Ebikolwa
25 Fesuto+ bwe yamala okutuuka mu kitundu atandike okufuga, waayitawo ennaku ssatu n’ava mu Kayisaliya n’agenda e Yerusaalemi. 2 Bakabona abakulu n’abakulu b’Abayudaaya ne bamubuulira ebintu bye baali bavunaana Pawulo.+ Ne bamwegayirira, 3 nga basaba abawulirize atumye Pawulo aleetebwe e Yerusaalemi. Baali bategese okumuteega bamuttire mu kkubo.+ 4 Naye Fesuto n’abagamba nti Pawulo yali alina kukuumirwa Kayisaliya era nti ye kennyini yali anaatera okuddayo e Kayisaliya. 5 N’abagamba nti: “Ab’obuyinza mu mmwe bajje ŋŋende nabo bamulumirize bwe waba nga waliwo ekibi kye yakola.”+
6 Bwe yamala nabo ennaku ezitasukka munaana oba kkumi, n’avaayo n’agenda e Kayisaliya, era olunaku olwaddako n’atuula ku ntebe okusalirwa emisango, n’alagira Pawulo aleetebwe. 7 Bwe yatuuka, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bayimirira nga bamwetoolodde, ne bamuvunaana emisango mingi egy’amaanyi naye nga tebalina bukakafu bwonna.+
8 Naye Pawulo ne yeewozaako ng’agamba nti: “Sikolanga kintu kyonna kimenya Mateeka g’Abayudaaya, wadde okutyoboola yeekaalu oba okujeemera Kayisaali.”+ 9 Olw’okuba Fesuto yali ayagala okuganja eri Abayudaaya,+ yagamba Pawulo nti: “Wandyagadde kugenda Yerusaalemi owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?” 10 Pawulo n’agamba nti, “Nnyimiridde mu maaso g’entebe ya Kayisaali ey’okusalirako emisango we nteekeddwa okuwozesebwa. Sirina kibi kye nkoze Bayudaaya nga naawe bw’okizudde. 11 Bwe mba nga nnina ekibi kye nnakola ekinsaanyiza okuttibwa,+ sigaana kuttibwa; naye bwe kiba nti ebintu ebyo abantu abo bye bannumiriza si bituufu, tewali alina buyinza kumpaayo gye bali olw’okwagala okubasanyusa obusanyusa. Njulira Kayisaali!”+ 12 Fesuto bwe yamala okwogera n’abawi b’amagezi n’agamba nti: “Ojulidde Kayisaali, era ewa Kayisaali gy’ojja okugenda.”
13 Bwe waayitawo ennaku, Kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya nga bakyadde mu butongole okuyozaayoza Fesuto. 14 Okuva bwe baali ab’okumalayo ennaku eziwera, Fesuto yabuulira kabaka ensonga ezikwata ku Pawulo, ng’agamba nti:
“Waliwo omusajja Ferikisi gwe yaleka nga musibe, 15 era bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n’abakadde b’Abayudaaya bambuulira bye baali bamuvunaana+ nga bansaba mmusalire ekibonerezo. 16 Naye nnabaddamu nti si nkola ya Baruumi okuwaayo omuntu yenna eri abo abamuvunaana olw’okwagala okubasanyusa obusanyusa ng’avunaanibwa tannafuna mukisa kusisinkana abo abamuvunaana yeewozeeko.+ 17 Bwe baatuuka wano, saalwa, era olunaku olwaddako nnatuula ku ntebe okusalirwa emisango ne ndagira omusajja aleetebwe. 18 Abamuwawaabira bwe baasituka okwogera, tebaamuvunaana bintu bibi nga bwe nnali nsuubira.+ 19 Wabula baali bawakana naye ku bintu ebikwata ku kusinza katonda waabwe*+ ne ku muntu ayitibwa Yesu eyafa, naye Pawulo gwe yayogerangako nti mulamu.+ 20 Olw’okuba nnali seekakasa ngeri ya kukwatamu nsonga zino, nnamubuuza obanga yandyagadde okugenda e Yerusaalemi awozesebwe eyo.+ 21 Naye Pawulo bwe yajulira akuumirwe mu kkomera ng’alindirira ekyo Agusito* kye yandisazeewo,+ nange ne ndagira akuumibwe okutuusa lwe ndimusindika ewa Kayisaali.”
22 Awo Agulipa n’agamba Fesuto nti: “Nange nnandyagadde okuwuliriza omusajja oyo.”+ Fesuto n’amugamba nti: “Enkya ojja kumuwuliriza.” 23 Olunaku olwaddako, Agulipa ne Berenike ne bajjira mu kitiibwa kingi ne bayingira mu kisenge awawulirwa emisango nga bali wamu n’abaduumizi b’amagye n’abasajja ab’ebitiibwa mu kibuga. Awo Fesuto n’alagira Pawulo aleetebwe. 24 Fesuto n’agamba nti: “Kabaka Agulipa nammwe mmwenna abali naffe wano, mulaba omusajja ono Abayudaaya bonna mu Yerusaalemi ne wano gwe bansaba nga baleekaana nti tasaanidde kuba mulamu.+ 25 Naye nnakizuula nti talina kibi kye yakola kimugwanyiza kufa.+ N’olwekyo omusajja ono bwe yajulira Agusito, ne nsalawo mmuweerezeeyo. 26 Naye sirina kintu kikakafu kya kuwandiikira Mukama wange kikwata ku musajja ono. N’olwekyo, mmuleese gye muli mmwenna, n’okusingira ddala eri ggwe Kabaka Agulipa, bw’anaamala okubuuzibwa ebibuuzo ndyoke nfune kye mpandiika. 27 Kubanga ndaba nga si kya magezi okuweereza omusibe nga siraze misango gimuvunaanibwa.”