Yobu
Nja kwemulugunya.
Era nja kwogera wadde nga ndi mu nnaku ya maanyi!
2 Nja kugamba Katonda nti: ‘Tonsingisa musango.
Mbuulira ensonga lwaki onnwanyisa.
3 Kirina bwe kikugasa okubonyaabonya,
Okunyooma omulimu gw’emikono gyo,+
Ate n’osanyukira amagezi g’ababi?
4 Amaaso go galinga ag’abantu?
Oba olaba ng’abantu bwe balaba?
5 Ennaku zo ziringa ennaku z’abantu,
Oba emyaka gyo giringa emyaka gy’omuntu,+
6 Olyoke onoonyereze ensobi yange
Era onoonye ekibi kyange?+
8 Ggwe wammumba era ggwe wankola n’engalo zo,+
Naye kaakano oyagala kunsaanyaawo.
10 Tewanjiwa ng’ayiwa amata
N’onfuula bbongo?
11 Wannyambaza olususu n’ennyama,
Era wagatta wamu amagumba gange n’ebinywa byange.+
12 Wampa obulamu era n’ondaga okwagala okutajjulukuka;
Okuumye bulungi obulamu bwange.+
13 Naye wayagala okukola ebintu bino mu kyama.*
Nkimanyi nti ebintu bino biva gy’oli.
14 Singa nnayonoona, wandindabye,+
Era tewandinzigyeeko musango olw’ensobi yange.
15 Bwe mba nga nnina omusango, zinsanze!
Era ne bwe mba nga sigulina, siyinza kuyimusa mutwe gwange,+
Kubanga nzijudde obuswavu era mbonaabona.+
16 Bwe nnyimusa omutwe gwange, onjigga ng’empologoma+
Era n’oddamu okundaga amaanyi go.
17 Oleeta abajulirwa abalala bannumirize
Era oyongere okunsunguwalira,
Wadde nga nfuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa.
18 Kale lwaki wanzigya mu lubuto lwa mmange?+
Nnandibadde nnafa nga tewannabaawo n’omu andaba.
19 Nnandibadde ng’atabangawo;
Nnandiggiddwa mu lubuto lwa mmange ne ntwalibwa butereevu mu ntaana.’