Malaki
4 “Laba! olunaku lujja, olwokya ng’ekyoto mwe basaanuusiza ebyuma,+ era abo bonna abeetulinkiriza n’abo bonna abakola ebintu ebibi baliba ng’ebisubi. Olunaku olujja lulibasaanyaawo era terulibalekerawo mulandira wadde ettabi,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba. 2 “Naye mmwe abatya erinnya lyange,* enjuba ey’obutuukirivu eribaakira ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo; mulirigita ng’ennyana ezinyirira.”
3 “Mulirinnyirira ababi, kubanga balifuuka ng’enfuufu wansi w’ebigere byammwe ku lunaku lwe ndikola ekyo,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
4 “Mujjukire Amateeka g’omuweereza wange Musa, kwe kugamba, ennamula n’ebiragiro bye nnamuwa ku Kolebu Isirayiri yonna ebigondere.+
5 “Laba! Mbatumira nnabbi Eriya+ ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa terunnatuuka.+ 6 Alizza emitima gya bakitaabwe b’abaana eri abaana baabwe,+ n’emitima gy’abaana eri bakitaabwe, nneme okujja nnyonoone ensi era ngizikirize.”
(Wano Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’Olulamayiki we bikoma, era biddirirwa Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani)