Yeremiya
6 Mmwe abaana ba Benyamini, muve mu Yerusaalemi mufune we mwewogoma.
Kubanga akabi akava ebukiikakkono kanaatera okutuuka, akatyabaga ak’amaanyi.+
2 Omuwala wa Sayuuni alinga omukazi alabika obulungi era eyeekanasa.+
3 Abasumba bajja kujja n’ebisibo byabwe.
4 “Mweteeketeeke* okumulwanyisa!
Muyimuke tumulumbe mu ttuntu!”
“Zitusanze, kubanga obudde bunaatera okuziba,
Kubanga ebisiikirize eby’akawungeezi bigenda biwanvuwa!”
5 “Muyimuke tumulumbe ekiro
Tuzikirize eminaala gye.”+
6 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Muteme emiti era mukole ekifunvu okulwanyisa Yerusaalemi.+
Kye kibuga ekirina okubonerezebwa;
Mu kyo mulimu kubonyaabonya kwokka.+
7 Ng’oluzzi bwe lusibukamu amazzi agannyogoga,*
N’ekibuga kino ye nsibuko y’ebikolwa ebibi.
Ebikolwa eby’obukambwe n’okuzikiriza biwulirwa mu kyo;+
Endwadde n’ebizibu biba mu maaso gange buli kiseera.
8 Ggwe Yerusaalemi, labuka nneme okukwetamwa ne nkuvaako;+
Nja kukufuula matongo, ensi etaliimu bantu.”+
9 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Abayisirayiri abasigaddewo balinga ebibala ebisembayo ku muzabbibu.
Bakuŋŋaanye wamu ng’omuntu bwakuŋŋaanyiza mu kibbo ebibala by’ezzabbibu ebisembayo.”
10 “Ani gwe nnaayogera naye era ggwe nnaalabula?
Ani anaawuliriza?
Laba! Amatu gaabwe maggale,* ne kiba nti tebasobola kuwulira.+
Laba! Ekigambo kya Yakuwa kifuuse ekintu kye banyooma;+
Tebakisanyukira.
11 Kyenvudde nzijula obusungu bwa Yakuwa,
Era nkooye okubuzibiikiriza.”+
“Bufuke ku mwana ali mu luguudo,+
Buyiwe ku bibinja by’abavubuka abakuŋŋaanye awamu.
Bonna bajja kuwambibwa, omusajja ne mukyala we,
Abasajja abakaddiye awamu n’abasajja abazeeyuse.+
12 Ennyumba zaabwe ziriweebwa abantu abalala,
Awamu n’ebibanja byabwe ne bakazi baabwe.+
Kubanga ndigolola omukono gwange ne mbonereza abantu b’omu nsi eno,” Yakuwa bw’agamba.
13 “Bonna, okuva ku asembayo okuba owa wansi okutuuka ku asinga okuba ow’ekitiibwa, beefunira ebintu mu makubo amakyamu;+
Bannabbi ne bakabona bonna si ba mazima.+
14 Abantu bange abalina obuvune babawonya kungulu kwokka nga bagamba nti,
‘Waliwo emirembe! Waliwo emirembe!’
So ng’ate tewali mirembe.+
15 Bakwatibwa ensonyi olw’ebintu eby’omuzizo bye bakoze?
Tebakwatibwa nsonyi n’akamu!
Tebamanyi na kiyitibwa kuswala!+
Kyebaliva bagwa mu abo abagudde.
Bwe ndibabonereza balyesittala,” Yakuwa bw’agamba.
16 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Muyimirire mu masaŋŋanzira mulabe.
Mubuuze ebikwata ku makubo ag’edda,
Mubuuze ekkubo eddungi gye liri, mulitambuliremu,+
Mufune ekiwummulo.”
Naye abantu bo bagamba nti: “Tetujja kulitambuliramu.”+
Naye bo ne bagamba nti: “Tetujja kuliwuliriza.”+
18 “Kale muwulirize mmwe amawanga!
Era mumanye mmwe abantu,
Ekinaatuuka ku bantu abo.
19 Wuliriza ggwe ensi!
Ŋŋenda kuleeta akabi ku ggwanga lino+
Olw’enkwe zaabwe,
Kubanga tebaawuliriza bigambo byange
Era beesamba amateeka gange.”*
20 “Kingasa ki mmwe okuleeta obubaani obweru obuva e Seba
Ne kaane ow’akaloosa* okuva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa tebikkirizibwa,
Ne ssaddaaka zammwe tezinsanyusa.”+
21 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Ŋŋenda kuteerawo abantu bano enkonge,
Era bajja kuzeesittalako,
Bataata awamu n’abaana,
Buli muntu ne munne,
Era bonna bajja kusaanawo.”+
22 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba! Abantu bajja nga bava mu nsi ey’ebukiikakkono,
Eggwanga ery’amaanyi lijja kuyimuka live mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.+
23 Bajja kukwata omutego gw’obusaale n’effumu.
Bakambwe era tebajja kusaasira.
Eddoboozi lyabwe lijja kuyira ng’ennyanja,
Era beebagadde embalaasi.+
Basimba ennyiriri ng’omusajja omulwanyi, okukulwanyisa ggwe omuwala wa Sayuuni.”
24 Tuwulidde amawulire agakwata ku bintu ebyo.
25 Tofuluma kugenda ku ttale,
Era totambulira ku luguudo,
Kubanga omulabe alina ekitala;
Entiisa eri buli wamu.
26 Ggwe omuwala w’abantu bange,
Yambala ebibukutu+ era wevulunge mu vvu.
Kungubaga ng’akungubagira omwana wo omu yekka, ng’okuba ebiwoobe,+
Kubanga azikiriza ajja kutugwaako bugwi.+
27 “Mu bantu bange nkufudde* ng’oyo aggya amasengere mu byuma,
Nkufudde oyo anoonyereza n’obwegendereza;
Weetegereze era wekkaanye ekkubo lyabwe.
Balinga ekikomo n’ekyuma;
Bonna boonoonefu.
29 Emivubo gyokeddwa omuliro.
Mu muliro muvaamu erisasi.
30 Abantu bajja kubayita masengere ga ffeeza,
Kubanga Yakuwa abeesambye.”+