Yeremiya
2 Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Genda olangirire eri Yerusaalemi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Nzijukira okwagala okw’amaanyi* kwe walina mu buvubuka bwo,+
Okwagala kwe walaga ng’oyogerezebwa,+
Engeri gye wangoberera mu ddungu,
Mu nsi eyali tesigiddwamu nsigo.+
3 Isirayiri yali mutukuvu eri Yakuwa,+ ebibala ebibereberye eby’amakungula ge.”’
‘Omuntu yenna eyamutuusangako akabi yabangako omusango.
Yafunanga emitawaana,’ Yakuwa bw’agamba.”+
4 Wulira ekigambo kya Yakuwa, ggwe ennyumba ya Yakobo,
Nammwe mmwenna ebika by’ennyumba ya Isirayiri.
5 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Nsobi ki bajjajjammwe gye bandabamu,+
Balyoke banneesambire ddala,
Era bagoberere ebifaananyi ebitalina mugaso,+ nabo ne bafuuka abatalina mugaso?+
6 Tebaabuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa,
Eyatuggya mu nsi ya Misiri,+
Eyatukulembera n’atuyisa mu ddungu,
Mu nsi ey’amalungu+ n’ebinnya,
Mu nsi ey’ekyeya+ n’ekizikiza eky’amaanyi,
Mu nsi eteyitwamu muntu
Era etebeeramu bantu?’
7 Nnabaleeta mu nsi erimu emiti gy’ebibala,
Mulye ebibala byamu n’ebintu byamu ebirungi.+
Naye bwe mwatuuka mu nsi yange ne mugifuula etali nnongoofu;
Obusika bwange mwabufuula eky’omuzizo.+
8 Bakabona tebaabuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa?’+
Abalina obuvunaanyizibwa okuyigiriza Amateeka baali tebammanyi,
Abasumba banjeemera,+
Bannabbi baayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lya Bbaali,+
Era baagoberera bakatonda abataalina mugaso.
9 ‘N’olwekyo nja kubavunaana,’+ Yakuwa bw’agamba,
‘Era nja kuvunaana abaana b’abaana bammwe.’
10 ‘Naye musomoke mugende ku bizinga by’e* Kittimu+ mulabe.
Mutume omubaka e Kedali,+ era mukirowoozeeko n’obwegendereza;
Mulabe oba ekintu nga kino kyali kibaddewo.
11 Eggwanga lyali liwaanyisizza bakatonda baalyo ne litwalamu abatali bakatonda?
Naye abantu bange ekitiibwa kyange bakiwaanyisizzaamu ekintu ekitagasa.+
12 Ggwe eggulu, samaalirira olwa kino;
Kankana olw’entiisa ey’amaanyi,’ Yakuwa bw’agamba,
13 ‘Kubanga abantu bange bakoze ebintu bibiri ebibi:
Banvuddeko nze ensibuko y’amazzi amalamu,+
Ne beesimira ebidiba,*
Ebidiba ebiwomoggofu ebitayinza kubaamu mazzi.’
14 ‘Isirayiri muweereza oba muddu eyazaalibwa mu maka?
Kati olwo lwaki alekeddwa okunyagibwa?
15 Empologoma envubuka zimuwulugumira;+
Ziyimusizza amaloboozi gaazo.
Ensi ye zigifudde ekintu eky’entiisa.
Ebibuga bye byokeddwa omuliro, ne kiba nti tebikyalimu bantu.
16 Abantu b’omu Noofu*+ n’e Tapanesi+ balya obwetikkiro bw’omutwe gwo.
Lwaki oyagala okukwata ekkubo erigenda e Bwasuli+
Okunywa amazzi g’Omugga Fulaati?
19 Yigira ku bintu ebibi by’okola,
Obutali bwesigwa bwo ka bukunenye.
Manya era otegeere bwe kiri ekibi era eky’omutawaana+
Okuva ku Yakuwa Katonda wo;
Tokiraze nti ontya,’+ bw’ayogera Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye.
20 ‘Kubanga edda nnamenyaamenya ekikoligo kyo+
Era ne nkutula enjegere zo.
