Zeffaniya
2 Ng’etteeka terinnatandika kukola,
Ng’olunaku terunnayita ng’ebisusunku ebitwalibwa empewo,
Ng’obusungu bwa Yakuwa tebunnababuubuukira,+
Ng’olunaku olw’obusungu bwa Yakuwa terunnabajjira,
3 Munoonye Yakuwa+ mmwe mmwenna abawombeefu* ab’omu nsi
Abakwata amateeka ge ag’obutuukirivu.
Munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu.*
Oboolyawo mulikwekebwa ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa.+
4 Gaaza kirifuuka ekibuga ekyalekebwa awo;
Asukulooni kirifuuka matongo.+
5 “Zibasanze abo ababeera okumpi n’ennyanja, ab’eggwanga ly’Abakeresi!+
Yakuwa abasalidde omusango.
Ggwe Kanani, ensi y’Abafirisuuti, ndikuzikiriza
N’otosigalamu muntu n’omu.
6 Olubalama lw’ennyanja lulifuuka malundiro,
Nga mulimu enzizi z’abasumba n’ebiyumba by’endiga eby’amayinja.
7 Ekitundu ekyo kiriba kya ba nnyumba ya Yuda abalisigalawo.+
Baliriira eyo.
Baligalamiranga mu nnyumba za Asukulooni akawungeezi.
8 “Mpulidde okuduula kwa Mowaabu+ n’okuvuma kw’abaana ba Amoni+
Abavumye abantu bange era ne beewaga okutwala ensi yaabwe.+
9 N’olwekyo, nga bwe ndi omulamu,” Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba,
“Mowaabu erifuuka nga Sodomu,+
N’Abaamoni balifuuka nga Ggomola,+
Ekifo ekyameramu omwennyango, ekinnya eky’omunnyo, era amatongo ag’olubeerera.+
Abantu bange abalisigalawo balibinyaga,
Abalisigalawo ku ggwanga lyange balibitwala.
10 Ekyo kye balisasulwa olw’amalala gaabwe,+
Kubanga baavuma era ne beeguluumiriza ku bantu ba Yakuwa ow’eggye.
11 Yakuwa aliba wa ntiisa gye bali;
Kubanga alisaanyaawo* bakatonda bonna ab’omu nsi,
Ebizinga byonna eby’amawanga birimuvunnamira,*+
Buli kimu mu kifo kyakyo.
12 Mmwe Abeesiyopiya, nammwe ekitala kyange kiribatta.+
13 Aligolola omukono gwe okwolekera ebukiikakkono n’azikiriza Bwasuli.
Nineeve alikifuula matongo,+ kirifuuka kikalu ng’eddungu.
14 Ebisolo birigalamira wakati mu kyo, ebisolo ebya buli ngeri.*
Kimbala ne nnamunnungu birisulanga mu mitwe gy’empagi zaakyo.
Eddoboozi liriyimbiranga mu ddirisa.
Ku mulyango walibaawo ebifunfugu,
Era alibikkula embaawo z’emiti gy’entolokyo.
15 Kino kye kibuga eky’amalala ekyalinga mu mirembe,
Ekyagambanga mu mutima gwakyo nti, ‘Nze ndiwo, tewali mulala.’
Kifuuse ekintu eky’entiisa,
Ekifo ensolo ez’omu nsiko mwe zigalamira!
Buli anaayitangawo anaafuuwanga oluwa era n’anyeenya omutwe.”+