Tito
3 Weeyongere okubajjukiza okugondera n’okuwulira abafuzi n’ab’obuyinza,+ okuba abeetegefu okukola buli mulimu omulungi, 2 obutayogera bubi ku muntu yenna, obutaba bayombi, obutaba bakakanyavu,+ naye nga baba bakkakkamu eri abantu bonna.+ 3 Kubanga naffe twaliko abatalina magezi, abajeemu, abakyamizibwa, abafugibwa okwegomba okutali kumu n’amasanyu. Twakolanga ebintu ebibi, twalina obuggya, twali bantu babi nnyo, era nga tukyawagana ffekka na ffekka.
4 Kyokka ekisa kya Katonda Omulokozi waffe+ n’okwagala kw’alina eri abantu bwe byeyoleka 5 (si lwa bikolwa byaffe eby’obutuukirivu bye twakola+ naye lwa busaasizi bwe),+ yatulokola okuyitira mu kunaazibwa okwatuleeta mu bulamu+ n’okuyitira mu kutuzza obuggya ng’akozesa omwoyo omutukuvu.+ 6 Omwoyo guno yagutufukako mu bungi okuyitira mu Mulokozi waffe Yesu Kristo,+ 7 oluvannyuma lw’okuyitibwa abatuukirivu olw’ekisa kye eky’ensusso,+ tusobole okusikira+ obulamu obutaggwaawo+ ng’essuubi lyaffe bwe liri.
8 Ebigambo ebyo byesigika, era ebintu ebyo njagala obiggumizenga, abo abakkirizza Katonda basobole okukuumira ebirowoozo byabwe ku bikolwa ebirungi. Ebintu bino birungi era biganyula abantu.
9 Naye weewale okuwakana okw’ekisiru n’okuwakana ku bikwata ku nnyiriri z’obuzaale, n’enkaayana, n’okuwakanira ebikwata ku Mateeka, kubanga tebigasa era tebiriimu nsa.+ 10 Omuntu atumbula enjigiriza ez’obulimba+ omwewalanga+ bw’omala okumulabula omulundi ogusooka n’ogw’okubiri;+ 11 ng’okimanyi nti omuntu ng’oyo aba avudde mu kkubo, aba ayonoonye, era aba yeesalira yekka omusango.
12 Bwe ntumanga Atema oba Tukiko+ gy’oli, fuba okujja gye ndi e Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu kiseera eky’obutiti. 13 Fuba okutegekera Apolo ne Zeena omukenkufu mu Mateeka, ebyo bye beetaaga mu lugendo lwabwe, baleme kubaako kye bajula.+ 14 Naye era n’abantu baffe bayige okukolanga ebirungi basobole okuyambanga nga wazzeewo obwetaavu,+ baleme kubeera abatabala bibala.+
15 Bonna abali nange bakulamusizza. Nnamusiza abatwagala ennyo mu kukkiriza.
Ekisa eky’ensusso kibeere nammwe mmwenna.