Ebikolwa
24 Oluvannyuma lw’ennaku ttaano, Ananiya kabona asinga obukulu+ n’abamu ku bakadde ne Terutuulo munnamateeka baagenda eri gavana ne bamutegeeza omusango gwe baali bavunaana Pawulo.+ 2 Terutuulo bwe yayitibwa, n’atandika okuvunaana Pawulo ng’agamba nti:
“Ow’ekitiibwa Ferikisi, otuleetedde emirembe mingi n’enkyukakyuka mu ggwanga lino olw’enkola yo ennungi, 3 era ebintu ebyo tubisiima nnyo bulijjo era ne mu buli kifo. 4 Naye obutakumalira biseera, nkusaba otulage ekisa oweeyo akaseera katono otuwulirize. 5 Tukizudde nti omusajja ono wa mutawaana,*+ aleetera Abayudaaya mu nsi yonna okujeemera gavumenti,+ era y’akulembera akabiina k’Abannazaaleesi.+ 6 Yagezaako okutyoboola yeekaalu, ne tumukwata.+ 7 *— 8 Naawe kennyini bw’onoomubuuza, ojja kumanya ebintu bino bye tumuvunaana.”
9 Awo Abayudaaya ne bamwegattako ne balumiriza nti ebintu ebyo bituufu. 10 Gavana bwe yawenya ku Pawulo okwogera, Pawulo n’agamba nti:
“Nkimanyi bulungi nti obadde mulamuzi wa ggwanga lino okumala emyaka mingi, n’olwekyo nja kwewozaako nga ndi mugumu.+ 11 Nga bw’oyinza okukyezuulira, tewannayita nnaku 12 kasookedde ŋŋenda mu Yerusaalemi okusinza;+ 12 era tebansanga nga mpakana n’omuntu yenna mu yeekaalu oba nga nsasamaza abantu mu makuŋŋaaniro oba mu kibuga. 13 Ate era tebalina bukakafu bwonna ku bintu bye banvunaana kati. 14 Naye njagala okukutegeeza kino nti ensinza gye ngoberera bo gye bayita ‘akabiina,’ mwe mpeerereza Katonda wa bajjajjange,+ nga nzikiriza ebintu byonna ebiri mu Mateeka ne mu bitabo bya bannabbi.+ 15 Era nnina essuubi mu Katonda nga nabo lye balina, nti wajja kubaawo okuzuukira+ kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.+ 16 Eyo ye nsonga lwaki bulijjo nfuba nnyo okuba n’omuntu w’omunda omuyonjo* mu maaso ga Katonda n’abantu.+ 17 Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nnajja okuleetera ab’eggwanga lyange ebirabo+ n’okuwaayo ebiweebwayo. 18 Bwe nnali nkola ebintu ebyo, bansanga mu yeekaalu nga mmaze okwetukuza,+ naye nga siri na kibiina ky’abantu era nga tewaliiwo luyoogaano. Kyokka waaliwo Abayudaaya abamu abaava mu ssaza ly’e Asiya, 19 abateekeddwa okubeera wano mu maaso go bannumirize obanga waliwo ekikyamu kye nnakola.+ 20 Oba, abasajja abali wano bennyini boogere ekikyamu kye baazuula ku nze bwe nnayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, 21 okuggyako ebigambo bino bye nnayogera nga nnyimiridde mu maaso gaabwe nti: ‘Nvunaanibwa mu maaso gammwe olw’essuubi ery’okuzuukira kw’abafu!’”+
22 Naye olw’okuba Ferikisi yali amanyi bulungi ebikwata ku Kkubo lino,+ yayongezaayo omusango gwabwe ng’agamba nti: “Lusiya omuduumizi w’amagye bw’alimala okujja, ndisala omusango gwammwe.” 23 Awo n’alagira omukulu w’ekibinja ky’abasirikale nti Pawulo akuumirwe mu kkomera naye nga takugirwa nnyo, era abantu be bakkirizibwe okukola ku byetaago bye.
24 Bwe waayitawo ennaku, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira eyali Omuyudaaya, n’atumya Pawulo, n’amuwuliriza ng’ayogera ebikwata ku kukkiririza mu Kristo Yesu.+ 25 Naye Pawulo bwe yayogera ebikwata ku butuukirivu, okwefuga, n’okusala omusango okulibaawo,+ Ferikisi n’atya, n’amugamba nti: “Kaakano genda, naye bwe nnaafuna akaseera nja kukutumya nate.” 26 Kyokka mu kiseera kye kimu yali asuubira Pawulo okumuwa ssente. Kyeyavanga amutumya enfunda n’enfunda n’anyumya naye. 27 Bwe waayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu kifo kya Ferikisi; naye olw’okuba Ferikisi yayagala okuganja eri Abayudaaya,+ n’aleka Pawulo nga musibe.