Yoswa
1 Musa omuweereza wa Yakuwa bwe yafa, Yakuwa n’agamba Yoswa*+ mutabani wa Nuuni, omuweereza+ wa Musa nti: 2 “Musa omuweereza wange afudde.+ Kale kaakano weeteeketeeke, ggwe n’abantu bano bonna, musomoke Omugga Yoludaani mugende mu nsi gye ŋŋenda okuwa abantu ba Isirayiri.+ 3 Buli kifo kye munaalinnyamu ekigere nja kukibawa, nga bwe nnasuubiza Musa.+ 4 Ensalo yammwe ejja kuva mu ddungu etuuke ku Lebanooni ne ku mugga omunene, Omugga Fulaati—ensi yonna ey’Abakiiti+—era etuuke ne ku Nnyanja Ennene* ku luuyi olw’ebugwanjuba.+ 5 Tewajja kuba muntu yenna asobola kukuwangula ekiseera kyonna eky’obulamu bwo.+ Nja kubeeranga naawe+ nga bwe nnabeeranga ne Musa. Sirikuleka era sirikwabulira.+ 6 Beera muvumu era beera wa maanyi,+ kubanga ggwe anaasobozesa abantu bano okusikira ensi gye nnalayirira bajjajjaabwe okugibawa.+
7 “Beera muvumu era beera wa maanyi nnyo, osobole okukwata Amateeka gonna omuweereza wange Musa ge yakulagira okukwata. Togavangako n’odda ku kkono oba ku ddyo,+ osobole okweyisa mu ngeri ey’amagezi yonna gy’onoogendanga.+ 8 Ekitabo kino eky’Amateeka tekivanga ku mimwa gyo,+ era onookisomanga n’okifumiitirizangako* emisana n’ekiro, osobole okukolera ku ebyo byonna ebikirimu;+ olwo lw’onootuuka ku buwanguzi era ne weeyisa mu ngeri ey’amagezi.+ 9 Si nze akulagidde? Beera muvumu era beera wa maanyi. Totya era totekemuka, kubanga Yakuwa Katonda wo anaabeeranga naawe yonna gy’onoogendanga.”+
10 Awo Yoswa n’alagira abaami b’abantu nti: 11 “Muyiteeyite mu lusiisira mulagire abantu nti, ‘Muteeketeeke emmere, kubanga ennaku ssatu okuva leero mugenda kusomoka Omugga Yoludaani mulye ensi Yakuwa Katonda wammwe gy’abawa.’”+
12 Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni n’ab’ekika kya Gaadi n’ab’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase nti: 13 “Mujjukirenga ebyo Musa omuweereza wa Yakuwa bye yayogera ng’abagamba nti:+ ‘Yakuwa Katonda wammwe abawa emirembe era abawadde ensi eno. 14 Bakazi bammwe n’abaana bammwe abato bajja kusigala n’ebisolo byammwe, mu kitundu Musa kye yabawa ku luuyi luno* olwa Yoludaani;+ naye mmwe mmwenna abalwanyi abazira+ mukulemberemu baganda bammwe musomoke nga mulinga eggye eryetegekedde olutalo. Mulina okuyamba baganda bammwe+ 15 okutuusa Yakuwa lw’alibawa emirembe nga nammwe bwe yagibawa, era okutuusa nabo lwe balimala okulya ensi Yakuwa Katonda wammwe gy’abawa, olwo ne mulyoka muddayo mu kitundu Musa omuweereza wa Yakuwa kye yabawa okubeeramu ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani.’”+
16 Awo ne baddamu Yoswa nti: “Byonna by’otulagidde tujja kubikola, era tujja kugendanga yonna gy’onootutumanga.+ 17 Nga bwe twawulirizanga byonna Musa bye yatugambanga, naawe tujja kukuwulirizanga. Yakuwa Katonda wo k’abeere naawe nga bwe yali ne Musa.+ 18 Omuntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo era n’atakola buli ky’omulagira, anattibwanga.+ Naye ggwe beera muvumu era beera wa maanyi.”+