Engero
29 Omuntu anenyezebwa enfunda n’enfunda naye n’akakanyaza ensingo ye,*+
Ajja kumenyebwa mbagirawo abe nga tasobola kuwona.+
2 Abatuukirivu bwe baba abangi abantu basanyuka,
Naye omubi bw’afuga, abantu basinda.+
4 Kabaka bw’afuga n’obwenkanya aleeta obutebenkevu mu nsi ye,+
Naye omuntu ayagala enguzi ayonoona ensi.
5 Omuntu awaanawaana munne
Atega ebigere bye ekitimba.+
9 Omuntu ow’amagezi bw’akaayana n’omusirusiru,
Omusirusiru aleekaana n’amusekerera, era omuntu ow’amagezi talina ky’aganyulwamu.+
10 Abantu abaagala okuyiwa omusaayi tebaagala muntu yenna ataliiko kya kunenyezebwa,+
Era baagala okuggyawo obulamu bw’abagolokofu.*
12 Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba,
Abaweereza be bonna baba babi.+
13 Omwavu n’oyo anyigiriza abalala kino kye bafaanaganya:*
Yakuwa y’awa amaaso gaabwe bombi ekitangaala.*
16 Ababi bwe beeyongera n’ebikolwa ebibi byeyongera,
Naye abatuukirivu balibalaba nga bagwa.+
17 Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe;
Era alikuleetera essanyu lingi.+
18 Awatali kuluŋŋamizibwa Katonda,* abantu bakola kyonna kye baagala,+
Naye abo abakwata amateeka baba basanyufu.+
19 Omuweereza takangavvulwa na bigambo bugambo,
Kubanga wadde ategeera, tassa mu nkola.+
20 Wali olabye omuntu ayanguyiriza okwogera?+
Omusirusiru wandimusuubira okukyusaamu okusinga omuntu ng’oyo.+
21 Omuweereza bwe bamuginya okuva mu buvubuka bwe,
Mu maaso eyo alifuuka omuntu atasiima.
24 Munne w’omubbi akyawa obulamu bwe.
Ayinza okuwulira ekirango ekiyita ab’okuwa obujulizi,* naye n’atavaayo kubaako ky’ayogera.+