Yeremiya
20 Pasukuli mutabani wa Immeri, eyali kabona era eyali omukungu omukulu mu nnyumba ya Yakuwa, yali awuliriza nga Yeremiya ayogera ebintu ebyo. 2 Awo Pasukuli n’akuba nnabbi Yeremiya n’amuteeka mu nvuba+ eyali ku Mulyango ogw’eky’Engulu ogwa Benyamini, ogwali mu nnyumba ya Yakuwa. 3 Naye ku lunaku olwaddirira Pasukuli bwe yaggya Yeremiya mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti:
“Erinnya Yakuwa ly’akuyise si Pasukuli, wabula akuyise Entiisa Eri Buli Wamu.+ 4 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Ggwe ne mikwano gyo nja kubaleetera okutya, era bajja kuttibwa n’ekitala ky’abalabe baabwe ng’olaba;+ Yuda yonna nja kugiwaayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kubatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni abatte n’ekitala.+ 5 Obugagga bwonna obw’ekibuga kino, n’ebintu byonna ebikirimu, n’eby’omuwendo byonna ebikirimu, n’eby’obugagga bya bakabaka ba Yuda byonna nja kubiwaayo mu mikono gy’abalabe baabwe.+ Bajja kubinyaga babitwale e Babulooni.+ 6 Naawe Pasukuli n’abo bonna ababeera mu nnyumba yo, mujja kuwambibwa. Ojja kugenda e Babulooni ofiire eyo, era ojja kuziikibwa eyo ne mikwano gyo gyonna, kubanga wabalagula eby’obulimba.’”+
7 Ai Yakuwa, onnimbye ne nnimbibwa.
Wansinza amaanyi n’owangula.+
Nfuuse ekisekererwa olunaku lwonna;
Buli omu ankudaalira.+
8 Buli lwe njogera nkuba ebiwoobe ne nnangirira nti,
“Ebikolwa eby’obukambwe n’okuzikiriza!”
Olunaku lwonna nvumibwa era nsekererwa olw’ekigambo kya Yakuwa.+
Naye mu mutima gwange ekigambo kye kyali ng’omuliro ogubuubuuka munda mu magumba gange,
Nnawulira nga nkooye okusirika;
Nnali sikyasobola kugumira mbeera eyo.+
10 Kubanga nnawulira ebintu ebibi bingi ebyali byogerwa;
Nnali nneetooloddwa entiisa.+
“Mumuvumirire; ka tumuvumirire!”
Nga buli anjagaliza emirembe alindirira okulaba nga ngwa:+
“Oboolyawo ayinza okubaako ekintu ekitali kya magezi ky’akola,
Ne tumuwangula ne tumwesasuza.”
11 Naye Yakuwa yalinga wamu nange ng’omulwanyi ow’entiisa.+
Abanjigganya kyebanaava beesittala, era tebajja kuwangula.+
Bajja kuswala nnyo olw’okuba tebajja kutuuka ku buwanguzi.
Obuswavu bwabwe obw’emirembe gyonna tebulyerabirwa.+
12 Naye ggwe, Ai Yakuwa ow’eggye, okebera omutuukirivu
13 Muyimbire Yakuwa! Mutendereze Yakuwa!
Kubanga anunudde omwavu mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
14 Olunaku lwe nnazaalibwa lukolimirwe!
Olunaku mmange lwe yanzaala ka luleme kuba lwa mukisa!+
15 Akolimirwe omusajja eyaleetera kitange amawulire amalungi ng’agamba nti:
“Bakuzaalidde omwana ow’obulenzi!”
Ekyamusanyusa ennyo.
16 Omusajja oyo k’abeere ng’ebibuga Yakuwa bye yazikiriza n’atejjusa.
K’awulire okukaaba ku makya n’enduulu mu ttuntu.