Olubereberye
12 Yakuwa n’agamba Ibulaamu nti: “Va mu nsi yo ne mu b’eŋŋanda zo ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye nnaakulaga.+ 2 Ndikufuula eggwanga eddene* era ndikuwa omukisa, n’erinnya lyo ndirifuula kkulu era ojja kubeeranga mukisa eri abalala.+ 3 Nnaawanga omukisa abo abakuwa omukisa, oyo akukolimira nnaamukolimiranga,+ era okuyitira mu ggwe ebika byonna eby’oku nsi biriweebwa omukisa.”*+
4 Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Yakuwa bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda naye. Ibulaamu yali aweza emyaka 75 we yaviira mu Kalani.+ 5 Ibulaamu n’atwala Salaayi+ mukazi we ne Lutti omwana wa muganda we+ n’ebintu byonna bye baali bafunye+ era n’abantu be baali bafunye mu Kalani; ne basitula okugenda mu nsi ya Kanani.+ Bwe baatuuka mu nsi ya Kanani, 6 Ibulaamu n’atambula mu nsi eyo n’atuuka mu kitundu ekiyitibwa Sekemu,+ okumpi n’emiti eminene egya Moole.+ Mu kiseera ekyo Abakanani baali bakyabeera mu nsi eyo. 7 Yakuwa n’alabikira Ibulaamu n’amugamba nti: “Ezzadde lyo+ ndiriwa ensi eno.”+ Awo Ibulaamu n’azimbira Yakuwa eyamulabikira ekyoto mu kifo ekyo. 8 Oluvannyuma eyo yavaayo n’agenda mu nsi ey’ensozi ebuvanjuba wa Beseri,+ n’asimba weema wakati wa Beseri ne Ayi+ (Beseri kyali ku ludda olw’ebugwanjuba ate Ayi ku ludda olw’ebuvanjuba). N’azimbira Yakuwa ekyoto+ mu kifo ekyo n’atandika okukoowoola erinnya lya Yakuwa.+ 9 Oluvannyuma Ibulaamu n’asimbula weema ze n’ayolekera Negebu,*+ n’agenda ng’asiisira mu bifo eby’enjawulo.
10 Awo enjala n’egwa mu nsi eyo, Ibulaamu n’aserengeta e Misiri agire ng’abeera eyo,*+ kubanga enjala yali ya maanyi mu nsi eyo.+ 11 Bwe yali anaatera okutuuka e Misiri, Ibulaamu n’agamba mukazi we Salaayi nti: “Nkwegayiridde mpuliriza! Nkimanyi nti oli mukazi alabika obulungi ennyo.+ 12 Abamisiri bwe banaakulaba bajja kugamba nti, ‘Ono mukazi we.’ Olwo nze banzite, naye ggwe bakuleke. 13 Nkwegayiridde, gamba nti oli mwannyinaze ebintu biŋŋendere bulungi ku lulwo, era obulamu bwange busobole okuwonawo.”+
14 Awo Ibulaamu olwali okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba ng’omukazi alabika bulungi nnyo. 15 N’abakungu ba Falaawo ne bamulaba ne batandika okumutendera Falaawo; bw’atyo n’atwalibwa mu nnyumba ya Falaawo. 16 Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu olwa Salaayi era n’amuwa endiga, ente, endogoyi ensajja n’enkazi, abaweereza abasajja n’abakazi, n’eŋŋamira.+ 17 Yakuwa n’aleetera Falaawo n’ab’omu nnyumba ye endwadde ez’amaanyi* olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu.+ 18 Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti: “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewaŋŋamba nti oyo mukazi wo? 19 Lwaki wagamba nti mwannyoko, bwe ntyo ne mbulako katono okumutwala abe mukazi wange?+ Kale mukazi wo wuuno, mutwale ogende!” 20 Awo Falaawo n’alagira abaweereza be ne basiibula Ibulaamu ne mukazi we ne byonna bye yalina.+