Mikka
6 Kale muwulire Yakuwa ky’agamba.
Situka oyanjulire ensozi ensonga yo,
Obusozi ka buwulire eddoboozi lyo.+
2 Muwulire ensonga za Yakuwa mmwe ensozi,
Era nammwe emisingi gy’ensi eminywevu,+
Kubanga Yakuwa alina ky’avunaana abantu be,
Era ajja kuvunaana Isirayiri omusango:+
3 “Mmwe abantu bange, mbakoze ki?
Mbakooyezza ntya?+
Munnumirize.
4 Nnabaggya mu nsi ya Misiri,+
Ne mbanunula mu nnyumba ey’obuddu;+
Nnatuma Musa ne Alooni ne Miriyamu+ okubakulembera.
5 Mmwe abantu bange, mujjukire ekyo Balaki kabaka wa Mowaabu kye yateesa okukola,+
N’ebyo Balamu mutabani wa Byoli bye yamuddamu+
—Mujjukire ebyaliwo okuva e Sitimu+ okutuukira ddala e Girugaali+—
Musobole okumanya ebikolwa bya Yakuwa eby’obutuukirivu.”
6 Nnajja na ki mu maaso ga Yakuwa?
Nnaavunnama na ki mu maaso ga Katonda ali waggulu?
Nnajja gy’ali n’ebiweebwayo ebyokebwa,
N’ennyana ez’omwaka ogumu?+
7 Yakuwa anaasanyukira enkumi n’enkumi z’endiga ennume,
Oba emitwalo n’emitwalo gy’emigga gy’amafuta?+
Nnaawaayo omwana wange ow’obulenzi omubereberye olw’obujeemu bwange?
Nnaawaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi kyange?+
8 Akubuulidde ggwe omuntu ekirungi.
Era kiki Yakuwa ky’akwetaagisa?
9 Eddoboozi lya Yakuwa likoowoola ekibuga;
Abo abalina amagezi bajja kutya erinnya lyo.
Musseeyo omwoyo eri omuggo n’eri oyo eyagussaawo.+
10 Mu nnyumba y’omubi mukyalimu eby’obugagga ebyafunibwa okuyitira mu bikolwa ebibi,
Era n’ekipimo kya efa* ekitawera eky’omuzizo?
11 Nsobola okubeera omulongoofu* nga nnina minzaani ezitali ntuufu,
Era n’ensawo erimu amayinja agapima agatali matuufu?+
12 Abasajja be abagagga basussizza okukola ebikolwa eby’obukambwe,
N’abantu be boogera eby’obulimba;+
Olulimi lwabwe lukuusa mu kamwa kaabwe.+
13 “Kale nja kukukuba okutuusa lwe nnaakutuusaako ebisago;+
Nkufuule amatongo olw’ebibi byo.
14 Onoolyanga naye tokkutenga;
Onoolumwanga enjala.+
Onoggyangawo ebintu okubitereka, naye tooyinzenga kubitereka,
Era by’onoobanga osobodde okutereka nnaabiwangayo eri abalabe bo.
15 Onoosiganga ensigo naye tookungulenga.
Onoolinnyiriranga ezzeyituuni naye tookozesenga mafuta gaayo;
Era onoosogolanga omwenge omusu naye toonywenga mwenge.+
16 Mutambulira mu biragiro bya Omuli ne mu bikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu,+
Era mukolera ku magezi gaabwe.
Eyo ye nsonga lwaki nja kubafuula ekintu eky’entiisa.