Olubereberye
20 Awo Ibulayimu n’ava eyo+ n’agenda mu kitundu ky’e Negebu n’atandika okubeera wakati wa Kadesi+ ne Ssuuli.+ Bwe yali abeera* e Gerali,+ 2 Ibulayimu era yaddamu n’ayogera ku Saala mukazi we nti: “Ono mwannyinaze.”+ Awo Abimereki kabaka wa Gerali n’atumya Saala n’amutwala.+ 3 Oluvannyuma Katonda n’ajjira Abimereki mu kirooto ekiro, n’amugamba nti: “Oli mufu olw’omukazi gw’otutte+ kubanga mufumbo era muka musajja.”+ 4 Kyokka Abimereki yali tannamusemberera.* Bw’atyo n’agamba nti: “Yakuwa, ddala onotta eggwanga eritaliiko musango?* 5 Ibulayimu teyaŋŋamba nti, ‘Ono mwannyinaze’? era n’omukazi naye teyagamba nti, ‘Oyo mwannyinaze’? Kino nnakikola mu mutima omwesimbu era n’engalo ezitaliiko musango.” 6 Awo Katonda ow’amazima n’amugamba mu kirooto nti: “Nange nkimanyi nti ekyo wakikola mu mutima mwesimbu, era nnakuziyiza oleme kwonoona mu maaso gange. Eyo ye nsonga lwaki saakuganya kumukwatako. 7 Kale zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga omusajja oyo nnabbi+ era ajja kukwegayiririra+ osigale ng’oli mulamu. Naye bw’otoomuzzeeyo, kimanye nti ojja kufa ggwe, n’abantu bo bonna.”
8 Abimereki n’agolokoka ku makya ennyo n’ayita abaweereza be bonna n’ababuulira ebintu ebyo byonna, ne batya nnyo. 9 Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti: “Kiki kino ky’otukoze, era kibi ki kye nnakukola olyoke ondeeteko nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene bwe kityo? Ky’onkoze si kituufu.” 10 Abimereki n’ayongera n’agamba Ibulayimu nti: “Wagenderera ki okukola ekintu kino?”+ 11 Ibulayimu n’addamu nti: “Lwa kuba nnalowooza nti, ‘Mu kifo kino tebatya Katonda era bajja kunzita olwa mukazi wange.’+ 12 Ate era ono mwannyinaze ddala, mwana wa kitange naye nga si wa mmange; naye nnamuwasa.+ 13 Kale Katonda bwe yaŋŋamba nve mu nnyumba ya kitange+ ŋŋende nga mbundabunda, ne ŋŋamba Saala nti: ‘Bw’oti bw’oba ondaga okwagala okutajjulukuka: Mu buli kifo gye tunaalaganga onoogambanga nti: “Ono mwannyinaze.”’”+
14 Awo Abimereki n’atoola endiga, ente, n’abaweereza abakazi n’abasajja, n’abiwa Ibulayimu era n’amuddiza mukazi we Saala. 15 Era Abimereki n’agamba nti: “Ensi yange yiiyo, beera wonna w’oyagala.” 16 Ate era n’agamba Saala nti: “Laba mpadde mwannyoko+ ebitundu bya ffeeza 1,000. Ke kabonero eri bonna abali naawe n’eri buli muntu akalaga nti toliiko musango, era tolina kya kunenyezebwa.” 17 Ibulayimu ne yeegayirira Katonda ow’amazima, era Katonda n’awonya Abimereki ne mukazi we n’abazaana be, ne batandika okuzaala abaana. 18 Kubanga abakazi bonna ab’omu nnyumba ya Abimereki Yakuwa yali abafudde bagumba* olwa Saala muka Ibulayimu.+