Yeremiya
31 “Mu kiseera ekyo,” Yakuwa bw’agamba, “ndiba Katonda w’ebika bya Isirayiri byonna, era nabo baliba bantu bange.”+
2 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Abantu abaawona ekitala baasaasirwa mu ddungu,
Isirayiri bwe yali agenda mu kifo kye eky’okuwummuliramu.”
3 Yakuwa yandabikira ng’ayima wala n’aŋŋamba nti:
“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo.
Kyenvudde nkusembeza gye ndi n’okwagala okutajjulukuka.*+
4 Nja kuddamu nkuzimbe era ojja kuzimbibwa.+
6 Ekiseera kirijja abakuumi ab’omu nsozi za Efulayimu lwe balikoowoola nga bagamba nti:
‘Musituke twambuke ku Sayuuni eri Yakuwa Katonda waffe.’”+
7 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Muyimbire Yakobo n’essanyu.
Mwogerere waggulu n’essanyu kubanga mmwe mukulira amawanga.+
Mukirangirire; mutendereze era mugambe nti,
‘Ai Yakuwa, lokola abantu bo, Abayisirayiri abasigaddewo.’+
8 Nja kubakomyawo okuva mu nsi ey’ebukiikakkono.+
Nja kubakuŋŋaanya okuva mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.+
Mu bo mujja kubaamu abazibe b’amaaso n’abalema,+
Omukazi ali olubuto n’omukazi ali okumpi okuzaala, bonna awamu.
Bajja kudda wano ng’ekibiina ekinene.+
9 Bajja kujja nga bakaaba.+
Nja kubakulembera ng’eno bwe beegayirira okusaasirwa.
Kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri, era Efulayimu ye mwana wange omubereberye.”+
10 Mmwe amawanga, muwulire ekigambo kya Yakuwa,
Era mukirangirire mu bizinga ebiri ewala:+
“Oyo eyasaasaanya Isirayiri ajja kumukuŋŋaanya.
Ajja kumulabirira ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye.+
12 Bajja kujja boogerere waggulu n’essanyu ku ntikko ya Sayuuni+
Era basanyuke olw’obulungi bwa Yakuwa,*
Olw’emmere ey’empeke n’omwenge omusu+ n’amafuta,
N’olw’abaana b’endiga n’ente.+
13 “Mu kiseera ekyo omuwala embeerera alizina ng’asanyuka,
N’abavubuka n’abakadde balizina nga basanyuka.+
Okukungubaga kwabwe ndikufuula okujaganya.+
Ndibabudaabuda era ennaku yaabwe ne ngifuula essanyu.+
14 Bakabona ndibawa emmere nnyingi ne bamatira,
Era abantu bange baliba bamativu n’ebirungi bye ndibawa,”+ Yakuwa bw’agamba.
15 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
‘Eddoboozi liwulirwa mu Laama,+ okukungubaga n’okwaziirana:
Laakeeri akaabira batabani* be.+
Tayagala kubudaabudibwa olw’abaana be,
Kubanga tebakyaliwo.’”+
16 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“‘Tokaaba era toganya maaso go kukulukusa maziga,
Kubanga ojja kuweebwa empeera olw’ebyo by’okola,’ Yakuwa bw’agamba.
‘Bajja kudda okuva mu nsi y’omulabe.’+
17 ‘Olina essuubi mu biseera eby’omu maaso,’+ Yakuwa bw’agamba.
‘Abaana bo bajja kudda mu nsi yaabwe.’”+
Nkomyawo, nange nja kukyuka nkomewo,
Kubanga ggwe Yakuwa Katonda wange.
Nnawulira okuswala okw’amaanyi,+
Olw’ebyo bye nnakola nga nkyali muto.’”
20 “Efulayimu si mwana wa muwendo nnyo gye ndi, omwana omwagalwa?+
Kubanga buli lwe mmwogerako obubi, nsigala mmujjukira.
Omwoyo kyeguvudde gunnuma ku lulwe.+
Era nja kumukwatirwa ekisa,” Yakuwa bw’agamba.+
21 “Weeteerewo obubonero ku kkubo,
Era ssaawo ebipande.+
Weetegereze oluguudo; weetegereze ekkubo ly’olina okuyitamu.+
Komawo, ggwe omuwala wa Isirayiri embeerera, komawo mu bibuga byo bino.
