Ekyamateeka
16 “Ojjukiranga omwezi gwa Abibu,* n’okwata embaga ey’Okuyitako eya Yakuwa Katonda wo,+ kubanga mu mwezi gwa Abibu Yakuwa Katonda wo mwe yakuggira mu Misiri ekiro.+ 2 Owangayo ssaddaaka y’Okuyitako eri Yakuwa Katonda wo+ okuva mu kisibo ne mu ggana,+ mu kifo Yakuwa ky’anaalonda erinnya lye okubeeramu.+ 3 Togiriirangako kintu kyonna ekirimu ekizimbulukusa.+ Okumala ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse, emigaati egy’okunakuwala, kubanga mu nsi ya Misiri wavaayo mu bwangu.+ Onookolanga bw’otyo osobole okujjukira olunaku lwe wava mu nsi ya Misiri ennaku zonna ez’obulamu bwo.+ 4 Tobanga na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumala ennaku musanvu,+ era ennyama y’ensolo gye munaawangayo nga ssaddaaka akawungeezi ku lunaku olusooka tesigalangawo ekiro kyonna okutuusa ku makya.+ 5 Ssaddaaka ey’embaga ey’Okuyitako tokkirizibwenga kugiweerayo mu kibuga kyonna ky’onooba oyagadde ku bibuga Yakuwa Katonda wo by’akuwa. 6 Naye onoogiweerangayo mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda erinnya lye okubeeramu. Ssaddaaka y’embaga ey’Okuyitako onoogiwangayo akawungeezi ng’enjuba yaakagwa,+ mu kiseera kye waviiramu e Misiri. 7 Onoogifumbiranga era n’ogiriira+ mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’aneeroboza,+ era ku makya n’olyoka oddayo mu weema zo. 8 Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, era ku lunaku olw’omusanvu wanaabangawo olukuŋŋaana olw’enjawulo eri Yakuwa Katonda wo. Tokolanga mulimu gwonna.+
9 “Onoobalanga wiiki musanvu. Onootandikanga okubala wiiki musanvu okuva lw’onoosookanga okussa ekiwabyo ku ssayiri eri mu nnimiro.+ 10 Olwo onookwatanga Embaga ya Yakuwa Katonda wo ey’Amakungula,+ ng’oleeta ekiweebwayo ekya kyeyagalire okuva mu mukono gwo, ky’onoowangayo okusinziira ku mikisa Yakuwa Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.+ 11 Era onoosanyukiranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n’omuddu wo omusajja n’omuddu wo omukazi n’Omuleevi ali mu bibuga* byo, n’omugwira n’omwana atalina kitaawe* ne nnamwandu, abali mu mmwe, mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda erinnya lye okubeeramu.+ 12 Jjukiranga nti wali muddu mu Misiri,+ okwatenga ebiragiro bino era obikolereko.
13 “Okwatanga Embaga ey’Ensiisira+ okumala ennaku musanvu bw’onookuŋŋaanyanga ebiva mu gguuliro lyo n’ebiva mu ssogolero lyo ery’amafuta n’ery’omwenge. 14 Onoosanyukanga mu kiseera ky’embaga yo,+ ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n’omuddu wo omusajja n’omuddu wo omukazi n’Omuleevi n’omugwira n’omwana atalina kitaawe ne nnamwandu, abali mu bibuga byo. 15 Onookwatiranga embaga+ ya Yakuwa Katonda wo eyo okumala ennaku musanvu mu kifo Yakuwa ky’aneeroboza, kubanga byonna by’onookungulanga ne byonna by’onookolanga Yakuwa Katonda wo ajja kubiwanga omukisa,+ era onoobanga mu ssanyu jjereere.+
16 “Emirundi esatu mu mwaka buli musajja anaalabikanga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo mu kifo ky’aneeroboza: ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse,+ ne ku Mbaga ey’Amakungula,+ ne ku Mbaga ey’Ensiisira,+ era tewabangawo agenda ngalo nsa mu maaso ga Yakuwa. 17 Ekirabo buli omu ky’anaatwalanga kinaasinziiranga ku mukisa Yakuwa Katonda we gw’anaabanga amuwadde.+
18 “Buli kika onookironderanga abalamuzi+ n’abaami mu bibuga* byonna Yakuwa Katonda wo by’akuwa, era banaalamulanga abantu mu butuukirivu. 19 Tosalanga musango mu butali bwenkanya.+ Tosalirizanga+ wadde okulya enguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’abantu ab’amagezi+ era ekyamya ebigambo by’abatuukirivu. 20 Fubanga nnyo okwoleka obwenkanya,+ olyoke obenga omulamu era osobole okutwala ensi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa.
21 “Tosimbanga muti ogw’okusinza*+ ogw’engeri yonna okumpi n’ekyoto kya Yakuwa Katonda wo ky’onookola.
22 “Era tosimbanga mpagi ey’okusinza,+ ekintu Yakuwa Katonda wo ky’atayagalira ddala.