Yeremiya
38 Awo Sefatiya mutabani wa Matani, Gedaliya mutabani wa Pasukuli, Yukali+ mutabani wa Seremiya, ne Pasukuli+ mutabani wa Malukiya ne bawulira Yeremiya ng’agamba abantu bonna nti: 2 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Oyo yenna anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala, n’endwadde.+ Naye oyo aneewaayo* eri Abakaludaaya ajja kusigala nga mulamu, era obulamu bwe bujja kuba munyago gwe,* era ajja kuba mulamu.’+ 3 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Ekibuga kino kijja kuweebwayo eri eggye lya kabaka wa Babulooni, era ajja kukiwamba.’”+
4 Awo abaami ne bagamba kabaka nti: “Tukwegayiridde omusajja ono attibwe,+ kubanga abasirikale abasigaddewo mu kibuga kino n’abantu bonna abamalamu amaanyi,* ng’abagamba ebigambo ebiringa ebyo. Omusajja ono abantu bano tabaagaliza mirembe, wabula akabi.” 5 Kabaka Zeddeekiya n’abaddamu nti: “Laba! Ali mu mikono gyammwe, kubanga kabaka tayinza kubaziyiza.”
6 Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu luzzi lwa Malukiya mutabani wa kabaka olwali mu Luggya lw’Abakuumi.+ Baamussaayo nga bakozesa emiguwa. Mu luzzi temwalimu mazzi, wabula bitosi byokka, era Yeremiya n’atandika okutubira mu bitosi.
7 Ebedumereki+ Omwesiyopiya omulaawe* ow’omu nnyumba ya* kabaka n’awulira nti baali batadde Yeremiya mu luzzi. Kabaka yali atudde mu Mulyango gwa Benyamini,+ 8 awo Ebedumereki n’afuluma mu nnyumba ya* kabaka n’agamba kabaka nti: 9 “Mukama wange kabaka, abantu kye bakoze nnabbi Yeremiya kibi nnyo. Bamusudde mu luzzi, era ajja kufiira omwo enjala kubanga mu kibuga temukyalimu mmere.”+
10 Awo kabaka n’agamba Ebedumereki Omwesiyopiya nti: “Ggya wano abasajja 30 obatwale, muggyeyo nnabbi Yeremiya mu luzzi nga tannafa.” 11 Ebedumereki n’agenda n’abasajja mu nnyumba* ya kabaka wansi w’eggwanika,+ ne baggyayo ebiwero n’ebigoye ebikadde ne babiweereza Yeremiya mu luzzi nga babissiza ku miguwa. 12 Awo Ebedumereki Omwesiyopiya n’agamba Yeremiya nti: “Teeka ebiwero n’ebigoye ebyo mu nkwawa zo olyoke osseeyo emiguwa.” Yeremiya n’akola bw’atyo, 13 ne bamusikayo nga bakozesa emiguwa, ne bamuggyayo mu luzzi. Yeremiya n’asigala mu Luggya lw’Abakuumi.+
14 Kabaka Zeddeekiya n’atumya nnabbi Yeremiya agende gye yali mu mulyango ogw’okusatu oguli ku nnyumba ya Yakuwa, era kabaka n’agamba Yeremiya nti: “Nnina kye njagala okukubuuza. Tonkisa kintu kyonna.” 15 Yeremiya n’agamba Zeddeekiya nti: “Bwe nnaakubuulira ojja kunzita. Ate bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.” 16 Awo Kabaka Zeddeekiya n’alayirira Yeremiya mu kyama ng’agamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu eyatuwa obulamu buno, sijja kukutta era sijja kukuwaayo eri abasajja abo abaagala okukutta.”
17 Awo Yeremiya n’agamba Zeddeekiya nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda ow’eggye, Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Bw’oneewaayo* eri abaami ba kabaka wa Babulooni, ojja kusigaza obulamu bwo, era ekibuga kino tekijja kwokebwa muliro, era ggwe n’ab’omu nnyumba yo mujja kuwonawo.+ 18 Naye bwe muteeweeyo* eri abaami ba kabaka wa Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya, era bajja kukyokya omuliro,+ era tojja kusimattuka mu mukono gwabwe.’”+
19 Awo Kabaka Zeddeekiya n’agamba Yeremiya nti: “Ntya Abayudaaya abeegasse ku Bakaludaaya, kubanga singa mpeebwayo gye bali, bayinza okunkolako akabi.” 20 Naye Yeremiya n’amugamba nti: “Tojja kuweebwayo gye bali. Gondera Yakuwa mu bye nkugamba, ebintu bikugendere bulungi era ojja kusigala ng’oli mulamu. 21 Naye bw’onoogaana okwewaayo,* kino Yakuwa ky’ambikkulidde: 22 Laba! Abakazi abasigaddewo mu nnyumba ya* kabaka wa Yuda batwalibwa eri abaami ba kabaka wa Babulooni,+ era bagamba nti,
Baleetedde ekigere kyo okutubira mu bitosi.
Kaakano bazzeeyo ennyuma.’
23 Era bakazi bo bonna n’abaana bo babafulumya eri Abakaludaaya, era tojja kusimattuka mu mukono gwabwe, wabula ojja kukwatibwa kabaka wa Babulooni,+ era ggwe ojja okuviirako ekibuga kino okwokebwa omuliro.”+
24 Awo Zeddeekiya n’agamba Yeremiya nti: “Tobuulirako omuntu yenna ebintu bino, oleme okufa. 25 Era abaami bwe banaawulira nti njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti, ‘Tubuulire bye wagambye kabaka. Totukisa kintu kyonna, era tetujja kukutta.+ Kabaka akugambye ki?’ 26 obaddamu nti, ‘Mbadde nsaba kabaka aleme kunzizaayo mu nnyumba ya Yekonasaani okufiira eyo.’”+
27 Awo abaami ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza. N’ababuulira byonna kabaka bye yamulagira okubagamba. Tebaamugamba kintu kirala kyonna kubanga tewali yali awulidde bye baanyumya. 28 Yeremiya yasigala mu Luggya lw’Abakuumi+ okutuusiza ddala ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa; yali akyali mu Luggya lw’Abakuumi Yerusaalemi lwe kyawambibwa.+