Matayo
14 Mu kiseera ekyo Kerode ow’essaza n’awulira ebikwata ku Yesu,+ 2 era n’agamba abaweereza be nti: “Oyo ye Yokaana Omubatiza. Yazuukiziddwa mu bafu era eyo ye nsonga lwaki akola ebyamagero.”+ 3 Kerode* yali yakwata Yokaana n’amusiba mu kkomera olwa Kerodiya, muka muganda we Firipo.+ 4 Kubanga Yokaana yamugambanga nti: “Tekikkirizibwa mu mateeka ggwe okubeera naye.”+ 5 Kyokka, yali ayagala okumutta naye ng’atya ekibiina ky’abantu olw’okuba baali batwala Yokaana okuba nnabbi.+ 6 Ku lunaku lwe baali bakulizaako amazaalibwa ga Kerode,+ muwala wa Kerodiya yazina n’asanyusa nnyo Kerode.+ 7 Kerode n’amulayirira okumuwa kyonna kye yandimusabye. 8 Ng’akolera ku magezi nnyina ge yamuwa, omuwala yagamba nti: “Mpa omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.”+ 9 Kabaka yanakuwala nnyo, naye olw’ekirayiro kye yakola, n’olw’abo be yali alya nabo,* yalagira bagumuwe. 10 Awo n’alagira batemeko Yokaana omutwe mu kkomera. 11 Omutwe ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, omuwala n’aguwa nnyina. 12 Oluvannyuma, abayigirizwa ba Yokaana bajja ne batwala omulambo gwe ne baguziika; ne bagenda ne babuulira Yesu. 13 Yesu bwe yakiwulira, n’ava mu kifo ekyo, n’alinnya eryato n’agenda mu kifo awatali bantu abeere eyo yekka. Naye abantu bwe baakitegeera, ne bava mu bibuga ne bamugoberera nga batambuza bigere.+
14 Bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene n’abasaasira,+ n’awonya abalwadde baabwe.+ 15 Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti: “Ekifo kye tulimu kyesudde, era n’obudde buwungedde; siibula abantu bagende mu byalo beegulire emmere.”+ 16 Naye Yesu n’abagamba nti: “Tekibeetagisa kugenda; mmwe mubawe eky’okulya.” 17 Ne bamugamba nti: “Tetulina kintu okuggyako emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.” 18 N’abagamba nti: “Mubireete wano.” 19 N’alagira ekibiina ky’abantu okutuula ku muddo, n’akwata emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula waggulu, n’asaba;+ oluvannyuma n’amenyaamenyamu emigaati, n’agiwa abayigirizwa be ne bagigabira abantu. 20 Bonna ne balya ne bakkuta, era ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwali bufisseewo ne bujjuza ebisero 12.+ 21 Abo abaalya baali abasajja 5,000 nga tobaliddeeko bakazi na baana.+ 22 Amangu ago n’agamba abayigirizwa be okulinnya eryato bamukulemberemu bagende emitala nga ye bw’asiibula ekibiina ky’abantu.+
23 Bwe yamala okusiibula ekibiina ky’abantu, n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba,+ era obudde ne buwungeera ng’ali eyo yekka. 24 Mu kiseera ekyo eryato lyali wala nnyo okuva ku lukalu, ng’amayengo galisunda, olw’omuyaga ogwali gubava mu maaso. 25 Naye ekiro mu kisisimuka eky’okuna* n’agenda gye bali ng’atambulira ku nnyanja. 26 Abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja, ne batya nnyo ne bagamba nti: “Oyo si muntu!” Era ne baleekaana olw’okutya. 27 Naye amangu ago Yesu n’abagamba nti: “Mugume! Ye nze; temutya.”+ 28 Peetero n’amugamba nti: “Mukama waffe, bw’oba nga ye ggwe ndagira ntambulire ku mazzi nzije gy’oli.” 29 N’amugamba nti: “Jjangu!” Amangu ago Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu. 30 Naye bwe yatunuulira omuyaga n’atya, n’atandika okubbira, era n’aleekaana nti: “Mukama wange, nnyamba!” 31 Amangu ago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata n’amugamba nti: “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusabuusizza?”+ 32 Bwe baalinnya mu lyato omuyaga ne gukkakkana. 33 Abo abaali mu lyato ne bamuvunnamira nga bagamba nti: “Mazima ddala oli Mwana wa Katonda.” 34 Awo ne basomoka ne batuuka e Genesaleeti.+
35 Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera, ne bategeeza abantu mu bitundu byonna ebiriraanyewo, ne bamuleetera abalwadde bonna. 36 Ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye eky’okungulu,+ era abo bonna abaakikwatako baawona.