Yeremiya
29 Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza ng’ali e Yerusaalemi; yagiweereza abakadde abaali basigaddewo abaali mu bantu abaawaŋŋangusibwa, bakabona, bannabbi, n’abantu bonna Nebukadduneeza be yaggya mu Yerusaalemi n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni. 2 Yagiweereza nga Kabaka Yekoniya,+ nnamasole,+ abakungu, abaami b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, abakugu mu mirimu egy’emikono, n’abaweesi,* bamaze okuva mu Yerusaalemi.+ 3 Yagikwasa Erasa mutabani wa Safani+ ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda be yatuma eri Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni. Ebbaluwa yali egamba bw’eti:
4 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba abantu bonna abaawaŋŋangusibwa, be nnaleka ne baggibwa mu Yerusaalemi ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni, 5 ‘Muzimbe ennyumba muzibeeremu, musige ensigo mu nnimiro mulye ebibala byamu. 6 Muwase abakazi muzaale abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, era mufumbize bawala bammwe, nabo bazaale abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. Mweyongere obungi nga muli eyo era temukendeera. 7 Mukolerere emirembe gy’ekibuga mwe nnabawaŋŋangusiza, era mukisabire eri Yakuwa, kubanga bwe kibaamu emirembe nammwe mujja kuba n’emirembe.+ 8 Kubanga bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Bannabbi bammwe n’abalaguzi bammwe abali mu mmwe temubakkiriza kubalimba,+ era temuwuliriza nga bababuulira ebirooto bye baloota. 9 Kubanga ‘babalagula eby’obulimba mu linnya lyange. Sibatumangako,’+ Yakuwa bw’agamba.”’”
10 “Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Emyaka 70 mu Babulooni bwe giriggwaako, ndibajjukira+ ne ntuukiriza kye nnasuubiza ne mbakomyawo mu kifo kino.’+
11 “‘Kye ndowooza okubakolera nkimanyi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi,+ musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.+ 12 Mujja kunkoowoola era mujja kujja munsabe, nange nja kubawuliriza.’+
13 “‘Mujja kunnoonya munzuule,+ olw’okuba mujja kunnoonya n’omutima gwammwe gwonna.+ 14 Nja kubaleka munzuule,’+ Yakuwa bw’agamba. ‘Nja kukuŋŋaanya abantu bammwe abaawambibwa, era nja kubakuŋŋaanya mmwe mbaggye mu mawanga gonna ne mu bifo gye nnabasaasaanyiza,’+ Yakuwa bw’agamba. ‘Nja kubakomyawo mu kifo gye nnabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse.’+
15 “Naye mugambye nti, ‘Yakuwa atuteereddewo bannabbi mu Babulooni.’
16 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba kabaka atudde ku ntebe ya Dawudi+ n’abantu bonna ababeera mu kibuga kino, baganda bammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse, 17 ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Nja kubasindikira ekitala, enjala, n’endwadde,+ era nja kubafuula ng’ebibala eby’ettiini ebivundu* ebitayinza kuliibwa.”’+
18 “‘Ate era nja kubayigganya nga nkozesa ekitala,+ enjala, n’endwadde, era nja kubafuula ekintu eky’entiisa eri obwakabaka bwonna obw’omu nsi,+ era ekikolimo, era ekintu ekiwuniikiriza, era ekintu kye bafuuyira oluwa,+ era ekivume mu mawanga gonna gye nnaabasaasaanyiza,+ 19 kubanga tebaawuliriza bigambo byange bye nnabagamba nga mpitira mu baweereza bange bannabbi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘nga mbatuma enfunda n’enfunda.’*+
“‘Naye tebaawuliriza,’+ Yakuwa bw’agamba.
20 “Kale muwulire ekigambo kya Yakuwa, mmwe mmwenna abali mu buwaŋŋanguse, be nnagoba mu Yerusaalemi ne mugenda e Babulooni. 21 Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne ku Zeddeekiya mutabani wa Maaseya, ababagamba eby’obulimba mu linnya lyange,+ ‘Laba ŋŋenda kubawaayo mu mukono gwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era ajja kubatta nga mulaba. 22 Ekigenda okubatuukako, abantu ba Yuda bonna abali mu buwaŋŋanguse e Babulooni banaakikozesanga nga balina gwe bakolimira, ne bagamba nti: “Yakuwa k’akufuule nga Zeddeekiya ne Akabu, kabaka wa Babulooni be yayokya mu muliro!” 23 kubanga bakoze ebiswaza mu Isirayiri;+ benze ku baka bannaabwe era boogedde eby’obulimba mu linnya lyange, bye saabagamba.+
“‘“Nze mmanyi, era ndi mujulirwa,”+ Yakuwa bw’agamba.’”
24 “Era ne Semaaya+ ow’e Nekeramu ojja kumugamba nti, 25 ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, “Olw’okuba waweereza amabaluwa mu linnya lyo eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi, n’eri Zeffaniya+ kabona mutabani wa Maaseya, n’eri bakabona bonna, ng’ogamba nti, 26 ‘Yakuwa akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona, obe omulabirizi w’ennyumba ya Yakuwa, nga ggwe avunaanyizibwa ku buli mulalu eyeefuula nnabbi, era nga ggwe amuteeka mu nvuba;+ 27 kati olwo lwaki tonenyezza Yeremiya ow’e Anasosi+ eyeefuula nga nnabbi gye muli?+ 28 Kubanga yatutumira n’okututumira e Babulooni ng’agamba nti: “Ekiseera ky’obuwaŋŋanguse kijja kuba kiwanvu. Muzimbe ennyumba muzibeeremu, era musige ensigo mu nnimiro mulye ebibala byamu,+—”’”’”
29 Zeffaniya+ kabona bwe yasoma ebbaluwa eyo nga nnabbi Yeremiya awulira, 30 Yakuwa n’agamba Yeremiya nti: 31 “Tumira abantu abaawaŋŋangusibwa obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku Semaaya ow’e Nekeramu: “Olw’okuba Semaaya yabalagula wadde nga saamutuma, era n’agezaako okubakkirizisa eby’obulimba,+ 32 bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Laba, ŋŋenda kubonereza Semaaya ow’e Nekeramu ne bazzukulu be. Tewali n’omu ku bantu be anaawonawo mu bantu bano, era tajja kulaba birungi bye nnaakolera abantu bange,’ Yakuwa bw’agamba, ‘kubanga akubirizza abantu okujeemera Yakuwa.’”’”