22 Olituusa wa obutanywerera wamu, ggwe omuwala atali mwesigwa?
Yakuwa atonzeewo ekintu ekiggya ku nsi:
Omukazi ajja kwetayirira omusajja.”
23 Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Baliddamu okwogera ebigambo bino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo bwe ndikomyawo abasibe baabwe: ‘Yakuwa k’akuwe omukisa, ggwe ekifo eky’obutuukirivu eky’okubeeramu,+ ggwe olusozi olutukuvu.’+ 24 Yuda n’ebibuga byamu byonna biribeeramu abantu; abalimi n’abasumba balibeera omwo.+ 25 Kubanga abakooye ndibazzaamu endasi era ababonaabona olw’enjala ndibakkusa.”+
26 Awo ne nzuukuka ne ntunula, naye otulo twali tumpoomera.
27 “Laba! Ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndisiga mu nnyumba ya Isirayiri n’eya Yuda ensigo* ez’abantu n’ensolo.”+
28 “Nga bwe nnali omwetegefu okubasimbula, okubamenyaamenya, okubasuula, okubazikiriza, n’okubakolako akabi,+ bwe ntyo bwe nja okuba omwetegefu okubazimba, n’okubasimba,”+ Yakuwa bw’agamba. 29 “Mu nnaku ezo baliba tebakyagamba nti, ‘Bataata be baalya ebibala by’ezzabbibu ebituŋŋununa, naye amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’*+ 30 Naye buli muntu alifa olw’ensobi ze. Omuntu yenna alya ebibala by’ezzabbibu ebituŋŋununa amannyo gwe galinyenyeera.”
31 “Laba! Ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndikola endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri era n’ennyumba ya Yuda.+ 32 Teriba ng’endagaano gye nnakola ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi ya Misiri,+ ‘endagaano yange gye baamenya,+ wadde nga nze nnali mukama* waabwe omutuufu,’ Yakuwa bw’agamba.”
33 “Eno ye ndagaano gye ndikola n’ennyumba ya Isirayiri oluvannyuma lw’ennaku ezo,” Yakuwa bw’agamba. “Nditeeka amateeka gange munda mu bo,+ era ndigawandiika ku mitima gyabwe.+ Ndibeera Katonda waabwe era nabo baliba bantu bange.”+
34 “Buli muntu aliba takyayigiriza munne, era buli omu aliba takyayigiriza muganda we ng’agamba nti, ‘Mumanye Yakuwa!’+ kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto okutuuka ku mukulu,”+ Yakuwa bw’agamba. “Kubanga ndibasonyiwa ensobi zaabwe, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.”+
35 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
Oyo eyakola enjuba okwakanga emisana,
Era eyateerawo omwezi n’emmunyeenye amateeka* okwakanga ekiro,
Oyo asiikuula ennyanja n’aleetera amayengo gaayo okuwuluguma,
Oyo ayitibwa Yakuwa ow’eggye:+
36 “‘Ebiragiro ebyo bwe biriremererwa,’ Yakuwa bw’agamba,
‘Ezzadde lya Isirayiri lwe lirirekera awo okuba eggwanga mu maaso gange.’”+
37 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “‘Singa eggulu lyali liyinza okupimibwa, nga n’emisingi gy’ensi giyinza okuzuulibwa, nnandibadde nsobola okwesamba ezzadde lya Isirayiri lyonna olw’ebyo byonna bye bakoze,’ Yakuwa bw’agamba.”+
38 “Laba! Ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “ekibuga lwe kirizimbirwa+ Yakuwa, nga kiva ku Munaala gwa Kananeri+ okutuuka ku Mulyango ogw’Oku Nsonda.+ 39 Omuguwa ogupima+ guligenda butereevu ne gutuuka ku Kasozi Galebu, era gulikyuka ne gwolekera Gowa. 40 Ekiwonvu kyonna eky’emirambo n’eky’evvu,* n’ennimiro zonna okutuuka ku Kiwonvu Kidulooni,+ n’okutuukira ddala ku nsonda y’Omulyango gw’Embalaasi+ okwolekera ebuvanjuba, biriba bitukuvu eri Yakuwa.+ Tebiriddamu kusimbulwa wadde okuzikirizibwa.”