2 Abakkolinso
11 Nnandyagadde mungumiikirize wadde nga ndabika ng’omusirusiru. Mazima ddala mungumiikiriza! 2 Mbakwatirwa obuggya ng’obwa Katonda, kubanga nze kennyini nnabasuubiza okubafumbiza omwami omu, Kristo, nsobole okubanjula gy’ali nga muli balongoofu ng’omuwala embeerera.+ 3 Kyokka ntya nti ng’omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo,+ nammwe ebirowoozo byammwe biyinza okwonoonebwa ne mukyamizibwa okuva ku bwesimbu n’obulongoofu ebigwanira Kristo.+ 4 Kubanga omuntu bw’ajja n’ayigiriza Yesu atali oyo gwe tubuulira, oba ne mufuna omwoyo ogutali ogwo gwe mwafuna, oba ne mufuna amawulire amalungi agatali ago ge mwakkiriza,+ mumugumiikiriza. 5 Ndowooza nti tewali kintu na kimu abatume bammwe abakulu ennyo kye bansinga.+ 6 Wadde nga sirina bumanyirivu mu kwogera,+ awatali kubuusabuusa nnina okumanya kungi; era mu buli ngeri yonna twabalaga okumanya okwo mu bintu byonna.
7 Nnakola ekibi bwe nneetoowaza mmwe musobole okugulumizibwa, olw’okuba nnababuulira n’essanyu amawulire amalungi agakwata ku Katonda ku bwereere?+ 8 Ebibiina ebirala nnabinyaga bwe nnakkiriza obuyambi bwe byampa nsobole okubaweereza mmwe.+ 9 Kyokka bwe nnali mu bwetaavu nga ndi nammwe, saakaluubiriza muntu n’omu kubanga ab’oluganda abaava e Masedoniya bampa bye nnali nneetaaga.+ Mu buli ngeri yonna saabakaluubiriza era nja kweyongera okukola bwe ntyo.+ 10 Ng’amazima ga Kristo bwe gali mu nze, sijja kulekera awo kwenyumiririza+ mu bitundu by’e Akaya. 11 Lwa nsonga ki? Olw’okuba sibaagala? Katonda akimanyi nti mbaagala.
12 Waliwo abeewaana nga bagamba nti nabo batume nga ffe. N’olwekyo, nja kweyongera okukola ekyo kye nkola+ nsobole okubalemesa okuba n’ensonga yonna kwe basinziira okwewaana. 13 Abantu ng’abo batume ba bulimba; balimba abalala ne beefuula abatume ba Kristo.+ 14 Naye tekyewuunyisa kubanga ne Sitaani kennyini yeefuula malayika ow’ekitangaala.+ 15 N’olwekyo tekyewuunyisa abaweereza be bwe beefuula abaweereza ab’obutuukirivu. Naye enkomerero yaabwe ejja kusinziira ku bikolwa byabwe.+
16 Nziramu okugamba nti: Waleme kubaawo muntu alowooza nti ndi musirusiru. Naye ne bwe muba mulowooza mutyo, munzikirize wadde nga ndabika ng’omusirusiru, nange nsobole okwewaanako akatono. 17 Kye njogera sikyogera nga nkoppa ekyokulabirako kya Mukama waffe, wabula nkyogera ng’omuntu omusirusiru eyeewaana. 18 Olw’okuba bangi beewaana olw’ebintu eby’omubiri, nange nja kwewaana. 19 Olw’okuba muli “bagezi” nnyo, abasirusiru mubagumiikiriza n’essanyu. 20 Mu butuufu, mugumiikiriza omuntu yenna abafuula abaddu, abalyako ebyammwe, abasikambulako bye mulina, abeekulumbalizaako, n’oyo abakuba mu maaso.
21 Kitukwasa ensonyi okwogera ekyo, kubanga twalabika ng’abanafu bwe twali nammwe.
Naye abalala bwe booleka obuvumu mu bye bakola—njogera ng’omusirusiru—nange nsobola okwoleka obuvumu. 22 Bebbulaniya? Nange ndi Mwebbulaniya.+ Bayisirayiri? Nange ndi Muyisirayiri. Zzadde lya Ibulayimu? Nange ndi zzadde lya Ibulayimu.+ 23 Baweereza ba Kristo? Nziramu ng’omulalu, nti nze mbasinga nnyo: omulimu ngukoze okubasinga,+ nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi,+ nkubiddwa nnyo, era emirundi mingi nnabulako katono okufa.+ 24 Emirundi etaano Abayudaaya bankuba embooko 39,+ 25 emirundi esatu nnakubibwa enga,+ omulundi gumu nnakubibwa amayinja,+ emirundi esatu amaato mwe nnali ntambulira gaamenyekamenyeka,+ nnasula era ne nsiiba mu buziba bw’ennyanja; 26 mu kutambula emirundi mingi, mu kabi ak’oku migga, mu kabi ak’abanyazi, mu kabi okuva eri abantu bange bennyini,+ mu kabi okuva eri ab’amawanga,+ mu kabi ak’omu kibuga,+ mu kabi ak’omu ddungu, mu kabi ak’oku nnyanja, mu kabi okuva eri ab’oluganda ab’obulimba, 27 mu kukola ennyo ne mu kukuluusana, mu buteebaka kiro emirundi mingi,+ mu kulumwa enjala n’ennyonta,+ mu butaba na mmere emirundi mingi,+ mu kubeera mu bunnyogovu ne mu butaba na bya kwambala.*
28 Ng’oggyeeko ebyo byonna, waliwo ekinzitoowerera buli lunaku: nneeraliikirira olw’ebibiina byonna.+ 29 Ani aba omunafu ne siba munafu? Ani eyeesittala ne sinyiiga?
30 Bwe mba nga ndi wa kwewaana, nja kwewaana olw’ebyo ebiraga obunafu bwange. 31 Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, Oyo alina okutenderezebwa emirembe gyonna, amanyi nti sirimba. 32 Mu Ddamasiko gavana eyali atwalibwa Kabaka Aleta yali akuumye ekibuga Ddamasiko asobole okunkwata, 33 naye banteeka mu kisero ne bampisa mu ddirisa eryali ku kisenge+ ne banzisa wansi ne mmuddukako.