Okubikkulirwa
8 Bwe yabembula+ akabonero ak’omusanvu,+ ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu okumala nga kitundu kya ssaawa. 2 Ne ndaba bamalayika omusanvu+ abayimirira mu maaso ga Katonda, ne baweebwa amakondeere musanvu.
3 Malayika omulala n’ajja, n’ayimirira awaali ekyoto+ ng’alina ekyoterezo ky’obubaani ekya zzaabu; n’aweebwa obubaani bungi+ okubuweerayo awamu n’okusaba kw’abatukuvu ku kyoto ekya zzaabu+ ekyali mu maaso g’entebe y’obwakabaka. 4 Omukka ogw’obubaani ne guva mu mukono gwa malayika ne gwambuka mu maaso ga Katonda awamu n’okusaba+ kw’abatukuvu. 5 Naye amangu ago malayika n’akwata ekyoterezo eky’obubaani n’akijjuza ogumu ku muliro ogw’oku kyoto n’akikasuka ku nsi. Ne wabaawo okubwatuka n’amaloboozi n’okumyansa+ ne musisi. 6 Bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu+ ne beeteekateeka okugafuuwa.
7 Eyasooka n’afuuwa ekkondeere lye. Ne wabaawo omuzira n’omuliro nga bitabuddwamu omusaayi ne bikasukibwa ku nsi;+ ekitundu kimu kya kusatu eky’ensi ne kiggya, n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya, n’ebimera byonna ne biggya.+
8 Malayika ow’okubiri n’afuuwa ekkondeere lye. Ekintu ekifaanana ng’olusozi olunene olwaka omuliro ne kikasukibwa mu nnyanja.+ Era ekitundu kimu kya kusatu eky’ennyanja ne kifuuka musaayi;+ 9 ekitundu kimu kya kusatu eky’ebiramu ebyali mu nnyanja ne kifa,+ era ekitundu kimu kya kusatu eky’ebyombo ne kimenyekamenyeka.
10 Malayika ow’okusatu n’afuuwa ekkondeere lye. Emmunyeenye ennene eyaka ng’ettaala n’ewanuka ku ggulu n’eggwa ku kitundu kimu kya kusatu eky’emigga ne ku nsulo z’amazzi.+ 11 Era emmunyeenye eyo yali eyitibwa Mususa. Ekitundu kimu kya kusatu eky’amazzi ne kikaawa, era abantu bangi ne bafa olw’amazzi ago kubanga gaali gakaawa.+
12 Malayika ow’okuna n’afuuwa ekkondeere lye. Ekitundu kimu kya kusatu eky’enjuba+ ne kimu kya kusatu eky’omwezi ne kimu kya kusatu eky’emmunyeenye ne bikubibwa, ekitundu kimu kya kusatu eky’ebintu ebyo kisobole okufuuka ekizikiza,+ era ekitundu kimu kya kusatu eky’obudde obw’emisana kireme kuba na kitangaala era n’obudde obw’ekiro nabwo bube bwe butyo.
13 Ne ndaba, era ne mpulira empungu ng’ebuuka waggulu mu bbanga ng’eyogera n’eddoboozi eddene nti: “Zibasanze, zibasanze, zibasanze+ abo ababeera ku nsi, olw’amaloboozi agasigaddeyo ag’amakondeere bamalayika abasatu ge banaatera okufuuwa!”+