Okubikkulirwa
13 Ne guyimirira* ku musenyu gw’ennyanja.
Ne ndaba ensolo+ ng’eva mu nnyanja,+ ng’erina amayembe kkumi n’emitwe musanvu, era ku mayembe gaayo kwaliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo kwaliko amannya ag’obuvvoozi. 2 Ensolo gye nnalaba yalinga engo, naye ebigere byayo byalinga eby’eddubu, ate akamwa kaayo kaalinga ak’empologoma. Ogusota+ ne guwa ensolo amaanyi gaayo n’entebe yaayo ey’obwakabaka n’obuyinza bungi.+
3 Ne ndaba ogumu ku mitwe gyayo nga guliko ekiwundu ekyali kigenda okugitta, naye ekiwundu ekyo ne kiwona,+ era ensi yonna ne yeewuunya n’egoberera ensolo eyo. 4 Ne basinza ogusota kubanga gwawa ensolo obuyinza, era ne basinza ensolo nga boogera ebigambo bino: “Ani alinga ensolo, era ani ayinza okugirwanyisa?” 5 N’eweebwa akamwa akoogera ebintu eby’okwekulumbaza n’eby’obuvvoozi era n’eweebwa obuyinza okumala emyezi 42.+ 6 N’eyasamya akamwa kaayo okuvvoola+ Katonda, n’evvoola erinnya lye n’ekifo gy’abeera, n’abo ababeera mu ggulu.+ 7 N’ekkirizibwa okulwana n’abatukuvu n’okubawangula,+ era n’eweebwa obuyinza ku buli kika n’abantu n’olulimi n’eggwanga. 8 Bonna abali ku nsi baligisinza. Abo okuva ku ntandikwa y’ensi* amannya gaabwe tegaawandiikibwa mu muzingo ogw’obulamu+ ogw’Omwana gw’Endiga eyattibwa.+
9 Buli alina okutu, awulire.+ 10 Omuntu yenna bw’aba ow’okutwalibwa mu busibe, ajja kugenda mu busibe. Omuntu yenna bw’anatta n’ekitala,* ajja kuttibwa n’ekitala.+ Wano abatukuvu+ we kibeetaagisiza okugumiikiriza+ n’okuba n’okukkiriza.+
11 Ne ndaba ensolo endala ng’eva mu ttaka, era yalina amayembe abiri ng’ag’omwana gw’endiga, naye n’etandika okwogera ng’ogusota.+ 12 Era ekozesa obuyinza bwonna obw’ensolo eyasooka,+ ng’ensolo eyasooka eraba. Ereetera ensi ne bonna abagiriko okusinza ensolo eyasooka, eyawona ekiwundu ekyali kigenda okugitta.+ 13 Era ekola obubonero obukulu; ereetera n’omuliro okuva mu ggulu ne gukka ku nsi ng’abantu balaba.
14 Era erimbalimba abo ababeera ku nsi olw’obubonero bwe yakkirizibwa okukola mu maaso g’ensolo, ng’egamba abo ababeera ku nsi okukola ekifaananyi ky’ensolo+ eyalina ekiwundu eky’ekitala naye n’ewona.+ 15 N’ekkirizibwa okuwa ekifaananyi ky’ensolo omukka* ogw’obulamu kisobole okwogera n’okuttisa abo bonna abatasinza kifaananyi ky’ensolo.
16 Ewaliriza abantu bonna, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, okuteekebwako akabonero ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe,+ 17 waleme kubaawo ayinza okugula oba okutunda okuggyako ng’aliko akabonero, ng’akabonero kano lye linnya+ ly’ensolo oba ennamba y’erinnya lyayo.+ 18 Wano we kyetaagisiza amagezi: Oyo alina okutegeera abalirire ennamba y’ensolo, kubanga nnamba ya muntu, era ennamba eyo eri 666.+