Ekyamateeka
10 “Mu kiseera ekyo Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Weetemere ebipande bibiri eby’amayinja nga biringa biri ebyasooka+ ojje gye ndi ku lusozi. Era ojja kukola n’essanduuko ey’embaawo. 2 Nja kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka bye wamenya, era ojja kubissa mu ssanduuko.’ 3 Bwe ntyo nnakola essanduuko mu mbaawo z’omuti gwa sita era ne ntema ebipande by’amayinja bibiri nga biringa biri ebyasooka, ne nnyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande ebibiri mu mukono gwange.+ 4 Awo n’awandiika ku bipande ebigambo bye bimu ng’ebyasooka,+ Ebiragiro Ekkumi,*+ Yakuwa bye yali abalagidde ku lusozi ng’ayima mu muliro,+ ku lunaku ekibiina lwe kyakuŋŋaana;+ era Yakuwa n’abimpa. 5 Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi+ ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nnali nkoze, era biri omwo nga Yakuwa bwe yandagira.
6 “Awo Abayisirayiri ne basitula okuva e Beerosu Bene-yaakani okugenda e Mosera. Eyo Alooni gye yafiira era gye yaziikibwa,+ Eriyazaali mutabani we n’atandika okuweereza nga kabona mu kifo kye.+ 7 Bwe baava eyo ne bagenda e Gudugoda, ne bava e Gudugoda ne bagenda e Yotubasa,+ ensi erimu emigga egikulukuta.
8 “Mu kiseera ekyo Yakuwa yayawulawo ekika kya Leevi+ okusitulanga essanduuko y’endagaano ya Yakuwa,+ okuyimiriranga mu maaso ga Yakuwa okumuweereza, n’okuwanga abantu omukisa mu linnya lye+ nga bwe bakola n’okutuusa leero. 9 Eyo ye nsonga lwaki Leevi teyaweebwa mugabo wadde obusika mu baganda be. Yakuwa bwe busika bwe, nga Yakuwa Katonda wo bwe yamugamba.+ 10 Era nze nnamala ku lusozi ennaku 40, emisana n’ekiro,+ nga bwe nnali nkoze okusooka, era ne ku mulundi ogwo Yakuwa yampuliriza.+ Yakuwa yasalawo obutabazikiriza. 11 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Situka ogende okulemberemu abantu, bateeketeeke okusitula bagende batwale ensi gye nnalayira okuwa bajjajjaabwe.’+
12 “Kale kaakano Isirayiri, Yakuwa Katonda wo akwetaaza ki?+ Kino ky’akwetaaza: okutyanga Yakuwa Katonda wo,+ okutambuliranga mu makubo ge gonna,+ okumwagalanga, okuweerezanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna,+ 13 n’okukwatanga ebiragiro bya Yakuwa n’amateeka ge bye nkulagira leero ku lw’obulungi bwo.+ 14 Laba, Yakuwa Katonda wo ye nnannyini ggulu, n’eggulu erisingayo okuba waggulu, n’ensi ne byonna ebigirimu.+ 15 Yakuwa yayagala bajjajjaabo bw’atyo n’alonda mmwe ezzadde lyabwe+ okuva mu mawanga gonna, nga bwe kiri leero. 16 Kale mulongoose emitima gyammwe*+ era mulekere awo okubeera abakakanyavu.*+ 17 Kubanga Yakuwa Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda bonna+ era ye Mukama wa bakama, ye Katonda ow’ekitalo, ow’amaanyi, era ow’entiisa, atasosola+ era atalya nguzi, 18 akola ku nsonga z’omwana atalina kitaawe* n’eza nnamwandu+ mu bwenkanya, era ayagala omugwira+ n’amuwa emmere n’eky’okwambala. 19 Nammwe mwagalenga omugwira, kubanga mwali bagwira mu nsi ya Misiri.+
20 “Otyanga Yakuwa Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza+ era ye gw’obanga onywererako, era mu linnya lye mw’obanga olayirira. 21 Ye gw’obanga otendereza,+ ye Katonda wo akukoledde ebintu bino byonna eby’ekitalo era eby’entiisa amaaso go bye galabye.+ 22 Bajjajjaabo baagenda e Misiri nga bali abantu 70,+ naye kaakano Yakuwa Katonda wo akwazizza ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.+