Yeremiya
36 Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu+ owa Yuda, mutabani wa Yosiya, Yakuwa yagamba Yeremiya nti: 2 “Ddira omuzingo* owandiikemu ebigambo byonna bye nkutegeezezza ku Isirayiri ne Yuda,+ n’amawanga gonna,+ okuva ku lunaku lwe nnasooka okwogera naawe mu kiseera kya Yosiya okutuusa leero.+ 3 Oboolyawo ab’ennyumba ya Yuda bwe banaawulira ku kabi ke nteekateeka okubaleetako, banaakyuka ne baleka amakubo gaabwe amabi, ne mbasonyiwa ensobi zaabwe n’ebibi byabwe.”+
4 Awo Yeremiya n’ayita Baluki+ mutabani wa Neriya, era Yeremiya n’amutegeeza ebigambo byonna Yakuwa bye yamugamba, ng’eno Baluki bw’abiwandiika mu muzingo.*+ 5 Yeremiya n’agamba Baluki nti: “Nkugiddwa era sisobola kuyingira mu nnyumba ya Yakuwa. 6 N’olwekyo, ggwe olina okugendayo osome mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bya Yakuwa ebiri mu muzingo bye nnakutegeezezza ng’eno bw’obiwandiika. Bisome ku lunaku olw’okusiiba ng’abantu abali mu nnyumba ya Yakuwa bawulira; ojja kubisomera abantu bonna ab’omu Yuda abajja nga bava mu bibuga byabwe. 7 Oboolyawo baneegayirira Yakuwa abasaasire, buli omu n’aleka ekkubo lye ebbi, kubanga obusungu n’ekiruyi Yakuwa by’agambye okuleeta ku bantu bano bingi.”
8 Bw’atyo Baluki mutabani wa Neriya n’akola byonna nnabbi Yeremiya bye yamulagira; yasoma mu muzingo* ebigambo bya Yakuwa mu ddoboozi ery’omwanguka mu nnyumba ya Yakuwa.+
9 Mu mwaka ogw’okutaano ogw’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu+ owa Yuda, mutabani wa Yosiya, mu mwezi ogw’omwenda, kyalangirirwa nti abantu bonna mu Yerusaalemi, n’abantu bonna abajja mu Yerusaalemi okuva mu bibuga bya Yuda, baalina okusiiba mu maaso ga Yakuwa.+ 10 Awo Baluki n’asoma mu muzingo* ebigambo bya Yeremiya ng’abantu bonna bawulira. Yabisoma mu ddoboozi ery’omwanguka mu nnyumba ya Yakuwa, mu kisenge* kya Gemaliya+ mutabani wa Safani+ omukoppolozi,* mu luggya olw’eky’engulu awayingirirwa ku mulyango omuggya ogw’ennyumba ya Yakuwa.+
11 Mikaaya mutabani wa Gemaliya mutabani wa Safani bwe yawulira ebigambo bya Yakuwa ebyali bisomeddwa mu muzingo,* 12 n’agenda mu nnyumba ya* kabaka, mu kisenge eky’omuwandiisi. Abaami* bonna baali batudde omwo: Erisaama+ omuwandiisi, Deraya mutabani wa Semaaya, Erunasani+ mutabani wa Akubooli,+ Gemaliya mutabani wa Safani, Zeddeekiya mutabani wa Kananiya, n’abaami abalala bonna. 13 Mikaaya n’ababuulira ebigambo byonna bye yawulira nga Baluki asoma okuva mu muzingo* ng’abantu bawulira.
14 Awo abaami bonna ne batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki, nga bagamba nti: “Leeta omuzingo gwe wasomye ng’abantu bawulira.” Baluki mutabani wa Neriya n’akwata omuzingo n’agenda gye baali. 15 Ne bamugamba nti: “Tuula ogutusomere mu ddoboozi ery’omwanguka.” Awo Baluki n’agubasomera.
16 Olwawulira ebigambo ebyo byonna ne batunulaganako nga batidde, era ne bagamba Baluki nti: “Tulina okutegeeza kabaka ebigambo ebyo byonna.” 17 Ne babuuza Baluki nti: “Tubuulire engeri gye wawandiikamu ebigambo ebyo byonna. Yeremiya ye yabikugamba nga ggwe bw’obiwandiika?” 18 Baluki n’abagamba nti: “Yambuulira ebigambo ebyo byonna ng’eno bwe mbiwandiika ne bwino mu muzingo.”* 19 Abaami ne bagamba Baluki nti: “Ggwe ne Yeremiya mugende mwekweke, era temubuulira muntu yenna gye muli.”+
20 Awo ne bagenda eri kabaka mu luggya, ne bateeka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi, ne babuulira kabaka byonna bye baali bawulidde.
21 Kabaka n’atuma Yekudi+ okuleeta omuzingo, Yekudi n’aguggyayo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Yekudi n’atandika okugusoma nga kabaka n’abaami bonna abaali bayimiridde okumpi ne kabaka bawulira. 22 Kabaka yali atudde mu nnyumba mwe yabeeranga mu kiseera eky’obutiti, mu mwezi ogw’omwenda,* nga mu maaso ge waliwo ekyoto omuli omuliro ogwaka. 23 Yekudi bwe yamalanga okusoma emiko esatu oba ena, nga kabaka agisalako n’akaso k’omuwandiisi ng’agisuula mu muliro, okutuusa omuzingo gwonna bwe gwaggweera mu muliro. 24 Tebaatya n’akamu; kabaka n’abaweereza be bonna abaawulira ebigambo ebyo byonna tebaayuza byambalo byabwe. 25 Wadde nga Erunasani,+ Deraya,+ ne Gemaliya+ beegayirira kabaka aleme kwokya muzingo, teyabawuliriza. 26 Ate era kabaka yalagira Yerameeri mutabani wa kabaka, Seraya mutabani wa Azulyeri, ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne nnabbi Yeremiya, naye Yakuwa yabakweka.+
27 Nga kabaka amaze okwokya omuzingo omwali ebigambo Yeremiya bye yabuulira Baluki n’abiwandiika,+ Yakuwa yaddamu n’agamba Yeremiya nti: 28 “Ddira omuzingo omulala owandiikemu ebigambo byonna ebyali mu muzingo ogwasooka Kabaka Yekoyakimu owa Yuda gwe yayokya.+ 29 Ojja kugamba Kabaka Yekoyakimu owa Yuda nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Oyokezza omuzingo guno ng’ogamba nti, ‘Lwaki oguwandiiseemu: “Kabaka wa Babulooni ajja kujja azikirize ensi eno agimalemu abantu n’ensolo”?’+ 30 Kale bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku Yekoyakimu kabaka wa Yuda, ‘Tajja kuba na muntu atuula ku ntebe ya Dawudi,+ era omulambo gwe gunaabanga mu bbugumu emisana era gunaabanga mu bunnyogovu ekiro.+ 31 Nja kumubonereza ye ne bazzukulu be* n’abaweereza be olw’ensobi zaabwe, era bo n’ababeera mu Yerusaalemi n’abantu b’omu Yuda nja kubatuusaako akabi ke nnagamba okubaleetako+ naye ne batawuliriza.’”’”+
32 Awo Yeremiya n’addira omuzingo omulala n’aguwa Baluki omuwandiisi,+ mutabani wa Neriya, Yeremiya n’ayogera nga ye bw’aguwandiikamu byonna ebyali mu muzingo* ogwasooka Kabaka Yekoyakimu owa Yuda gwe yayokya mu muliro.+ Ate era kwayongerwako n’ebigambo ebirala bingi ebiringa ebyo.