Olubereberye
16 Salaayi mukazi wa Ibulaamu yali tamuzaalidde mwana;+ naye yalina omuweereza we Omumisiri ayitibwa Agali.+ 2 Awo Salaayi n’agamba Ibulaamu nti: “Yakuwa anziyizza okuzaala abaana. Nkusaba weegatte n’omuzaana wange, oboolyawo nnaafuna abaana okuyitira mu ye.”+ Ibulaamu n’awuliriza Salaayi kye yamugamba. 3 Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali omuweereza we Omumisiri, n’amumuwa okuba mukazi we. 4 Bw’atyo Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’afuna olubuto. Bwe yakimanya nti afunye olubuto n’atandika okunyooma mukama we.
5 Awo Salaayi n’agamba Ibulaamu nti: “Ggwe avunaanyizibwa ebibi ebinkolebwa. Nze nnakukwasa* omuweereza wange, naye bwe yakitegeera nti ali lubuto n’atandika okunnyooma. Yakuwa asalewo ani mutuufu ku nze naawe.” 6 Awo Ibulaamu n’agamba Salaayi nti: “Laba! Omuweereza wo omulinako obuyinza. Mukole ky’olaba nga kye kirungi.” Awo Salaayi n’atandika okumujolonga, n’ekyavaamu n’amuddukako.
7 Oluvannyuma, malayika wa Yakuwa n’amusanga ku luzzi mu ddungu, oluzzi oluli ku kkubo erigenda e Ssuuli.+ 8 N’amugamba nti: “Agali omuweereza wa Salaayi, ova wa era olaga wa?” N’amuddamu nti: “Nziruka mukama wange Salaayi.” 9 Malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Ddayo eri mukama wo weetoowaze mu maaso ge.” 10 Malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Nja kwaza nnyo ezzadde lyo, babeere bangi nga tebasobola kubalika.”+ 11 Malayika wa Yakuwa era n’amugamba nti: “Kaakano oli lubuto era ojja kuzaala omwana ow’obulenzi omutuume Isimayiri;* kubanga Yakuwa awulidde okubonaabona kwo. 12 Ajja kuba ng’endogoyi ey’omu nsiko. Anaalwanyisanga buli muntu era buli muntu anaamulwanyisanga. Anaabeeranga ku ludda olulala mu maaso ga baganda be bonna.”*
13 Awo n’akoowoola erinnya lya Yakuwa eyali ayogera naye, nagamba nti: “Ggwe Katonda alaba,”+ kubanga yagamba nti: “Ddala ntunudde ku oyo andaba?” 14 Eyo ye nsonga lwaki oluzzi olwo luyitibwa Beeri-lakayiroyi.* (Luli wakati wa Kadesi ne Beredi.) 15 Oluvannyuma Agali yazaalira Ibulaamu omwana ow’obulenzi, era omwana Agali gwe yazaala Ibulaamu yamutuuma Isimayiri.+ 16 Ibulaamu yali aweza emyaka 86 Agali we yazaalira Isimayiri.