Yeremiya
4 “Ggwe Isirayiri, bw’onookomawo gye ndi,” Yakuwa bw’agamba,
“Bw’onookomawo gye ndi
Era bw’onoggya mu maaso gange ebifaananyi byo ebyenyinyaza,
Tojja kuba mmomboze.+
2 Bw’onoolayira nti,
‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu!’ mu mazima, n’obwenkanya, era n’obutuukirivu,
Olwo nja* kuwa amawanga omukisa,
Era mu nze mwe ganeenyumiririzanga.”+
3 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba Yerusaalemi n’abantu b’omu Yuda:
“Mulime ettaka eritali ddime,
Era temusiga nsigo zammwe mu maggwa.+
4 Mwekomole mu ngeri esanyusa Yakuwa,
Mukomole emitima gyammwe,+
Mmwe abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi,
Obusungu bwange buleme kubuubuuka ng’omuliro
Ne bwaka nga tewali abuzikiza,
Olw’ebikolwa byammwe ebibi.”+
5 Mukirangirire mu Yuda, era mukibuulire mu Yerusaalemi.
Muleekaanire waggulu era mufuuwe eŋŋombe mu ggwanga lyonna.+
Mukoowoolere waggulu nti: “Mukuŋŋaane,
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe.+
6 Muwanike akabonero* akalaga ekkubo erigenda mu Sayuuni.
Munoonye aw’okwewogoma, era temuyimirira buyimirizi,”
Kubanga ndeeta akabi okuva ebukiikakkono,+ akatyabaga ak’amaanyi.
Avudde ewuwe afuule ensi yo ekifo eky’entiisa.
Ebibuga byo bijja kufuuka matongo, bireme kusigalamu muntu.+
8 Kale mwambale ebibukutu,+
Mukungubage* era mukube ebiwoobe,
Kubanga obusungu bwa Yakuwa tebutuvuddeeko.
9 “Ku lunaku olwo,” Yakuwa bw’agamba, “kabaka n’abaami,
Bakabona balifuna entiisa, ne bannabbi balyewuunya.”+
10 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa, Mukama Afuga Byonna! Mazima olimbidde ddala Yerusaalemi n’abantu bano,+ ng’obagamba nti, ‘Mujja kuba n’emirembe,’+ so ng’ate ekitala kibali mu bulago.”
11 Mu kiseera ekyo baligamba Yerusaalemi n’eggwanga lino nti:
“Embuyaga eyokya eva ku busozi obw’omu ddungu obutaliiko bimera
Eryolekera omuwala w’abantu bange;
Terijja kuwewa wadde okulongoosa.
12 Embuyaga ey’amaanyi eva mu bifo ebyo nga ngiragidde.
Kaakano ŋŋenda kulangirira emisango gye mbasalidde.
13 Laba! Omulabe alijja ng’ebire by’enkuba,
Amagaali ge galinga embuyaga.+
Embalaasi ze zidduka embiro okusinga empungu.+
Zitusanze, kubanga tuzikiriziddwa!
14 Ggwe Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu ebintu ebibi, osobole okulokolebwa.+
Onootuusa wa okubaamu ebirowoozo ebibi?
15 Eddoboozi lirangirira amawulire nga liyima mu Ddaani,+
Era lirangirira akabi nga liyima mu nsozi za Efulayimu.
16 Mukitegeeze amawanga;
Mukirangirire eri Yerusaalemi.”
“Abakessi* bajja nga bava mu nsi ey’ewala,
Era bajja kulaya enduulu z’olutalo eri ebibuga bya Yuda.
17 Balumba ekibuga Yerusaalemi ku njuyi zonna ng’abakuumi abakuuma ku ttale,+
Olw’okuba kinjeemedde,”+ Yakuwa bw’agamba.
18 “Ojja kusasulwa olw’amakubo go n’ebikolwa byo.
Akabi kajja kukutuukako,+ era kajja kuba ka maanyi;
Kubanga obujeemu bwo busensedde omutima gwo!”
19 Nga ndi munakuwavu nnyo,* nga ndi munakuwavu nnyo!
Mpulira obulumi obw’amaanyi mu mutima gwange.*
Omutima gunkuba.
20 Emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa gyogeddwako,
Kubanga ensi yonna ezikiriziddwa.
Weema zange zizikiriziddwa mbagirawo,
Mu kaseera katono emitanda gya weema zange gizikiriziddwa.+
22 “Kubanga abantu bange tebalina magezi;+
Tebanzisaako mwoyo.
Baana basirusiru, tebalina kutegeera.
Bagezi* bwe kituuka ku kukola ebibi,
Naye tebamanyi kukola birungi.”
23 Nnatunuulira ensi, era laba! yali njereere era nga matongo.+
Nnatunuulira eggulu, era laba! ekitangaala kyalyo kyali tekikyaliwo.+
24 Nnatunuulira ensozi, era laba! zaali zikankana,
N’obusozi bwali buyuuguuma.+
25 Nnatunula, era laba, tewaali muntu n’omu,
N’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bibuuse nga bigenze.+
26 Nnatunula, era laba! ensi engimu yali efuuse ddungu,
Era ebibuga byamu byali bizikiriziddwa.+
Ekyo Yakuwa yakikola,
Olw’okuba yali asunguwadde nnyo.
27 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Ensi yonna ejja kufuuka matongo,+
Naye sijja kuzikiririza ddala.
29 Oluwulira omusinde gw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasi b’obusaale,
Abantu b’omu kibuga bonna nga badduka.+
Nga beefubitika mu bisaka,
Nga balinnya enjazi.+
Ebibuga byonna birekeddwa awo,
Tewali abibeeramu.”
30 Kaakano nga bw’oyonooneddwa, onookola ki?
Wayambalanga engoye emmyufu,
Ne weetonaatona amajolobero aga zzaabu,
Wasiiganga ku maaso go langi enzirugavu okugalungiya.
31 Mpulidde okusinda kw’omukazi ali mu bulumi,
Mpulidde okukaaba okulinga okw’omukazi azaala omwana we asooka,
Mpulidde omuwala wa Sayuuni ng’aweekeera.
Ayanjala engalo ze nga bw’agamba nti:+
“Zinsanze nze, kubanga nkooye nnyo olw’abassi!”