2 Abakkolinso
13 Guno gwe mulundi ogw’okusatu gwe nzija gye muli. “Ensonga eneekakasibwanga nga waliwo obujulizi bwa* bantu babiri oba basatu.”+ 2 Wadde nga siri nammwe kati, nninga ali eyo omulundi ogw’okubiri, era ndabula abo abaayonoona era n’abalala bonna, nti bwe ndijja eyo nate tewali n’omu alisimattuka kukangavvulwa, 3 okuva bwe munoonya obukakafu obulaga nti Kristo, atali munafu gye muli naye ow’amaanyi mu mmwe, y’ayogera okuyitira mu nze. 4 Mazima ddala yakomererwa olw’obunafu, naye mulamu olw’amaanyi ga Katonda.+ Kyo kituufu nti naffe tuli banafu nga naye bwe yali omunafu, naye tujja kuba balamu naye+ olw’amaanyi ga Katonda agali mu mmwe.+
5 Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.+ Oba temumanyi nti Yesu Kristo ali bumu nammwe? Okuggyako nga temusiimibwa. 6 Mazima ddala nsuubira mujja kukitegeera nti ffe tusiimibwa.
7 Tusaba Katonda nti muleme kukola kikyamu kyonna, si lwa kuba nti twagala okulabika ng’abasiimibwa naye lwa kuba twagala mukole ekirungi, wadde nga ffe tuyinza okulabika ng’abatasiimibwa. 8 Kubanga tetuyinza kukola kintu kyonna kiziyiza mazima wabula ekigawagira. 9 Mazima ddala tusanyuka buli lwe tubeera abanafu naye nga mmwe muli ba maanyi. Era tusaba nti muddemu okutereezebwa. 10 Eno ye nsonga lwaki mbawandiikira ebintu bino nga siri nammwe, bwe ndijja nneme kuba mukambwe, kubanga Mukama waffe teyampa buyinza bwa kubazikiriza wabula okubazimba.+
11 Kale ab’oluganda, mweyongere okusanyuka, okutereezebwa, okubudaabudibwa,+ okulowooza obumu,+ n’okuba mu mirembe;+ era Katonda ow’okwagala n’emirembe+ ajja kubeera nammwe. 12 Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu. 13 Abatukuvu bonna babalamusizza.
14 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’omwoyo omutukuvu ffenna wamu gwe tulina bibeere nammwe mmwenna.