Lukka
20 Lumu bwe yali ng’ayigiriza abantu mu yeekaalu era ng’abuulira amawulire amalungi, bakabona abakulu, abawandiisi, n’abakadde ne bajja 2 ne bamugamba nti: “Tubuulire, oggya wa obuyinza okukola ebintu bino, era ani eyakuwa obuyinza buno?”+ 3 N’abaddamu nti: “Nange nja kubabuuza ekibuuzo era munziremu: 4 Yokaana yaggya wa obuyinza okubatiza, mu ggulu oba mu bantu?” 5 Ne batandika okwogera bokka na bokka nti: “Singa tugamba nti, ‘Yabuggya mu ggulu,’ ajja kutugamba nti, ‘Lwaki temwamukkiriza?’ 6 Naye singa tugamba nti, ‘Yabuggya mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja kubanga bakakafu nti Yokaana yali nnabbi.”+ 7 Ne bamuddamu nti tebamanyi gye yabuggya. 8 Yesu n’abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira gye nzigya buyinza kukola bintu bino.”
9 Awo n’agerera abantu olugero luno: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y’emizabbibu+ n’agipangisa abalimi, n’agenda mu nsi ey’ewala n’amalayo ekiseera.+ 10 Naye ekiseera eky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omuddu eri abalimi bamuwe ku bibala eby’omu nnimiro ye ey’emizabbibu. Kyokka, abalimi ne bamukuba, era ne bamugoba n’addayo ngalo nsa.+ 11 Awo n’abatumira omuddu omulala. Naye ne bamukuba, ne bamuweebuula, era ne bamugoba n’addayo ngalo nsa. 12 N’abatumira n’ow’okusatu; ono naye ne bamutuusaako ebisago ne bamugoba. 13 Awo nnannyini nnimiro y’emizabbibu n’agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Nja kutuma omwana wange omwagalwa.+ Ono ye bayinza okumussaamu ekitiibwa.’ 14 Abalimi bwe baamulaba ne bagambagana nti, ‘Ono ye musika. Tumutte, obusika tubutwale.’ 15 Awo ne bamusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta.+ Kati olwo kiki nnannyini nnimiro y’emizabbibu ky’ajja okukola? 16 Ajja kujja atte abalimi abo, ennimiro agiwe abalala.”
Bwe baawulira ekyo ne bagamba nti: “Ekyo kireme kubaawo!” 17 Naye n’abatunuulira n’abagamba nti: “Kati olwo ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki ekigamba nti, ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda’?*+ 18 Buli muntu anaagwa ku jjinja eryo ajja kumenyekamenyeka.+ Ate oyo gwe linaagwako, lijja kumubetenta.”
19 Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne baagala okumukwata ku ssaawa eyo yennyini kubanga baakitegeera nti olugero olwo lwali lukwata ku bo. Naye ne batya abantu.+ 20 Ne banoonya we banaamukwasiza; ne basasula abasajja beefuule ng’abantu abatuukirivu okusobola okumukwasa mu by’ayogera,+ balyoke bamuweeyo eri ab’obuyinza n’eri* gavana. 21 Awo ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti by’oyogera ne by’oyigiriza bya mazima era tososola, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu ngeri etuukana n’amazima: 22 Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda?” 23 Naye n’ategeera obukuusa bwabwe, n’abagamba nti: 24 “Mundage eddinaali.* Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” 25 N’abagamba nti: “Kale, ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali,+ naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”+ 26 Ne batasobola kumukwasa mu bigambo ebyo mu maaso g’abantu, naye ne beewuunya nnyo kye yabaddamu, era ne basirika.
27 Kyokka abamu ku Basaddukaayo abagamba nti teri kuzuukira,+ ne bajja ne bamubuuza nti:+ 28 “Omuyigiriza, Musa yatugamba nti, ‘Singa omusajja afa n’aleka omukyala nga tamuzaddeemu mwana, muganda we asaanidde okutwala omukyala oyo, azaalire muganda we abaana.’+ 29 Waaliwo ab’oluganda musanvu. Ow’olubereberye yawasa omukazi, naye n’afa nga tazadde mwana. 30 N’ow’okubiri n’awasa omukyala oyo naye n’afa, 31 n’ow’okusatu naye n’amuwasa. Bonna omusanvu baamuwasa naye ne bafa nga tebalese baana. 32 Oluvannyuma omukazi naye n’afa. 33 Kati olwo mu kiseera eky’okuzuukira, aliba mukyala w’ani ku bonna? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.”
34 Yesu n’abagamba nti: “Abantu* b’omu nteekateeka y’ebintu eno bawasa era bafumbirwa, 35 naye abo abagwanira okufuna obulamu mu nteekateeka y’ebintu eri awamu n’okuzuukizibwa okuva mu bafu, tebaliwasa era tebalifumbirwa.+ 36 Mu butuufu, baliba tebakyayinza kufa nate, kubanga baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda kubanga baliba bazuukiziddwa. 37 Naye okumanya nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yakiraga ng’ayogera ku byaliwo ku kisaka, bwe yayita Yakuwa,* ‘Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.’+ 38 Si Katonda wa bafu naye wa balamu, kubanga eri ye bonna balamu.”+ 39 Abamu ku bawandiisi ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, oyogedde bulungi.” 40 Baali tebayinza kwetantala nate kumubuuza kibuuzo na kimu.
41 Awo n’ababuuza nti: “Lwaki bagamba nti Kristo mwana wa Dawudi?+ 42 Dawudi kennyini agamba mu kitabo kya Zabbuli nti, ‘Yakuwa* yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo 43 okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo.”’+ 44 Dawudi amuyita Mukama we; kati olwo aba atya omwana we?”
45 Awo abantu bonna bwe baali nga bawuliriza, n’agamba abayigirizwa be nti: 46 “Mwegendereze abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde amaganduula, abaagala okulamusibwa mu butale n’okutuula mu bifo eby’omu maaso* mu makuŋŋaaniro, abaagala ebifo ebisingayo okuba eby’ekitiibwa ku bijjulo,+ 47 abanyaga ebintu bya* bannamwandu, era abasaba essaala empanvu olw’okweraga. Abo bajja kuweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”