Isaaya
27 Ku lunaku olwo Yakuwa alikozesa ekitala ekyogi ekinene era eky’amaanyi+
Okubonereza Leviyasani,* omusota oguseeyeeya,
Okubonereza Leviyasani, omusota ogwenyoolanyoola,
Era alitta ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja.
2 Ku lunaku olwo mumuyimbiranga* nti:
“Ennimiro y’emizabbibu ey’omwenge ogubimba!+
Buli kiseera mmufukirira.+
Mmukuuma ekiro n’emisana,
Waleme kubaawo amukolako kabi.+
Ani alijja okunnwanyisa ng’akutte omuddo n’obuti obw’amaggwa?
Ndibirinnyirira ne mbikumako omuliro byonna.
5 Mu kifo ky’okukola bw’atyo, ka yeenyweze ku kigo kyange.
K’atabagane nange
Weewaawo k’atabagane nange.”
6 Mu biseera ebijja Yakobo alisimba emirandira,
Isirayiri alimulisa era alitojjera,+
Era ensi baligijjuza ebibala.+
7 Agwanidde okukubwa ng’oyo amukuba bw’amukuba?
Oba agwanidde okuttibwa ng’ababe abattibwa bwe battibwa?
8 Bw’aliba amugoba alikaayana naye mu ddoboozi erikanga.
Alimugoba n’okubwatuka okw’amaanyi ku lunaku olw’omuyaga oguva ebuvanjuba.+
9 Mu ngeri eyo, ensobi ya Yakobo eritangirirwa,+
Era bino bye birivaamu ng’ekibi kye kiggiddwawo:
Amayinja gonna ag’ekyoto
Aligafuula ng’amayinja g’ennoni agabetenteddwa,
Era tewali kikondo kisinzibwa* oba kyoterezo kya bubaani ekirirekebwawo.+
10 Kubanga ekibuga ekiriko bbugwe kirisigala matongo;
Amalundiro galirekebwawo era galisigalira awo ng’eddungu.+
Ennyana ziririira eyo omuddo era ne zigalamira eyo
Era zirirya amatabi gaakyo.+
11 Amatabi gaakyo bwe galikala,
Abakazi balijja ne bagamenyako
Ne bagakozesa ng’enku.
Kubanga abantu bano tebalina magezi.+
Eyo ye nsonga lwaki Oyo eyabatonda talibasaasira,
Era Oyo eyabakola talibakwatirwa kisa.+
12 Mmwe abantu ba Isirayiri,+ ng’omuntu bw’anoga ebibala ku muti n’abikuŋŋaanya kimu ku kimu, Yakuwa bw’atyo bw’alibakuŋŋaanya mmwe abasaasaanye okuva ku Mugga* omunene ogukulukuta okutuukira ddala ku Kiwonvu* ky’e Misiri.+ 13 Ku lunaku olwo eŋŋombe ennene erifuuyibwa,+ era abo abazikirira mu nsi ya Bwasuli+ n’abo abasaasaanidde mu nsi ya Misiri+ balijja ne bavunnamira Yakuwa ku lusozi olutukuvu mu Yerusaalemi.+