Olubereberye
18 Oluvannyuma Yakuwa+ n’amulabikira okumpi n’emiti eminene egy’e Mamule+ bwe yali ng’atudde ku mulyango gwa weema mu ttuntu. 2 Bwe yayimusa amaaso n’alaba abasajja basatu nga bayimiridde, nga beesudde akabanga okuva we yali.+ Bwe yabalaba n’ava ku mulyango gwa weema n’adduka okubasisinkana, era n’avunnama wansi. 3 Awo n’agamba nti: “Yakuwa, bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde toyita ku muweereza wo. 4 Ka baleete amazzi ebigere byammwe binaazibwe,+ oluvannyuma muwummulireko wansi w’omuti. 5 Kale nga bwe muzze wano ew’omuweereza wammwe, ka ndeete emmere mulye,* bwe munaamala mweyongereyo.” Awo ne bagamba nti: “Kale, kola nga bw’ogambye.”
6 Awo Ibulayimu n’ayanguwa n’agenda mu weema eri Saala n’amugamba nti: “Yanguwa ofune ebigera* bisatu eby’obuwunga obulungi ennyo, obukande ofumbe emigaati.” 7 Ibulayimu n’adduka mbiro mu kiraalo n’aggyayo ente ento ennume enyirira n’agiwa omuweereza, n’ayanguwa okugenda okugifumba. 8 Ibulayimu n’addira omuzigo n’amata n’ennyama gye yali afumbye n’abiteeka mu maaso gaabwe. N’ayimirira ku mabbali wansi w’omuti nga bo bwe balya.+
9 Awo ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saala ali ludda wa?”+ N’abaddamu nti: “Ali awo mu weema.” 10 Omu ku bo n’amugamba nti: “Nja kukomawo gy’oli omwaka ogujja mu kiseera nga kino, era laba! Saala mukazi wo ajja kuba alina omwana ow’obulenzi.”+ Saala yali ku mulyango gwa weema ng’awuliriza, era weema yali mabega wa musajja. 11 Ibulayimu ne Saala baali bakuze nga bakaddiye nnyo.+ Saala yali ayisizza mu myaka egy’okuzaala.+ 12 Awo Saala n’atandika okuseka mu mutima gwe ng’agamba nti: “Nnaafuna essanyu lino nga nkaddiye bwe nti, era nga ne mukama wange akaddiye?”+ 13 Awo Yakuwa n’agamba Ibulayimu nti: “Lwaki Saala asese n’agamba nti, ‘Ddala nnaazaala omwana nga nkaddiye bwe nti?’ 14 Waliwo ekitasoboka eri Yakuwa?+ Nja kukomawo gy’oli mu kiseera kye kimu omwaka ogujja, era Saala ajja kuba alina omwana ow’obulenzi.” 15 Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti: “Sisese,” kubanga yatya. N’amugamba nti: “Osese.”
16 Abasajja bwe baasituka okugenda, ne batunula e Sodomu,+ era Ibulayimu yali atambula nabo ng’abawerekerako. 17 Yakuwa n’agamba nti: “Nnaakisa Ibulayimu kye ŋŋenda okukola?+ 18 Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene era ery’amaanyi, era okuyitira mu ye amawanga gonna ag’oku nsi galiweebwa omukisa.*+ 19 Kyenvudde mmumanya asobole okulagira abaana be n’ab’ennyumba ye abalimuddirira okukwata ekkubo lya Yakuwa nga bakola eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya,+ Yakuwa alyoke awe Ibulayimu byonna bye yamusuubiza.”
20 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Okwemulugunya ku Sodomu ne Ggomola kwa maanyi nnyo,+ n’ekibi kyabwe kinene nnyo.+ 21 Nja kugendayo ndabe obanga ddala bakola ng’okwemulugunya okutuuse gye ndi bwe kuli. Bwe kinaaba nga si bwe kiri, nakyo nja kukimanya.”+
22 Awo abasajja ne bava eyo ne boolekera Sodomu, naye Yakuwa+ n’asigala ne Ibulayimu. 23 Ibulayimu n’asembera n’agamba nti: “Ddala onoozikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?+ 24 Mu kibuga bwe muba mulimu abatuukirivu 50, onoozikiriza ekibuga kyonna n’otakisonyiwa ku lw’abatuukirivu 50 abakirimu? 25 Mazima ddala toyinza kukola bw’otyo, otte abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu n’ababi batuukibweko ekintu kye kimu!+ Toyinza kukola bw’otyo.+ Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?”+ 26 Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Mu Sodomu bwe nnaasangamu abatuukirivu 50, nja kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.” 27 Naye Ibulayimu era n’amuddamu nti: “Nneetantadde okwogera ne Yakuwa wadde nga ndi nfuufu era vvu. 28 Ku batuukirivu 50 bwe kunaaba kubulako bataano, onoozikiriza ekibuga kyonna olw’abataano ababulako?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza bwe nnaasangamu abatuukirivu 45.”+
29 Ibulayimu n’addamu n’amugamba nti: “Ate bwe munaabaamu 40?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo 40.” 30 Naye n’ayongera n’agamba nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, tosunguwala,+ ka nneeyongere okwogera: Bwe munaabaamu 30?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza singa nsangamu 30.” 31 N’ayongera n’agamba nti: “Nneetantadde okwogera ne Yakuwa: Bwe munaabaamu 20?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo 20.” 32 Ku nkomerero n’agamba nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, tosunguwala, ka njogere omulundi omulala gumu: Singa musangibwamu kkumi bokka?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo ekkumi.” 33 Yakuwa bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n’agenda,+ Ibulayimu naye n’addayo ewuwe.