Malaki
2 “Ekiragiro kino nkiwa mmwe bakabona.+ 2 Bwe mutaawulirize era bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “nja kubasindikira ekikolimo,+ era emikisa gyammwe nja kugifuula bikolimo.+ Weewaawo, emikisa ngifudde bikolimo kubanga temukissizzaako mwoyo.”
3 “Laba! Ensigo zammwe ezaasigibwa nja kuzoonoona lwa kuba mmwe,+ era nja kubasiiga obusa mu maaso, obusa bw’ensolo ze muwaayo nga ssaddaaka ku mbaga zammwe; mujja kutwalibwa musuulibwe mu busa obwo. 4 Awo mujja kumanya nti nze mbawadde ekiragiro kino, endagaano gye nnakola ne Leevi esobole okusigala nga nnywevu,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
5 “Endagaano gye nnakola naye yali ndagaano ya bulamu na mirembe, bye nnamuwanga asobole okuntya.* Yantyanga, era yawanga erinnya lyange ekitiibwa. 6 Etteeka* ery’amazima lyabanga mu kamwa ke,+ era obutali butuukirivu tebwabanga ku mimwa gye. Yatambulanga nange mu mirembe ne mu bugolokofu,+ era yakyusa bangi okuva mu nsobi. 7 Kabona y’asaanidde okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda, era abantu basaanidde okunoonya amateeka* okuva mu kamwa ke,+ kubanga ye mubaka wa Yakuwa ow’eggye.
8 “Naye mmwe muvudde mu kkubo. Muleetedde bangi okwesittala ku bikwata ku mateeka.*+ Mumenye endagaano eyakolebwa ne Leevi,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba. 9 “Kale nange nja kubaleetera okunyoomebwa n’okufeebezebwa mu maaso g’abantu bonna, kubanga temwatambuliranga mu makubo gange, wabula mwabanga ne kyekubiira nga mussa mu nkola amateeka.”+
10 “Ffenna tetulina kitaffe omu?+ Katonda omu si ye yatutonda? Lwaki tukuusakuusa bannaffe,+ ne tunyooma endagaano ya bajjajjaffe? 11 Yuda akuusakuusizza, era ekintu eky’omuzizo kikoleddwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi; Yuda anyoomye obutukuvu* Yakuwa bw’ayagala,+ era awasizza omuwala wa katonda omulala.+ 12 Yakuwa alizikiriza mu weema za Yakobo buli akola ekyo, k’abe ani,* wadde ng’awaayo ekiweebwayo eri Yakuwa ow’eggye.”+
13 “Era waliwo ekintu ekirala* kye mukola ekiviirako ekyoto kya Yakuwa okujjula amaziga n’okukaaba n’okusinda, n’aba nga takyakkiriza biweebwayo byammwe era nga takyasanyukira ebyo ebiva mu mukono gwammwe.+ 14 Mugamba nti, ‘Lwaki kiri bwe kityo?’ Olw’okuba Yakuwa akuvunaana, kubanga okuusakuusizza omukazi ow’omu buvubuka bwo, wadde nga ye munno era nga ye mukazi wo ow’endagaano.*+ 15 Naye waliwo ataakikola, kubanga yalina omwoyo gwa Katonda ogwali gusigaddewo. Oyo yali alowooza ku ki? Yali alowooza ku zzadde lya Katonda. Kale mwekuume omwoyo gwammwe, era temukuusakuusa bakazi ba mu buvubuka bwammwe. 16 Nkyawa* okugattululwa,”+ Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, “era n’oyo abikka ekyambalo kye ebikolwa eby’obukambwe,”* Yakuwa ow’eggye bw’agamba. “Mwekuume omwoyo gwammwe era temukuusakuusa.+
17 “Yakuwa mumukooyezza n’ebigambo byammwe.+ Naye mugamba nti, ‘Tumukooyezza tutya?’ Nga mugamba nti, ‘Buli akola ebintu ebibi mulungi mu maaso ga Yakuwa, era amusanyukira,’+ oba nti, ‘Katonda omwenkanya ali ludda wa?’”