Naye wagamba nti: “Sigenda kukuweereza,”
Ku buli kasozi akawanvu ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi,+
Weegalikanga n’okola obwamalaaya.+
21 Nnakusimba ng’oli muzabbibu mulungi nnyo, omumyufu,+ gwonna nga guva mu nsigo nnongoofu;
Kale oyonoonese otya n’ofuuka ettabi ly’omuzabbibu ogw’omu nsiko?’+
22 ‘Ne bw’onaabisa ekisula ne ssabbuuni omungi,
Ensobi yo eba ekyali ng’ebbala mu maaso gange,’+ bw’ayogera Yakuwa, Mukama Afuga Byonna.
23 Oyinza otya okugamba nti, ‘Seeyonoonye.
Sigoberedde Babbaali’?
Tunuulira ekkubo lyo mu kiwonvu.
Lowooza ku by’okoze.
Olinga eŋŋamira enkazi ekyali ento ewenyuka,*
Edduka ng’edda eno n’eri mu makubo gaayo awatali kigendererwa,
24 Olinga endogoyi ey’omu nsiko eyamanyiira eddungu,
Ekonga empewo nga yeegomba.
Ani ayinza okugiziyiza ng’esaze?
Abo abaginoonya tebajja kwekooya.
Mu kiseera ekyo* bajja kugizuula.
25 Ebigere byo tolema kubyambaza ngatto.
N’omumiro gwo togulumya nnyonta.
Naye wagamba nti, ‘Tekigasa!+
26 Ng’omubbi bw’aswala nga bamukutte,
N’ab’ennyumba ya Isirayiri bwe batyo bwe baswadde,
Bo ne bakabaka baabwe n’abaami baabwe,
Bakabona baabwe ne bannabbi baabwe.+
27 Bagamba omuti nti, ‘Ggwe kitange,’+
N’ejjinja nti, ‘Ggwe wanzaala.’
Naye nze bankuba amabega ne batantunuulira.+
Mu kiseera eky’okulaba ennaku bajja kuŋŋamba nti,
‘Situka otulokole!’+
28 Kale bakatonda bo be weekolera bali ludda wa?+
Ka bayimuke, bwe baba nga basobola okukulokola mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
Kubanga ggwe Yuda bakatonda bo baaze; benkana ebibuga byo obungi.+
29 ‘Kiki kye munnumiriza?
Lwaki mmwenna munjeemedde?’+ Yakuwa bw’agamba.
30 Abaana bammwe mbakubidde bwereere;+
Tebakkiriza kubuulirirwa;+
Ekitala kyammwe kyazikiriza bannabbi bammwe,+
Ng’empologoma eyigga.
31 Mmwe ab’omulembe guno, mulowooze ku kigambo kya Yakuwa.
Nfuuse ng’eddungu
Oba ensi ekutte ekizikiza eky’amaanyi eri Isirayiri?
Lwaki abantu bange bano bagamba nti, ‘Twetaaya.
Tetujja kudda gy’oli’?+
32 Omuwala embeerera ayinza okwerabira amajolobero ge,
Oba omugole ayinza okwerabira omusipi gwe ogw’okwewunda?
Kyokka abantu bange bamaze ekiseera kiwanvu nga banneerabidde.+
33 Ggwe omukazi, ng’oli mukugu mu kunoonya abasajja bakwagale!
Weetendese mu makubo g’okukola ebintu ebibi.+
34 N’engoye zo ziriko omusaayi gw’abaavu abatalina musango,+
Tebattibwa olw’okuba baasangibwa nga bamenya enju,
Kyokka ndabye omusaayi gwabwe ku byambalo byo byonna.+
35 Naye ogamba nti: ‘Sirina musango.
Mazima ddala obusungu bwe bunvuddeko.’
Kaakano ŋŋenda kukubonereza,
Kubanga ogamba nti: ‘Sirina kibi kye nkoze.’
36 Lwaki ekkubo lyo eritateredde olitwala ng’ekintu eky’olusaago?
37 N’olw’ensonga eyo ojja kuvaayo ogende ng’otadde emikono ku mutwe,+
Kubanga Yakuwa yeesambye abo be weesiga;
Tebajja kukuyamba.”