungu bwe obungi.+ 20 Buli kizinga ne kidduka, era n’ensozi tezaalabika.+ 21 Omuzira ogw’amaanyi, nga buli kitole kizitowa ttalanta ng’emu,* ne guva mu ggulu ne gugwa ku bantu,+ abantu ne bavvoola Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo+ kubanga kyali kya maanyi nnyo.