Okuva
14 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Gamba Abayisirayiri badde emabega basiisire mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja, mu maaso ga Bbaali-zefoni.+ Mujja kusiisira okumpi n’ennyanja nga mutunudde gye kiri. 3 Awo Falaawo ajja kwogera ku Bayisirayiri nti, ‘Babungeeta mu nsi olw’okuba basobeddwa. Eddungu libazingizza.’ 4 Nja kuleka omutima gwa Falaawo gube mukakanyavu,+ era ajja kubawondera, ndyoke mmulwanyise era mmuwangule n’eggye lye lyonna,+ nneegulumize; Abamisiri bajja kumanya nti nze Yakuwa.”+ Awo Abayisirayiri ne bakola bwe batyo.
5 Oluvannyuma ne bategeeza kabaka wa Misiri nti abantu badduse. Amangu ago Falaawo n’abaweereza be ne bakyusa ekirowoozo,+ ne bagamba nti: “Lwaki tukoze ekintu kino, ne tuleka Abayisirayiri okugenda ne balekera awo okutuweereza ng’abaddu?” 6 Awo n’ateekateeka amagaali ge ag’olutalo n’agenda n’abalwanyi be.+ 7 Yatwala amagaali 600 agasingira ddala obulungi, n’amagaali amalala gonna ag’e Misiri, nga buli limu liriko abalwanyi. 8 Bw’atyo Yakuwa n’aleka omutima gwa Falaawo kabaka wa Misiri ne guba mukakanyavu, Falaawo n’awondera Abayisirayiri abaali bagenda nga tebaliimu kutya kwonna.*+ 9 Abamisiri baawondera Abayisirayiri+ n’amagaali ga Falaawo gonna, n’abasirikale be abeebagala embalaasi, n’eggye lye, ne batuuka okumpi ne we baali basiisidde okuliraana ennyanja, okumpi n’e Pikakirosi mu maaso ga Bbaali-zefoni.
10 Falaawo bwe yali ng’ali kumpi kubatuukako, Abayisirayiri ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba ng’Abamisiri babawondera. Abayisirayiri ne batya nnyo, ne batandika okukaabirira Yakuwa.+ 11 Ne bagamba Musa nti: “Mu Misiri teri bifo biziikibwamu bantu, olyoke otuleete eno tufiire mu ddungu?+ Kiki kino ky’otukoze okutuggya mu Misiri? 12 Kino si kye twakugamba nga tuli mu Misiri nti, ‘Tuleke tuweereze Abamisiri’? Okuweereza Abamisiri kisinga okufiira mu ddungu.”+ 13 Musa n’agamba abantu nti: “Temutya.+ Mube bagumu mulyoke mulabe engeri Yakuwa gy’anaabalokolamu leero.+ Kubanga Abamisiri be mulaba leero temuliddamu kubalaba nate.+ 14 Yakuwa kennyini ajja kubalwanirira,+ era mmwe mujja kuba nga musirise busirisi.”
15 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Lwaki onkaabirira? Gamba Abayisirayiri basitule bagende. 16 Naye ggwe kwata omuggo gwo ogolole omukono gwo ku nnyanja ogyawulemu, Abayisirayiri bayite wakati mu nnyanja ku ttaka ekkalu. 17 Ŋŋenda kuleka emitima gy’Abamisiri gibe mikakanyavu bayingire mu nnyanja babawondere, ndyoke nneegulumize nga mpangula Falaawo n’eggye lye lyonna, n’amagaali ge ag’entalo, n’abasirikale be abeebagala embalaasi.+ 18 Abamisiri bajja kumanya nti nze Yakuwa bwe nnaawangula Falaawo, n’amagaali ge, n’abasirikale be abeebagala embalaasi, ne nneegulumiza.”+
19 Awo malayika wa Katonda ow’amazima+ eyali akulembeddemu Abayisirayiri n’avaayo n’adda emabega waabwe, empagi ey’ekire eyali mu maaso gaabwe n’edda emabega waabwe n’eyimirira.+ 20 Yayimirira wakati w’Abamisiri n’Abayisirayiri.+ Ku luuyi olumu ekire kyali kireeta kizikiza ate ku luuyi olulala kyali kireeta kitangaala, nga kimulisa ekiro.+ Abamisiri tebaasemberera Bayisirayiri ekiro kyonna.
21 Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja;+ Yakuwa n’asindika amazzi g’ennyanja ekiro kyonna ng’akozesa omuyaga ogw’amaanyi okuva ebuvanjuba, mpolampola amazzi ne geeyawulamu,+ entobo y’ennyanja n’efuuka olukalu.+ 22 Awo Abayisirayiri ne bayita wakati mu nnyanja ku ttaka ekkalu,+ ng’amazzi gakoze ekisenge ku mukono gwabwe ogwa ddyo n’ogwa kkono.+ 23 Abamisiri ne babawondera, embalaasi za Falaawo zonna, n’amagaali ge, n’abasirikale be abeebagala embalaasi ne babagoberera mu nnyanja.+ 24 Awo mu kisisimuka eky’oku makya,* Yakuwa n’atunuulira eggye ly’Abamisiri ng’ayima mu mpagi ey’omuliro n’ekire,+ n’atabulatabula eggye ly’Abamisiri. 25 N’aggya nnamuziga ku magaali gaabwe ne bazibuwalirwa okugavuga; Abamisiri ne bagamba nti: “Tudduke Abayisirayiri kubanga Yakuwa y’atulwanyisa ng’abalwanirira.”+
26 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde gabuutikire Abamisiri, n’amagaali gaabwe ag’olutalo, n’abasirikale baabwe abeebagala embalaasi.” 27 Amangu ago Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n’edda mu mbeera yaayo eya bulijjo awo ng’obudde bukya. Abamisiri bwe baali bagidduka, Yakuwa n’agibasuulamu wakati.+ 28 Amazzi agaali gadda ne gabuutikira amagaali g’olutalo, n’abasirikale abeebagala embalaasi, n’ab’eggye lya Falaawo bonna abaali bayingidde mu nnyanja okuwondera Abayisirayiri.+ Tewali n’omu ku bo yawonawo.+
29 Naye bo Abayisirayiri baatambulira wakati mu nnyanja ku ttaka ekkalu,+ era amazzi gaakola ekisenge ku mukono gwabwe ogwa ddyo n’ogwa kkono.+ 30 Bw’atyo Yakuwa n’anunula Isirayiri mu mukono gw’Abamisiri+ ku lunaku olwo, Abayisirayiri ne balaba Abamisiri abaali bafudde ku lubalama lw’ennyanja. 31 Isirayiri era yalaba amaanyi* amangi Yakuwa ge yakozesa ku Bamisiri, abantu ne batandika okutya Yakuwa n’okukkiririza mu Yakuwa ne mu Musa omuweereza we.+