Isaaya
53 Ani akkiririzza mu kigambo kye twawulira?+
Era ani abikkuliddwa+ omukono gwa Yakuwa?+
2 Alikulira mu maaso ge* ng’ettabi,+ ng’omulandira mu nsi enkalu.
Endabika ye si ya kikungu, era si wa kitiibwa;+
Era bwe tumutunuulira, endabika ye tetusikiriza.
Yalinga atukwese obwenyi bwe.*
Yanyoomebwa era tetwamulabamu ka buntu.+
Naye twamutwala ng’eyali atulugunyizibwa, akubibwa, era abonyaabonyezebwa Katonda.
Buli omu yakwata kkubo lye,
Era ensobi zaffe ffenna Yakuwa yaziteeka ku ye.+
Yaleetebwa ng’omwana gw’endiga okuttibwa,+
Yalinga endiga bw’esirika nga bagisalako ebyoya,
Era teyayasamya kamwa ke.+
8 Yatulugunyizibwa* era n’atwalibwa nga tasaliddwa musango mu bwenkanya;
Ani alifaayo okumanya ebikwata ku nsibuko ye?*
10 Yakuwa yayagala* abonyaabonyezebwe, era yamuleka n’alwala.
Bw’oliwaayo obulamu bwe ng’ekiweebwayo olw’omusango,+
Aliraba ezzadde lye, alyongera ku bungi bw’ennaku ze,+
Era okuyitira mu ye ebyo Yakuwa by’ayagala birituukirira.+
11 Olw’obulumi bwe obungi, aliraba era alisanyuka.