Yeremiya
13 Yakuwa yaŋŋamba nti: “Genda ogule omusipi ogwa kitaani ogwesibe mu kiwato, naye togunnyika mu mazzi.” 2 Awo ne ngula omusipi nga Yakuwa bwe yaŋŋamba, ne ngwesiba mu kiwato. 3 Yakuwa n’aŋŋamba omulundi ogw’okubiri nti: 4 “Ddira omusipi gwe wagula era gwe weesibye, osituke, ogende ku Mugga Fulaati, ogukweke mu mpampagama mu lwazi.” 5 Ne ŋŋenda ne ngukweka okumpi n’Omugga Fulaati nga Yakuwa bwe yaŋŋamba.
6 Naye nga wayiseewo ennaku nnyingi, Yakuwa yaŋŋamba nti: “Situka ogende ku Mugga Fulaati oggyeyo omusipi gwe nnakulagira okukweka eyo.” 7 Awo ne ŋŋenda ne nsima ne nzigyayo omusipi gye nnali ngukwese, era ne ndaba nga gwali gwonoonese, nga tegukyalina mugaso.
8 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: 9 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Amalala ga Yuda n’amalala ga Yerusaalemi amangi gajja kuba ng’omusipi ogwo.+ 10 Abantu bano ababi abagaana okukolera ku bigambo byange,+ abagugubira ku ky’okugoberera omutima gwabwe,+ era abagoberera bakatonda abalala, ne babaweereza era ne babavunnamira, bajja kuba ng’omusipi guno ogutalina mugaso n’akamu.’ 11 ‘Kubanga ng’omusipi bwe gunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nnaleetera ennyumba ya Isirayiri yonna n’ennyumba ya Yuda yonna okunnywererako’ Yakuwa bw’agamba, ‘bafuuke abantu bange,+ ettutumu lyange,+ ettendo lyange, era ekintu ekirabika obulungi. Naye tebaŋŋondera.’+
12 “Era ojja kubawa obubaka buno nti, ‘Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Buli nsumbi ennene erina okujjuzibwa omwenge.”’ Era bajja kukuddamu nti, ‘Tetukimanyi nti buli nsumbi ennene erina okujjuzibwa omwenge?’ 13 Ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Abantu b’omu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, bakabona, bannabbi, n’abo bonna ababeera mu Yerusaalemi ŋŋenda kubajjuza omwenge batamiire.+ 14 Buli omu nja kumutomereganya ne munne baatikeyatike, bataata awamu n’abaana baabwe,” Yakuwa bw’agamba.+ “Sijja kubasaasira wadde okubakwatirwa ennaku, wadde okubakwatirwa ekisa; tewali kijja kunnemesa kubazikiriza.”’+
15 Muwulirize era musseeyo omwoyo.
Temwekulumbaza, kubanga Yakuwa ayogedde.
16 Mugulumize Yakuwa Katonda wammwe
Nga tannaleeta kizikiza
Era ng’ebigere byammwe tebinneesittala ku nsozi akawungeezi.
17 Era bwe munaagaana okuwuliriza,
Nja kukaabira mu kyama olw’amalala gammwe.
Nja kukaaba amaziga mangi, era amaaso gange gajja kukulukusa amaziga,+
Kubanga ekisibo kya Yakuwa+ kiwambiddwa ne kitwalibwa.
18 Gamba kabaka ne nnamasole+ nti, ‘Mutuule mu kifo ekya wansi,
Kubanga engule zammwe ezirabika obulungi zijja kuwanuka ku mitwe gyammwe zigwe.’
19 Ebibuga eby’ebukiikaddyo biggaddwawo,* era tewali abiggula.
Abantu b’omu Yuda bonna batwaliddwa mu buwaŋŋanguse.+
20 Yimusa amaaso go olabe abajja nga bava ebukiikakkono.+
Kiri ludda wa ekisibo ekyakuweebwa, endiga zo ezirabika obulungi?+
21 Olyogera ki ng’okubonerezebwa kwo kutuuse
Okuva eri mikwano gyo egy’oku lusegere gye weefunira okuva ku lubereberye?+
Tolirumwa bisa ng’omukazi azaala?+
22 Era bw’olyogera mu mutima gwo nti, ‘Lwaki ebintu bino bintuuseeko?’+
Olw’ekibi kyo eky’amaanyi kyebavudde bakwambulamu engoye zo+
Era ebisinziiro byo kyebiva bikuluma ennyo.
23 Omukuusi* asobola okukyusa langi y’olususu lwe, oba engo esobola okukyusa amabala gaayo?+
Ekyo bwe kiba kisoboka, nammwe musobola okukola ebirungi,
Mmwe abaatendekebwa okukola ebibi.
24 Kyendiva mbasaasaanya ng’essubi eritwalibwa embuyaga ey’omu ddungu.+
25 Guno gwe mugabo gwo gwe nkuwadde,” Yakuwa bw’agamba,
26 Kale nja kukwambula,
Obuswavu bwo bulabibwe,+
27 Ebikolwa byo eby’obwenzi+ n’okubebera,
Obwamalaaya bwo obwesisiwaza.*
Ndabye enneeyisa yo embi ennyo,+
Ku busozi ne ku ttale.
Zikusanze ggwe Yerusaalemi!
Olikoma ddi okuba atali mulongoofu?”+