Olubereberye
17 Ibulaamu bwe yali nga wa myaka 99, Yakuwa n’amulabikira n’amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Tambuliranga mu maaso gange era tobangako kya kunenyezebwa. 2 Ndinyweza endagaano yange naawe,+ era ndyaza nnyo ezzadde lyo.”+
3 Awo Ibulaamu n’avunnama era Katonda n’ayongera okwogera naye n’amugamba nti: 4 “Laba, nnakola naawe endagaano,+ era olifuuka kitaawe w’amawanga mangi.+ 5 Tokyayitibwa Ibulaamu* wabula onooyitibwanga Ibulayimu,* kubanga ndikufuula kitaawe w’amawanga mangi. 6 Ndikuwa abaana bangi nnyo, olivaamu amawanga mangi, era bakabaka baliva mu ggwe.+
7 “Ate era ndituukiriza endagaano yange ey’olubeerera eri wakati wange naawe,+ n’ezzadde lyo abalikuddirira mu mirembe gyabwe gyonna, mbeere Katonda wo era Katonda ow’ezzadde lyo abalikuddirira. 8 Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo abalikuddirira ensi gy’olimu ng’omugwira+—ensi yonna eya Kanani—ebeere yammwe lubeerera; era ndiba Katonda waabwe.”+
9 Katonda n’ayongera n’agamba Ibulayimu nti: “Onookuumanga endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo abalikuddirira mu mirembe gyabwe gyonna. 10 Eno ye ndagaano eri wakati wange nammwe, ggwe n’ezzadde lyo abalikuddirira gye munaakuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.+ 11 Munaakomolebwanga, era ako kanaabanga kabonero ak’endagaano eri wakati wange nammwe.+ 12 Buli mwana ow’obulenzi mu mmwe, mu mirembe gyammwe gyonna, anaakomolebwanga nga wa nnaku munaana,+ buli azaalibwa mu nnyumba yammwe, awamu n’oyo atali wa mu zzadde lyammwe gwe munaagulanga ku mugwira. 13 Buli musajja azaalibwa mu nnyumba yammwe era n’oyo gwe munaagulanga n’essente zammwe anaakomolebwanga;+ era endagaano yange eri mu mubiri gwammwe eneeba ndagaano ya lubeerera. 14 Omusajja yenna atali mukomole bw’ataakomolebwenga anattibwanga, kubanga anaabanga amenye endagaano yange.”
15 Era Katonda n’agamba Ibulayimu nti: “Mukazi wo Salaayi*+ tomuyita Salaayi, kubanga Saala* lye linaabeera erinnya lye. 16 Nja kumuwa omukisa era nja kukuwa omwana ow’obulenzi okuva mu ye;+ nja kumuwa omukisa era alivaamu amawanga; bakabaka b’amawanga baliva mu ye.” 17 Awo Ibulayimu n’avunnama n’atandika okuseka n’okugamba mu mutima gwe+ nti: “Omusajja ow’emyaka 100 anaafuna omwana, era ne Saala omukazi ow’emyaka 90 anaazaala?”+
18 Awo Ibulayimu n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Singa nno owa Isimayiri omukisa!”+ 19 Katonda n’amugamba nti: “Saala mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow’obulenzi era ojja kumutuuma Isaaka.*+ Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano ey’emirembe n’emirembe eri ezzadde lye eririmuddirira.+ 20 Naye ku bikwata ku Isimayiri, nkuwulidde. Laba! Ndimuwa omukisa era ndimuwa abaana bangi era ndimwaza nnyo. Alizaala abaami 12 era ndimufuula eggwanga eddene.+ 21 Kyokka endagaano yange ndiginyweza ne Isaaka+ Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”+
22 Katonda bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n’ava w’ali. 23 Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we, n’abasajja bonna abaazaalibwa mu nnyumba ye, na buli yenna gwe yali yagula; abasajja bonna mu nnyumba ye n’abakomola ku lunaku olwo lwennyini nga Katonda bwe yali amugambye.+ 24 Ibulayimu yakomolebwa ng’alina emyaka 99.+ 25 Ate Isimayiri mutabani we yakomolebwa ng’alina emyaka 13.+ 26 Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri baakomolebwa. 27 Abasajja bonna ab’omu nnyumba ye, buli eyazaalibwa mu nnyumba ye, na buli eyagulibwa ku mugwira nabo baakomolebwa wamu naye.